“Obulamu Obwa Nnamaddala”
Wanula:
1. Bwe ndowooza ku by’omu maaso nze bindeeter’e ssanyu;
Ng’ensi temuli bulumi bwonna;
Ng’abantu bali bumu;
Ebintu by’onn’e biriwo bisanyusa nnyo.
Tewali kintw’e kitiisa; mirembe gyokka.
(PRE-CHORUS)
Lunakw’o lwo lulikya byonn‘e ‘byo bibeewo nga
(CHORUS)
Tulin‘o bulamu obwa ddala nga tuli mu ssanyu.
Nga Yakuwa aggyeew’e bibi; birungi bye biriwo.
Mu nsi empya.
2. Buli muntu akola n’essanyu okutereeza ensi.
Emirembe, ssanyu, n’okwagalana—bye biri buli wamu.
Tewakyaliwo maziga—wadd’o bulumi.
Buli kimu kizze bujja, kirungi; kirungi.
(CHORUS)
Nga tulin’o bulamu obwa ddala; nga tuli mu ssanyu.
Nga Yakuwa aggyeew’e bibi; birungi bye biriwo.
Mu nsi empya.
(BRIDGE)
Nolwekyo byonna bye neesunga nze mu maaso
Birijja; ka mbifumiitirizeeko bulijjo
(CHORUS)
Nga tuli mu bulamu obwa ddala; nga tuli mu ssanyu.
Nga Yakuwa aggyeew’e bibi; birungi bye biriwo.
(CHORUS)
Tube n’obulamu obwa ddala nga tuli mu ssanyu.
Nga Yakuwa aggyeew’e bibi; birungi bye biriwo.
Mu nsi empya.
(ENDING)
Tuliba—tuliba
Mu nsi empya.
Tuliba—tuliba
Mu nsi empya.
Tuliba—tuliba
Mu nsi empya.
Tuliba—tuliba
Mu nsi empya.