OLUYIMBA 38
Ajja Kukuwa Amaanyi
-
1. Katonda ye yaleeta ’mazima gy’oli
Era n’akuggyayo mu nzikiza.
Yalaba mu mutima gwo ng’oyagala
Okukola ebyo by’ayagala.
Wamusuubiza nty’o libikola;
Yakuyamba era ’kyakuyamba.
(CHORUS)
Wagulwa na musaayi
gw’omuwendo ’mungi.
Ajja kukunyweza
obeere wa maanyi.
Ajja kukuluŋŋamya
era ’jja kukuuma.
Ajja kukunyweza
obeere wa maanyi.
-
2. Katonda yawaayo ’Mwana we ku lulwo;
Akwagaliza birungi byokka.
Bw’aba teyalemwa kuwaayo ’Mwana we,
Ajja kkuwa ’maanyi ge weetaaga.
Teyeerabiranga kwagala kwo.
Alabirira ’babe bulijjo.
(CHORUS)
Wagulwa na musaayi
gw’omuwendo ’mungi.
Ajja kukunyweza
obeere wa maanyi.
Ajja kukuluŋŋamya
era ’jja kukuuma.
Ajja kukunyweza
obeere wa maanyi.
(Laba ne Bar. 8:32; 14:8, 9; Beb. 6:10; 1 Peet. 2:9.)