Buuka ogende ku bubaka obulimu

ABAVUBUKA BABUUZA

Biki Bye Nsaanidde Okumanya ku Kuweereza Abalala Mesegi?

Biki Bye Nsaanidde Okumanya ku Kuweereza Abalala Mesegi?
  • :-) Bw’oba omwegendereza, okuweereza mesegi eba ngeri nnungi ey’okuwuliziganyaamu n’abantu abalala.

  • :-( Bw’otaba mwegendereza, oyinza okufiirwa emikwano era n’okwonoona erinnya lyo.

Ekitundu kino kijja kukulaga bye weetaaga okumanya ku

Ate era ogenda kuweebwa ne:

 B’oweereza mesegi

Abavubuka bangi bakiraba nti okuweereza mesegi ngeri nnungi nnyo ey’okuwuliziganyaamu n’abantu abalala. Mu butuufu, oba osobola okuwuliziganya na buli muntu ali mu ssimu yo​—kasita kiba nti bazadde bo tebakugaana kuwuliziganya naye.

“Nze ne muganda wange, taata tayagala twogere na balenzi. Bwe tuba tulina omulenzi gwe tugenda okwogera naye ku ssimu, taata ayagala twogerere ku ssimu eri mu ddiiro, ate nga waliwo n’abantu abalala.”​—Lenore.

Ky’osaanidde okumanya: Singa omala gawa buli muntu ennamba yo ey’essimu, kiyinza okukuzaalira emitawaana.

“Bw’omala gawa buli muntu ennamba yo ey’essimu, oyinza okwesanga nga waliwo abakuweerezza mesegi oba ebifaananyi by’otayagala.”​—Scott.

“Bwe wabaawo omuntu gw’otofaanaganya naye kikula gw’oweereza mesegi buli kiseera, ekyo kisobola okukuviiramu enkolagana ey’oku lusegere n’omuntu oyo mu bbanga ttono nnyo.”​—Steven.

Bayibuli egamba nti:Omuntu ow’amagezi alaba akabi ne yeekweka.” (Engero 22:3) Bw’obeera omwegendereza, osobola okwewonya ebizibu bingi.

Ekyaliwo ddala: Nze n’omulenzi omu twali ba mukwano era nga tweweereza nnyo mesegi. Nze nnali nkitwala nti twali ba mukwano bukwano. Nnali sikirabamu buzibu bwonna okutuusa lwe yaŋŋamba nti yali atandise okuwulira nga nnina ekifo eky’enjawulo mu mutima gwe. Kati nkiraba bulungi nti kyali kikyamu okubeeranga ennyo naye era n’okumuweerezanga mesegi.”—Melinda.

Lowooza ku kino: Ggwe olowooza Melinda yandibadde akola ki okuva bwe kiri nti kati amanyi ekiri ku mutima gw’omulenzi oyo?

Manya ekyavaako obuzibu! Kiki Melinda kye yakola ekyavaako obuzibu kye yandibadde yeewala okuviira ddala ku ntandikwa?

 By’owandiika mu mesegi

Kyangu nnyo okuweereza oba okufuna mesegi​—ne kiba nti oluusi twerabira n’okwerabira nti ebintu ebimu bye tuwandiika mu mesegi abalala bayinza okubitegeera obulala.

Ky’osaanidde okumanya: Ebyo by’oba owandiise mu mesegi, oyo gw’ogiweerezza ayinza okubitegeera obubi.

“Wadde nga mesegi eyinza okubaamu obufaananyi oba obubonero obw’enjawulo, eba tesobola kukulaga nneewulira y’oyo agikuweerezza oba eddoboozi lye yandikozesezza ng’ayogera naawe butereevu. Kino kiyinza okukuleetera okumutegeera obubi.”​—Briana.

“Waliwo abawala be mmanyi abaayonoona amannya gaabwe olw’ebigambo ebimu bye baakozesa mu mesegi ne bireetera abalala okulowooza nti baali beegwanyiza abalenzi.”​—Laura.

