Bayibuli Ekwatagana ne Ssaayansi?
Bayibuli ky’egamba
Yee. Kyo kituufu nti Bayibuli si kitabo kya ssaayansi. Naye bwe kituuka ku nsonga ezikwata ku ssaayansi, ky’eyogera kiba kituufu. Ka tulabeyo ebyokulabirako ebiraga nti Bayibuli ekwatagana ne ssaayansi, era nti erimu ebintu ebikwatagana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde era nga byawukana nnyo ku ebyo abantu abaaliwo mu kiseera Bayibuli we yawandiikibwa bye baali bakkiriza.
Ensi n’obwengula birina entandikwa. (Olubereberye 1:1) Okwawukana ku ekyo, enfumo nnyingi ez’edda zigamba nti ensi n’obwengula tebyatondebwa. Abababulooni baali bakkiriza nti bakatonda abaazaala obwengula baava mu gayanja abiri aganene. Ate enfumo endala zigamba nti obwengula bwava mu ggi eddene ennyo.
Ebiri mu bwengula bigoberera amateeka Katonda ow’amazima ge yabiteerawo, so si maanyi ga bakatonda aboogerwako mu nfumo. (Yobu 38:33; Yeremiya 33:25) Enfumo z’amawanga agatali gamu mu nsi ziraga nti abantu tebasobola kubaako kye bakolawo kwetaasa bintu bakatonda bye babakola, era ng’ebimu ku bintu ebyo bibi nnyo.
Ensi ewanikiddwa mu bbanga jjereere. (Yobu 26:7) Abantu bangi abaaliwo mu biseera eby’edda baalowoozanga nti ensi ya museetwe, era nti ewaniriddwa agasolo aganene gamba ng’embogo oba enfudu.
Amazzi agaba mu migga ne mu nzizi gava mu mazzi agaba gasituse okuva ku nnyanja, oluvannyuma ne gatonnya ng’enkuba oba ng’omuzira. (Yobu 36:27, 28; Omubuulizi 1:7; Isaaya 55:10; Amosi 9:6) Abayonaani ab’edda baalowoozanga nti amazzi agaba mu migga gava mu nnyanja eri wansi mu ttaka, era endowooza eyo yaliwo n’otuukira ddala mu kyasa eky’ekkumi n’omunaana.
Ensozi ziyimuka era ne zikka, era ensozi eziriwo leero zaaliko wansi mu nnyanja. (Zabbuli 104:6, 8) Okwawukana ku ekyo, enfumo nnyingi zigamba nti ensozi zaatondebwa nga bwe ziri leero era nti bakatonda be baazitonda.
Okuba abayonjo kituyamba okuba abalamu obulungi. Mu mateeka Katonda ge yawa eggwanga lya Isirayiri, mwalimu eryali libalagira okunaaba mu ngalo oluvannyuma lw’okukwata ku mulambo, okwawula abalwadde ku balamu, era n’okwewala okusaasaanya obubi bw’abantu. (Eby’Abaleevi 11:28; 13:1-5; Ekyamateeka 23:13) Kyokka mu kiseera Katonda we yaweera Abayisirayiri amateeka ago, erimu ku ddagala Abamisiri lye baakozesanga okujjanjaba ebiwundu lyabanga litabuddwamu obubi bw’abantu.
Mu Bayibuli mulimu ebikontana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde?
Bwe weekenneenya Bayibuli obulungi, tosangamu kintu kyonna kikontana n’ebyo bannassaayansi bye bazudde. Zino ze zimu ku ndowooza enkyamu abamu ze basinziirako okugamba nti ebiri mu Bayibuli tebikwatagana na ssaayansi:
Endowooza enkyamu: Bayibuli egamba nti ensi n’obwengula byatondebwa mu nnaku mukaaga nga buli lunaku lwa ssaawa 24.
Ekituufu: Okusinziira ku Bayibuli, ensi n’obwengula byatondebwa dda nnyo era ekiseera Katonda kye yamala ng’abitonda tekimanyiddwa. (Olubereberye 1:1) Ate era, obuwanvu bw’ennaku z’okutonda ezoogerwako mu Olubereberye essuula 1 tebumanyiddwa. Mu butuufu, ekiseera kyonna Katonda kye yamala ng’atonda ensi n’eggulu nakyo kiyitibwa “lunaku.”—Olubereberye 2:4.
Endowooza enkyamu: Bayibuli egamba nti ebimera byatondebwa ng’enjuba tennatondebwa, ate ng’ebimera bikozesa maanyi ga njuba okukola emmere yaabyo.—Olubereberye 1:11, 16.
Ekituufu: Bayibuli eraga nti enjuba, nga y’emu ku mmunyeenye eziri ku ‘ggulu,’ yatondebwa ng’ebimera tebinnatondebwa. (Olubereberye 1:1) Ekitangaala ekitonotono okuva ku njuba kyali kisobola okutuuka ku nsi ku “lunaku” olusooka, oba ekiseera ebintu lwe byatandika okutondebwa ku nsi. Olunaku “olw’okusatu” olw’okutonda we lwatuukira, ebbanga lyali lyeyongedde okweyerula era ekitangaala ky’enjuba ekyali kituuka ku nsi kyali kya maanyi ekimala nga kisobozesa ebimera okukola emmere yaabyo. (Olubereberye 1:3-5, 12, 13) Waayitawo ekiseera enjuba n’eryoka eba ng’esobola okulabikira ddala obulungi ku nsi.— Olubereberye 1:16.
Endowooza enkyamu: Bayibuli egamba nti enjuba yeetooloola ensi.
Ekituufu: Omubuulizi 1:5 wagamba nti: “Enjuba evaayo, era n’egwa; n’eyanguwa okuddayo mu kifo gy’eneeva nate.” Ebigambo ebyo biraga bulazi engeri enjuba gy’erabika ng’etambula ng’omuntu agirabidde wano ku nsi. Ne leero, omuntu ayinza okugamba nti “enjuba evuddeyo” oba nti “enjuba egudde,” wadde ng’aba akimanyi nti ensi ye yeetooloola enjuba.
Endowooza enkyamu: Bayibuli egamba nti ensi ya museetwe.
Ekituufu: Bayibuli ekozesa ebigambo ‘enkomerero y’ensi’ okutegeeza ‘ebitundu by’ensi ebisingayo okuba eby’ewala.’ Kino tekitegeeza nti ensi ya museetwe oba nti osobola okutuuka w’ekoma n’ogwayo. (Ebikolwa 1:8; obugambo obuli wansi) Mu ngeri y’emu, ebigambo ‘ensonda ennya ez’ensi’ bikozesebwa mu ngeri ya kabonero okutegeeza ensi yonna.—Isaaya 11:12; Lukka 13:29.