2 Abassessalonika 3:1-18
3 Eky’enkomerero ab’oluganda, mutusabirenga,+ ekigambo kya Yakuwa* kisobole okweyongera okubuna mu bwangu+ era kigulumizibwe, nga bwe kiri gye muli,
2 era tusobole okuwona abantu ab’omutawaana era ababi,+ kubanga okukkiriza si kwa bonna.+
3 Naye Mukama waffe mwesigwa, ajja kubanyweza era abakuume okuva eri omubi.
4 Ate era, tubeesiga mu Mukama waffe nti mukola ebintu bye twabalagira era nti mujja kweyongera okubikola.
5 Mukama waffe ka yeeyongere okuluŋŋamya emitima gyammwe musobole okwagala Katonda+ era mwoleke obugumiikiriza+ bwa Kristo.
6 Kaakano ab’oluganda, tubalagira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, okweyawula ku buli wa luganda atatambula bulungi+ era atagoberera ebyo bye* mwafuna* okuva gye tuli.+
7 Mumanyi engeri gye musaanidde okutukoppamu,+ kubanga tetweyisa bubi nga tuli nammwe,
8 era tetwalya mmere ya bwereere*+ okuva eri omuntu yenna. Wabula twakolanga nnyo emisana n’ekiro tuleme kubaako n’omu ku mmwe gwe tutikka mugugu gwa kutulabirira.+
9 Si lwa kuba nti tetulina buyinza,+ naye twakola tutyo tusobole okubateerawo ekyokulabirako nammwe mukole nga ffe.+
10 Mu butuufu, bwe twali nammwe twabalagiranga nti: “Omuntu yenna atayagala kukola, n’okulya talyanga.”+
11 Tuwulira nti abamu mu mmwe tebatambula bulungi,+ tebakola mulimu gwonna, naye beeyingiza mu nsonga ezitabakwatako.+
12 Abantu ng’abo tubalagira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu Kristo okukola emirimu gyabwe nga tebeeyingiza mu nsonga z’abalala, era balye emmere gye bakoleredde.+
13 Naye mmwe ab’oluganda temulekeranga awo kukola birungi.
14 Singa omuntu yenna tagondera kigambo kyaffe ekiri mu bbaluwa eno, mumusseeko eriiso, era mulekere awo okukolagana naye,+ alyoke akwatibwe ensonyi.
15 Kyokka temumutwalanga ng’omulabe, naye mweyongere okumubuulirira+ ng’ow’oluganda.
16 Kaakano Mukama waffe ow’emirembe abawenga emirembe mu buli kintu.+ Mukama waffe abeere nammwe mmwenna.
17 Nze Pawulo, mpandiise okulamusa kuno n’omukono gwange,+ era ke kabonero aka buli bbaluwa yange; eno ye ngeri gye mpandiikamu.
18 Ekisa eky’ensusso ekya Mukama waffe Yesu Kristo kibeere nammwe mmwenna.
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. A5.
^ Oba, “bulagirizi bwe.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “bye baafuna.”
^ Oba, “nga tetugisasulidde.”