2 Abakkolinso 6:1-18
6 Nga tukolera wamu naye,+ naffe tubeegayirira mukkirize ekisa kya Katonda eky’ensusso naye muleme kwerabira kigendererwa kyakyo.+
2 Kubanga agamba nti: “Mu kiseera eky’okukkiririzibwamu nnakuwulira, era nnakuyamba ku lunaku olw’obulokozi.”+ Laba! Kino kye kiseera eky’okukkiririzibwamu. Laba! Luno lwe lunaku olw’obulokozi.
3 Tetwagala kukola kintu kyonna kyesittaza, obuweereza bwaffe buleme okuvumirirwa;+
4 naye mu byonna tukiraga nti tuli baweereza ba Katonda,+ mu kugumiikiriza okungi, mu kubonaabona, mu kuba mu bwetaavu, mu bizibu,+
5 mu kukubibwa, mu kusibibwa mu kkomera,+ mu bwegugungo, mu kukola ennyo, mu buteebaka kiro, mu butaba na mmere;+
6 mu bulongoofu, mu kumanya, mu kuba abagumiikiriza,+ mu kulaga ekisa,+ mu kuba n’omwoyo omutukuvu, mu kulaga okwagala okutaliimu bukuusa,+
7 mu kwogera amazima, mu maanyi ga Katonda;+ nga tulina eby’okulwanyisa eby’obutuukirivu+ mu mukono ogwa ddyo* n’ogwa kkono,*
8 mu kuweebwa ekitiibwa ne mu kunyoomebwa, mu kwogerwako obubi ne mu kwogerwako obulungi. Tutwalibwa ng’abalimba kyokka nga tuli ba mazima,
9 ng’abatamanyiddwa so ng’ate tumanyiddwa bulungi, ng’abafa* so ng’ate, laba! tuli balamu,+ ng’ababonerezebwa* kyokka nga tetuttibwa,+
10 ng’abalina ennaku kyokka nga tusanyuka bulijjo, ng’abaavu kyokka nga tugaggawaza bangi, ng’abatalina kintu kyokka nga tulina ebintu byonna.+
11 Twogedde kaati gye muli,* mmwe Abakkolinso; emitima gyaffe gigaziye.
12 Okwagala kwaffe gye muli tekufunze,+ naye mmwe mufunze mu kwagala kwammwe.
13 N’olwekyo mukole kye kimu gye tuli—njogera nammwe ng’ayogera n’abaana—nammwe mugaziwe mu mitima gyammwe.+
14 Temwegattanga wamu na batali bakkiriza.*+ Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu?+ Oba ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya?+
15 Ate era, Kristo ne Beriyali*+ bassa batya ekimu? Oba omukkiriza* atabagana atya n’atali mukkiriza?+
16 Era yeekaalu ya Katonda etabagana etya n’ebifaananyi?+ Kubanga tuli yeekaalu ya Katonda omulamu;+ nga Katonda bwe yagamba nti: “Nnaabeeranga mu bo,+ ne ntambuliranga mu bo, era nnaabeeranga Katonda waabwe nabo banaabeeranga bantu bange.”+
17 “‘Kale muve wakati mu bo, era mubeeyawuleko,’ Yakuwa* bw’agamba, ‘era mulekere awo okukwata ku kitali kirongoofu’”;+ “‘nange nnaabasembeza.’”+
18 “‘Nnaabeera kitammwe,+ era nammwe munaabeera baana bange ab’obulenzi n’ab’obuwala,’+ Yakuwa* Omuyinza w’Ebintu Byonna bw’agamba.”
Obugambo Obuli Wansi
^ Oboolyawo nga bya kukozesa kwetaasa.
^ Oboolyawo nga bya kukozesa kulumba.
^ Oba, “ng’abo abatwalibwa ng’abagwanira okufa.”
^ Oba, “ng’abakangavvulwa.”
^ Obut., “Akamwa kaffe tukaasamizza okwogera nammwe.”
^ Obut., “Temubeeranga wansi wa kikoligo ekitenkanankana.”
^ Kiva mu kigambo ky’Olwebbulaniya ekitegeeza, “atalina mugaso.” Kikozesebwa ku Sitaani.
^ Oba, “omuntu omwesigwa.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.