OLUYIMBA 134
Abaana Kirabo kya Muwendo Okuva Eri Katonda
-
1. Omwami ne mukyala we
Oluzaala omwana bwe bati,
Baba bakwasiddwa ekintu,
Ekitali kyabwe bokka.
Kirabo ’kuva wa Yakuwa;
Ye nsibuko y’obulamu bwonna.
Ye y’alagirira ’bazadde
Ne bamanya eky’okukola.
(CHORUS)
Kye musigiddwa kitukuvu;
Bulamu obw’omuwendo.
Omwana mumuyigirize
’Biragiro bya Katonda.
-
2. Katonda by’abalagira,
Tebivanga ku mitima gyammwe.
Mubitegeezenga abaana;
Mukitwale nga kikulu.
Mukikole nga mutambula,
Bwe mutuula ne bwe muyimuka.
Balibijjukira gye bujja,
Kibayamb’o kuba ’beesigwa.
(CHORUS)
Kye musigiddwa kitukuvu;
Bulamu obw’omuwendo.
Omwana mumuyigirize
’Biragiro bya Katonda.
(Laba ne Ma. 6:6, 7; Bef. 6:4; 1 Tim. 4:16.)