2 Timoseewo 1:1-18

  • Okulamusa (1, 2)

  • Pawulo yeebaza Katonda olw’okukkiriza kwa Timoseewo (3-5)

  • Kuuma ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe (6-11)

  • Nywerera ku bigambo eby’omuganyulo (12-14)

  • Abalabe ba Pawulo ne mikwano gye (15-18)

1  Nze Pawulo, omutume wa Kristo Yesu nga Katonda bwe yayagala, okusinziira ku kisuubizo ky’obulamu ekiri mu Kristo Yesu,+  mpandiikira Timoseewo omwana wange omwagalwa:+ Ekisa eky’ensusso, obusaasizi, n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu Mukama waffe bibeere naawe.  Nneebaza Katonda gwe mpeereza mu buweereza obutukuvu nga bajjajjange bwe baakola era nga nnina omuntu ow’omunda omuyonjo, era sirekangayo kukujjukira nga mmwegayirira emisana n’ekiro.  Bwe nzijukira amaziga go, mpulira nga njagala nnyo okukulaba nsobole okujjula essanyu.  Kubanga nzijukira okukkiriza okutaliimu bukuusa kw’olina,+ okwasooka okubeera mu jjajjaawo Looyi ne mu maama wo Ewuniike, era ndi mukakafu nti naawe okulina.  Olw’ensonga eyo, ekirabo kya Katonda ekiri mu ggwe kye wafuna bwe nnakussaako emikono,+ nkujjukiza okiseeseemu ng’aseesa mu muliro.  Kubanga Katonda teyatuwa mwoyo gwa butiitiizi,+ wabula ogw’amaanyi,+ ogw’okwagala, n’ogw’okubeera n’endowooza ennuŋŋamu.  N’olwekyo, tokwatibwanga nsonyi kubuulira bikwata ku Mukama waffe,+ ne ku nze eyasibibwa ku lulwe, naye beeranga mwetegefu okubonaabona+ olw’amawulire amalungi nga weesiga amaanyi ga Katonda.+  Yatulokola era n’atuyita okubeera abatukuvu,+ si lwa bikolwa byaffe, wabula olw’ekigendererwa kye n’olw’ekisa kye eky’ensusso.+ Ekisa kino kyatulagibwa okuyitira mu Kristo Yesu okuva edda ennyo, 10  naye kaakano kyeyolese kaati okuyitira mu kulabisibwa kw’Omulokozi waffe, Kristo Yesu,+ eyaggyawo okufa,+ n’atusobozesa okutegeera engeri gye tusobola okufuna obulamu+ n’obutavunda+ okuyitira mu mawulire amalungi+ 11  ge nnalonderwa okuba omubuulizi, omutume, era omuyigiriza.+ 12  Kyenva mbonaabona bwe nti,+ naye sikwatibwa nsonyi.+ Kubanga gwe nzikiririzaamu mmumanyi era ndi mukakafu nti asobola okukuuma kye mmuteresezza okutuusa ku lunaku luli.+ 13  Nywereranga ku mutindo gw’ebigambo eby’omuganyulo+ bye wawulira okuva gye ndi. Binywerereko ng’olina okukkiriza n’okwagala ebiva mu kuba obumu ne Kristo Yesu. 14  Ekintu kino eky’omuwendo ekyakukwasibwa kikuume okuyitira mu mwoyo omutukuvu oguli mu ffe.+ 15  Okimanyi nti abantu bonna ab’omu ssaza ly’e Asiya+ banjabulira, nga mu bano mwe muli Fugero ne Kerumogene. 16  Mukama asaasire ab’ennyumba ya Onesifolo,+ kubanga emirundi mingi yanzizaamu amaanyi, era teyankwatirwa nsonyi nga ndi mu njegere. 17  Bwe yali mu Rooma yafuba nnyo okunnoonya era n’anzuula. 18  Mukama waffe Yakuwa* amusaasire ku lunaku luli. Era omanyi bulungi byonna bye yakola mu Efeso.

Obugambo Obuli Wansi