Buuka ogende ku bubaka obulimu

Bayibuli Eyogera ki ku Kuwaayo Ekimu eky’Ekkumi?

Bayibuli Eyogera ki ku Kuwaayo Ekimu eky’Ekkumi?

Bayibuli ky’egamba

 Okusobola okuwagira okusinza okw’amazima Abayisirayiri baalagirwa okuwaayo ekimu eky’ekkumi, a okuva ku ebyo bye baafunanga buli mwaka. Katonda yabagamba nti: “Tolemanga kuwaayo ekimu eky’ekkumi eky’emmere yonna eva mu nsigo z’osiga mu nnimiro buli mwaka.”—Ekyamateeka 14:22.

 Etteeka ery’okuwaayo ekimu eky’ekkumi lye limu ku Mateeka Katonda ye yawa Abayisirayiri okuyitira mu Musa. Abakristaayo tebali wansi w’Amateeka ga Musa, n’olwekyo tekibeetaagisa kuwaayo kimu kya kkumi. (Abakkolosaayi 2:13, 14) Mu kifo ky’ekyo, buli Mukristaayo asobola okuwaayo ssente “si lwa nnaakola ntya oba olw’okukakibwa, kubanga Katonda ayagala oyo agaba n’essanyu.”—2 Abakkolinso 9:7.

 Okuwa ekimu eky’ekkumi mu Bayibuli—“Endagaano Enkadde”

 Okuwa ekimu eky’ekkumi kyogerwako emirundi mingi mu kitundu kya Bayibuli ekitera okuyitibwa Endagaano Enkadde. Emirundi egisinga kyogerwako oluvannyuma lwa Katonda okuwa Abayisirayiri Amateeka (Amateeka ga Musa) okuyitira mu Musa. Kyokka, emirundi egimu kyogerwako ng’Abayisirayiri tebannaba kuweebwa Mateeka ago.

Ng’Abayisirayiri tebannaweebwa Mateeka ga Musa

 Omuntu asooka okwogerwako eyawaayo ekimu eky’ekkumi yali Ibulaamu (Ibulayimu). (Olubereberye 14:18-20; Abebbulaniya 7:4) Ibulaamu alabika yawa ekimu eky’ekkumi omulundi gumu gwokka era yakiwa kabaka era kabona w’e Saalemi. Tewali we kyogerwako mu Bayibuli nti Ibulayimu oba abaana be baddamu okuwa ekimu eky’ekkumi.

 Omuntu ow’okubiri ayogerwako mu Bayibuli eyawaayo ekimu eky’ekkumi yali Yakobo, muzzukulu wa Ibulayimu. Yasuubiza Katonda nti bwe yandimuwadde omukisa yandibadde amuwa ‘kimu kya kkumi ku buli kintu’ kye yandifunye. (Olubereberye 28:20-22) Abeekenneenya ba Bayibuli abamu bagamba nti kirabika Yakobo yawaayo ekimu eky’ekkumi ekyo ng’awaayo ssaddaaka ez’ebisolo. Wadde nga Yakobo yeeyama okuwaayo ekimu eky’ekkumi, teyakikakaatika ku ba mu maka ge.

Ng’Abayisirayiri bali wansi w’Amateeka ga Musa

 Abayisirayiri baalagibwa okuwaayo ekimu eky’ekkumi okusobola okuwagira emirimu egyali kikolebwa mu kusinza kwabwe.

  •   Ekimu eky’ekkumi kyaweebwangayo okusobola okulabirira abo abaaweerezanga Katonda ekiseera kyonna, gamba ng’Abaleevi nga mw’otwalidde ne bakabona, abataaweebwa ttaka lyabwe ku bwabwe ery’okulimirako. (Okubala 18:20, 21) Abaleevi abataali bakabona baafunanga ekimu eky’ekkumi okuva eri abantu era ‘ku kimu eky’ekkumi ekyo baggyangako kimu kya kkumi’ kye baawangayo eri bakabona.—Okubala 18:26-29.

  •   Kirabika Abayisirayiri baalinanga okuwaayo ekimu eky’ekkumi ekirala buli mwaka ekyayambanga Abaleevi n’abantu abalala abataali Baleevi. (Ekyamateeka 14:22, 23) Abayisirayiri baakozesanga ekimu eky’ekkumi ekyo ku mbaga ez’enjawulo, era mu myaka egimu kyaweebwanga abantu abaavu okukola ku byetaago byabwe.—Ekyamateeka 14:28, 29; 26:12.

 Ekimu eky’ekkumi kyabalibwanga kitya? Abayisirayiri baggyanga ekimu eky’ekkumi ku birime bye baakungulanga buli mwaka. (Eby’Abaleevi 27:30) Bwe baasalangawo okuwaayo ekimu eky’ekkumi ekyo mu ssente mu kifo ky’ebirime, baalinanga okwongerangako omuwendo gwa bitundu 20 ku buli kikumi. (Eby’Abaleevi 27:31) Ate era baalagirwa okuwaayo “kimu kya kkumi eky’eggana oba eky’ekisibo.”—Eby’Abaleevi 27:32.

