Kiba Kikyamu Omukristaayo Okufuna Obujjanjabi?
Bayibuli ky’egamba
Nedda. Yesu yakiraga nti abagoberezi be basobola okufuna obujjanjabi bwe yagamba nti: “Abalamu tebeetaaga musawo; abalwadde be bamwetaaga.” (Matayo 9:12) Wadde nga Bayibuli si kitabo ekikwata ku by’obujjanjabi, obulagirizi obugirimu busobola okuyamba abo abaagala okukola Katonda by’ayagala.
Ebibuuzo by’oyinza okwebuuza
1. Ntegeera bulungi enzijanjaba eno? Bayibuli etukubiriza okusooka okunoonyereza ku kintu okukakasa nti ddala kyesigika mu kifo ky’okumala gakkiriza buli kye batugamba.’—Engero 14:15.
2. Kinneetaagisa okusooka okwebuuza ne ku basawo abalala? “Abawi b’amagezi abangi” basobola okuba ab’omugaso naddala obulwadde bwo bwe buba obw’amaanyi.—Engero 15:22.
3. bujjanjabi buno buzingiramu okumenya ekiragiro kya Katonda ‘eky’okwewala . . . omusaayi’?—Ebikolwa 15:20.
4. Engeri obulwadde gye bunaakeberwamu oba engeri obujjanjabi gye bunaaweebwamu erimu eby’obusamize? Bayibuli etulagira okwewala “eby’obusamize.” (Abaggalatiya 5:19-21) Okusobola okumanya obanga obujjanjabi bwe baagala okukuwa oba engeri gye banaakukeberamu erimu eby’obusamize, weebuuze ebibuuzo nga bino:
Engeri omusawo ono gy’ajjanjabamu erimu eby’obusamize?
Omusawo ono alina endowooza egamba nti obulwadde bwe nnina bwava ku kuba nti waliwo bajjajja be nnanyiiza oba nti waliwo eyansindikira eddogo?
Bw’aba ateekateeka eddagala ly’ayagala okumpa, asooka kulaamiriza oba okubaako ky’asaddaaka, oba okukola ekintu ekirala kyonna ekizingiramu eby’obusamize?
5. Ebirowoozo byange mbimalidde ku bulwadde bwange? Bayibuli egamba nti: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” (Abafiripi 4:5) Obutaba mukakanyavu kijja kukuyamba okukulembeza “ebintu ebisinga obukulu,” nga bino bye bintu ebikwata ku Katonda.—Abafiripi 1:10; Matayo 5:3.