Bayibuli egamba nti:Abantu abalungi bafumiitiriza nga tebannaba kwanukula.” (Engero 15:​28, Good News Translation) Kiki kye tuyiga wano? Mesegi gy’oba owandiise, gisomeemu nga tonnagiweereza!

 Ekiseera ky’owandiikiramu mesegi

Ggwe kennyini ggwe osaanidde okwesalirawo ekiseera ekigwana okuwandiikiramu mesegi.

Ky’osaanidde okumanya: Singa mesegi ogiwandiikira mu kiseera ekitali kituufu, b’oli nabo bayinza okukitwala nti tobawa kitiibwa.

“Kyangu nnyo okuwandiika mesegi mu kiseera ekitali kituufu. Nnyinza okwesanga nga ntandise okuwandiika mesegi ng’ate nnina omuntu gwe njogera naye oba nga ndi ku mmeeza n’abantu abalala tulya.”​—Allison.

“Kya kabi nnyo okubeera ng’ovuga emmotoka ate ng’eno bw’owandiika mesegi. Bw’oggya amaaso ku luguudo, oba osobola okukola akabenje.”​—Anne.

Bayibuli egamba nti:Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo, . . . [wabaawo] ekiseera eky’okusirika n’ekiseera eky’okwogereramu.” (Omubuulizi 3:1, 7) Nga bwe waliwo ekiseera ekituufu eky’okwogereramu, era waliwo n’ekiseera ekituufu eky’okuweererezaamu mesegi!

 Eby’okulowoozaako

B’oweereza mesegi

  • ;-) Goberera obulagirizi bazadde bo bwe bakuwa.​—Abakkolosaayi 3:20.

  • ;-) Tomala gawa buli muntu nnamba yo ey’essimu. Bw’ogaana okuwa abantu abamu ennamba eyo ey’essimu oba okubategeeza ebintu ebimu ebikukwatako, ekyo kiba kikuyamba okwongera okukulaakulanya obuvumu bw’ojja okwetaaga ennyo ng’okuze.

  • ;-) Tomanyiira bantu oboolyawo n’otuuka n’okuweereza abamu mesegi eziyinza okubaleetera okulowooza nti obeegwanyiza. Bw’okola bw’otyo, kiyinza okukuviiramu ebizibu.

“Bazadde bange banneesiga, era bakimanyi nti siyinza kumala gateeka nnamba ya muntu mu ssimu yange.”​—Briana.

By’owandiika mu mesegi

  • ;-) Nga tonnawandiika mesegi, sooka weebuuze nti, ‘Okuweereza mesegi kye kinaasinga obulungi?’ Oluusi, ekiba kisingako obulungi kwe kukubira omuntu essimu oba okulindako okutuusa lw’onoosobola okwogera naye maaso ku maaso.

  • ;-) Ekintu kyonna ky’otosobola kugamba muntu maaso ku maaso, tokimugambira mu mesegi. Omuwala ayitibwa Sarah ow’emyaka 23 agamba nti: “Ekintu bwe kiba tekisaana kwogerwa, era kiba tekisaanidde kuwandiikibwa mu mesegi.”

“Singa omuntu akuweereza ebifaananyi eby’obuseegu, buulira bazadde bo. Kino kya bukuumi gy’oli era ne bazadde bo bajja kwongera okukwesiga.”​—Sirvan.

Ekiseera ky’owandiikiramu mesegi

  • ;-) Baako ebiseera w’otakozeseza ssimu yo. Omuwala ayitibwa Olivia agamba nti: “Essimu siba nayo bwe tuba tuli ku mmeeza tulya oba bwe mba nsoma ebitabo byange. Ngiggyako nga ndi mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo nneme kukemebwa kugitunulako.”

  • ;-) Kirage nti ofaayo ku nneewulira y’abalala. (Abafiripi 2:4) Tobaako gw’owandiikira mesegi bw’oba olina omuntu gw’okyayogera naye.

“Waliwo ebintu bye nnasalawo obutakola, gamba ng’okuweereza abalala mesegi nga nnina abantu be njogera nabo. Ate era, omuntu bwe mba nga simumanyi bulungi simuwa nnamba yange ey’essimu.”​—Janelly.