 Abayisirayiri okusobola okuwaayo ekimu eky’ekkumi eky’ebisolo, baalondanga buli nte ey’ekkumi eyavanga mu kisibo. Amateeka gaali galaga nti tebaalinanga kukebera oba okuwanyisaamu ensolo ze baabanga balonze, era tebaalinanga kuzikyusa ne bazizza mu ssente. (Eby’Abaleevi 27:32, 33) Kyokka, ekiweebwayo eky’ekimu eky’ekkumi eky’okubiri ekyakozesebwanga ku mbaga ezaabangawo buli mwaka, baabanga basobola okukikyusa ne bakizza mu ssente. Enteekateeka eyo yayambanga nnyo Abayisirayiri abaabanga balina okutambula olugendo oluwanvu okusobola okubaawo ku mbaga.—Ekyamateeka 14:25, 26.

 Ddi Abayisirayiri lwe baawangayo ekimu eky’ekkumi? Abayisirayiri baawangayo ekimu eky’ekkumi buli mwaka. (Ekyamateeka 14:22) Kyokka, buli mwaka ogw’omusanvu tebaawangayo kimu kya kkumi. Omwaka ogwo gwabanga ssabbiiti, oba omwaka ogw’okuwummula, era Abayisirayiri tebaalimanga birime. (Eby’Abaleevi 25:4, 5) N’olwekyo, mu kiseera eky’amakungula tewali kimu kya kkumi kyakuŋŋanyizibwanga. Buli mwaka ogw’okusatu n’ogw’omukaaga, Abayisirayiri ekimu eky’ekkumi eky’okubiri baakiwanga abaavu n’Abaleevi.—Ekyamateeka 14:28, 29.

 Kibonerezo ki ekyaweebwanga abo abatawangayo kimu kya kkumi? Mu Mateeka ga Musa temwalimu kibonerezo ekyalinanga okuweebwa omuntu eyalemererwanga okuwaayo ekimu eky’ekkumi. Baawangayo ekimu eky’ekkumi olw’okuba baali bakimanyi nti kye kyali ekituufu eky’okukola, so si nti olw’okuba baali bajja kubonerezebwa olw’obutakiwaayo. Abayisirayiri baalinanga okwogerera mu maaso ga Katonda nti bawaddeyo ekimu eky’ekkumi era ne bamusaba okubawa omukisa. (Ekyamateeka 26:12-15) Katonda yatwalanga obutawaayo kimu kya kkumi ng’okumunyaga.—Malaki 3:8, 9.

 Okuwaayo ekimu eky’ekkumi gwalinga mugugu? Nedda. Katonda yasuubiza eggwanga lya Isirayiri nti bwe bandimuwadde ekimu eky’ekkumi, yandibawadde emikisa mingi era bandibadde tebajula kintu kyonna. (Malaki 3:10) Ku luuyi olulala, Abayisirayiri baabonaabona bwe batawangayo kimu kya kkumi. Baafiirwa emikisa gya Katonda era tebaaganyulwa mu buweereza bwa bakabona n’Abaleevi, olw’okuba baali tebakyabalabirira.—Nekkemiya 13:10; Malaki 3:7.

 Okuwa ekimu eky’ekkumi mu Bayibuli—“Endagaano Empya”

 Yesu bwe yabeerera ku nsi, Katonda yali akyetaagisa abantu be okuwaayo ekimu eky’ekkumi. Kyokka, etteeka eryo lyaggibwawo oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu.

Mu kiseera kya Yesu

 Mu kitundu ekitera okuyitibwa Endagaano Empya, Bayibuli eraga nti Abayisirayiri beeyongera okuwaayo ekimu eky’ekkumi nga Yesu akyali ku nsi. Yesu yakiraga nti baalinanga okuwaayo ekimu eky’ekkumi, naye yavumirira abakulembeze b’eddiini abaawangayo ekimu eky’ekkumi “naye ne batatuukiriza bintu ebisinga obukulu mu Mateeka: obwenkanya, obusaasizi, n’obwesigwa.”—Matayo 23:23.

Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu

 Yesu bwe yamala okufa, kyali tekikyetaagisa kuwaayo kimu kya kkumi. Ssaddaaka ya Yesu yaggyawo Amateeka ga Musa, omwali ‘n’ekiragiro eky’okusolooza ekimu eky’ekkumi.’—Abebbulaniya 7:5, 18; Abeefeso 2:13-15; Abakkolosaayi 2:13, 14.

a Ekimu eky’ekkumi “ky’ekyo omuntu ky’agye ku musala gwe n’akitereka olw’ekigendererwa ekimu. . . . Ebiseera ebisinga ekimu eky’ekkumi ekyogerwako mu Bayibuli kyakozesebwanga ku bya ddiini.”—Harper’s Bible Dictionary, olupapula 765.