Ddala Bayibuli by’Eyogera ku Yesu Bituufu?
Bayibuli ky’egamba
Ng’ayogera ku ebyo bye yawandiika ebikwata ku Yesu, omuwandiisi wa Bayibuli Lukka yagamba nti: “Nnabinoonyerezaako n’obwegendereza okuviira ddala ku ntandikwa yaabyo.”—Lukka 1:3.
Abantu abamu bagamba nti ebyogerwa ku bulamu bwa Yesu ebiri mu bitabo by’Enjiri, kwe kugamba, mu Matayo, mu Makko, mu Lukka, ne mu Yokaana, byakyusibwamu awo nga mu kyasa eky’okuna.
Kyokka, waliwo ekiwandiiko eky’edda eky’ekitabo ky’Enjiri ya Yokaana ekyazuulibwa mu Misiri ku ntandikwa y’ekyasa ekya 20. Ekiwandiiko ekyo kimanyiddwa nga Papyrus Rylands 457 (P52) era nga kikuumibwa mu tterekero ly’ebitabo eriyitibwa John Rylands Library eriri mu kibuga Manchester ekya Bungereza. Kirimu ennyiriri za Yokaana 18:31-33, 37, 38 nga bwe zisangibwa mu Bayibuli eziriwo leero.
Kino kye kiwandiiko ekisingayo obukadde ekimanyiddwa eky’Ebyawandiikibwa eby’Oluyonaani. Abeekenneenya Bayibuli bangi bagamba nti ekiwandiiko ekyo kyawandiikibwa awo nga mu mwaka gwa 125 E.E., nga wayise emyaka nga 25 gyokka oluvannyuma lw’Enjiri ya Yokaana okuwandiika. Ebyo ebiri mu kiwandiiko ekyo bikwatagana bulungi n’ebyo ebiri mu biwandiiko bya Bayibuli ebirala ebyawandiikibwa oluvannyuma.