Buuka ogende ku bubaka obulimu

Kitegeeza ki Okuba “Omusamaliya Omulungi”?

Kitegeeza ki Okuba “Omusamaliya Omulungi”?

Bayibuli ky’egamba

Ekigambo “Omusamaliya Omulungi” kitera okukozesebwa okutegeeza omuntu abaako ky’akolawo okuyamba abo ababa mu bwetaavu. Ekigambo ekyo kyava ku lugero Yesu lwe yagera, okulaga nti muliraanwa omulungi ayamba abalala ka babe nga si ba ggwanga lye oba ng’embeera gye baakuliramu eyawukana ku yiye.

Ebiri mu kitundu kino

 Olugero ‘lw’Omusamaliya Omulungi’ lukwata ku ki?

Mu bumpimpi, bino bye bimu ku ebyo ebiri mu lugero lw’Omusamaliya Yesu lwe yagera: Omusajja Omuyudaaya yali atambula ng’ava e Yerusaalemi okugenda e Yeriko. Omusajja oyo yagwa mu babbi, ne bamukuba era ne bamuleka ng’abulako katono okufa.

Kabona Omuyudaaya eyali ayita mu kkubo eryo bwe yamusanga yamuyitako buyisi, era ne munnaddiini Omuyudaaya omulala naye bw’atyo bwe yakola. Wadde nga bonna baali ba ggwanga lye limu n’omusajja oyo, tebaamuyamba.

Oluvannyuma, omusajja ataali wa ggwanga lye yajja. Omusajja oyo yali Musamaliya. (Lukka 10:33; 17:16-18) Yakwatirwa omusajja oyo ekisa, n’ateeka eddagala ku biwundu bye, era n’amutwala mu nnyumba omusula abatambuze n’amujjanjaba. Ku lunaku olwaddako, yakwata ssente n’aziwa oyo eyali alabirira ennyumba omusula abatambuze, alabirire omusajja oyo era n’amugamba nti ssente endala z’anaasaasaanya ajja kuzimuwa ng’akomyewo.—Lukka 10:30-35.

 Lwaki Yesu yagera olugero olwo?

Yesu yagera olugero olwo okuyamba omusajja eyali alowooza nti abantu b’eggwanga lye n’eddiini ye, bokka be baali baliraanwa be. Yayagala okuyamba omusajja oyo okukitegeera nti ‘muliraanwa’ we si ye muntu ow’eggwanga lye yekka. (Lukka 10:36, 37) Olugero olwo lwateekebwa mu Bayibuli lusobole okuganyula abo bonna abaagala okusanyusa Katonda.—2 Timoseewo 3:16, 17.

 Olugero olwo lutuyigiriza ki?

Olugero olwo lutuyigiriza nti muliraanwa omulungi ayoleka ekisa mu ebyo by’akola. Abaako ky’akolawo okuyamba omuntu abonaabona k’abe wa ggwanga ki oba nga yakulira mu mbeera ki. Muliraanwa omulungi ayisa abalala nga ye bwe yandyagadde bamuyise.—Matayo 7:12.

 Abasamaliya baali baani?

Abasamaliya baali babeera mu kitundu ekimu ekyali e bukiikakkono wa Buyudaaya. Mu Basamaliya muzingiramu abantu abaazaalibwa, Abayudaaya n’abatali Bayudaaya bwe baafumbiriganwa.

Ekyasa ekyasooka we kyatuukira, Abasamaliya baali batandiseewo eddiini eyaabwe. Baali bakkiririza mu bitabo ebitaano ebisooka mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, naye ebitabo ebirala baali tebabikkiririzaamu.

Abayudaaya bangi abaaliwo mu kiseera kya Yesu, baali bayisaamu Abasamaliya amaaso era baali tebakolagana nabo. (Yokaana 4:9) Abayudaaya abamu bwe baayagalanga okufeebya omuntu, baamuyitanga “Musamaliya.”—Yokaana 8:48.

 Ebyo ebiri mu lugero lw’Omusamaliya Omulungi’ ddala byaliyo?

Ebyawandiikibwa tebiraga obanga ddala byaliyo. Kyokka Yesu bwe yabanga ayigiriza, yateranga okwogera ku buwangwa n’ebifo abantu abaabanga bamuwuliriza bye baali bamanyi obulungi, basobole okutegeera amangu kye yabanga ayogerako.

Ebyafaayo biraga nti ebintu bingi ebyogerwako mu lugero olwo bituufu. Ng’ekyokulabirako:

  • Okuva e Yerusaalemi okutuuka e Yeriko waliwo mayiro ezisukka mu 12, era oluguudo olwo luliko akaserengeto akaweza obuwanvu obusukka mu kitundu kya mayiro. Lukka 10:30 walaga nti abatambuze ‘baaserengetanga okuva e Yerusaalemi nga bagenda e Yeriko.’

  • Bakabona n’Abaleevi abaabeeranga e Yeriko baakozesanga oluguudo olwo nga bagenda e Yerusaalemi.

  • Ababbi baateranga okwekweka ku luguudo olwo nga bateega abantu abaabanga bayitawo, naddala abo abaabanga batambudde bokka.