Bayibuli Eyogera ki ku Ndwadde ez’Amaanyi Ezisaasaana?
Bayibuli ky’egamba
Bayibuli yalaga nti wandibaddewo endwadde ez’amaanyi (nga mw’otwalidde n’endwadde ezisaasaana ennyo) mu nnaku ez’enkomerero. (Lukka 21:11) Endwadde ng’ezo si kibonerezo okuva eri Katonda. Mu butuufu, okuyitira mu Bwakabaka bwe, Katonda anaatera okuggyawo endwadde zonna, nga mw’otwalidde n’endwadde ez’amaanyi ezisaasaana.
Ddala Bayibuli yalaga nti wandibaddewo endwadde ezisaasaana?
Bayibuli teyayogera ndwadde kika ki ezandibaddewo, gamba nga COVID-19, AIDS, oba Spanish flu. Naye yalaga nti wandibaddewo “endwadde ez’amaanyi.” (Lukka 21:11; Okubikkulirwa 6:8) Ekyo kye kimu ku ebyo ebiri mu kabonero akalaga ‘ennaku ez’enkomerero,’ era ezimanyiddwa ‘ng’amafundikira g’enteekateeka y’ebintu.’—2 Timoseewo 3:1; Matayo 24:3.
Katonda yali abonerezzaako abantu ng’akozesa endwadde?
Bayibuli eyogera ku mirundi mitono Katonda lwe yabonereza abantu ng’akozesa endwadde. Ng’ekyokulabirako, yaleetera abantu abamu okufuna ebigenge. (Okubala 12:1-16; 2 Bassekabaka 5:20-27; 2 Ebyomumirembe 26:16-21) Kyokka, mu mbeera ezo endwadde tezasaasaana ne zikwata abantu abatalina musango. Mu kifo ky’ekyo, Katonda yali abonereza abantu abaali bamujeemedde.
Endwadde ez’amaanyi ezisaasaana ennyo ennaku zino kibonerezo okuva eri Katonda?
Nedda. Abantu abamu balowooza nti Katonda akozesa endwadde ez’amaanyi ezisaasaana ennyo oba endwadde endala okubonereza abantu leero. Kyokka, Bayibuli si bw’etyo bw’egamba. Lwaki?
Ensonga emu eri nti, abamu ku baweereza ba Katonda—abaaliwo mu biseera eby’edda era ne mu kiseera kino—bafunye endwadde. Ng’ekyokulabirako, Timoseewo eyali omusajja omwesigwa, ‘yalwalalwalanga.’ (1 Timoseewo 5:23) Naye Bayibuli tegamba nti ako kaali kabonero akalaga nti yali tasiimibwa Katonda. Ne leero, abamu ku baweereza ba Katonda abeesigwa balwala oba bafuna endwadde. Ebiseera ebisinga, abantu abo bafuna endwadde olw’okubeera mu kifo ekikyamu mu kiseera ekikyamu.—Omubuulizi 9:11.
Ate era, Bayibuli egamba nti ekiseera kya Katonda eky’okubonererezaamu abantu ababi tekinnatuuka. Mu kifo ky’ekyo, tuli “mu kiseera eky’okukkiririzibwamu”—kwe kugamba, ekiseera Katonda mwayaniririza abantu bonna bafuuke mikwano gye basobole okulokolebwa. (2 Abakkolinso 6:2) Ayaniriza abantu ng’ayitira mu mulimu gw’okubuulira ‘amawulire amalungi ag’Obwakabaka’ ogukolebwa mu nsi yonna.—Matayo 24:14.
Endwadde ez’amaanyi ezisaasaana ziriggwaawo?
Yee. Bayibuli eyogera ku biseera eby’omu maaso ebinaatera okutuuka lwe wataliba muntu n’omu aliba mulwadde. Ng’Obwakabaka bwe bufuga, Katonda ajja kuggyawo endwadde zonna ezitawaanya abantu. (Isaaya 33:24; 35:5, 6) Ajja kuggyawo okubonaabona, obulumi, n’okufa. (Okubikkulirwa 21:4) Ate era ajja kuzuukiza abantu abaafa basobole okuba mu bulamu obulungi wano ku nsi.—Zabbuli 37:29; Ebikolwa 24:15.
Ebyawandiikibwa ebyogera ku ndwadde
Matayo 4:23: “[Yesu] n’atalaaga Ggaliraaya yonna ng’ayigiriza mu makuŋŋaaniro gaabwe, ng’abuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka, era ng’awonya endwadde eza buli kika ezaali mu bantu.”
Kye kitegeeza: Ebyamagero Yesu bye yakola byalaga ebyo Obwakabaka bwa Katonda bye bunaatera okukolera abantu bonna.
Lukka 21:11: “Walibaawo . . . endwadde ez’amaanyi.”
Kye kitegeeza: Endwadde ez’amaanyi ezisaasaana ennyo kye kimu ku ebyo ebiri mu kabonero akalaga ennaku ez’enkomerero.
Okubikkulirwa 6:8: “Laba! embalaasi ensiiwuufu; oyo eyali agituddeko yali ayitibwa Kufa. Era amagombe gaali gamuvaako emabega. Ne biweebwa obuyinza . . . okutta . . . n’endwadde ez’amaanyi.”
Kye kitegeeza: Obunnabbi obukwata ku beebagazi be mbalaasi abana bulaga nti endwadde ez’amaanyi ezisaasaana zandibaddewo mu kiseera kyaffe.