2 Timoseewo 3:1-17
3 Naye tegeera kino nti mu nnaku ez’enkomerero,+ ebiseera biriba bizibu nnyo.
2 Kubanga abantu baliba beeyagala bokka, nga baagala nnyo ssente, nga beepanka, nga ba malala, nga bavvoola, nga tebagondera bazadde baabwe, nga tebeebaza, nga si beesigwa,
3 nga tebaagala ba luganda lwabwe, nga tebakkiriza kukkaanya, nga bawaayiriza, nga tebeefuga, nga bakambwe, nga tebaagala bintu birungi,
4 nga ba nkwe, nga bakakanyavu, nga beegulumiza, nga baagala eby’amasanyu mu kifo ky’okwagala Katonda,
5 era nga bawa ekifaananyi nti beemalidde ku Katonda naye nga bye bakola tebiraga nti bamwemaliddeko;+ era bano beewalenga.
6 Mu abo mwe muva abasajja abagenda mu mayumba nga balimba abantu mu ngeri ey’obukujjukujju ne batwala mu busibe abakazi abanafu era abajjudde ebibi, abatwalirizibwa okwegomba okutali kumu,
7 abayiga bulijjo naye nga tebayinza kutegeerera ddala mazima.
8 Nga Yane ne Yambere bwe baawakanya Musa, bano nabo bawakanya amazima. Endowooza y’abasajja bano yayonoonekera ddala, era tebasiimibwa kubanga tebatambulira mu kukkiriza.
9 Naye tebajja kweyongera kukola bwe batyo, kubanga obusirusiru bwabwe bujja kweyoleka eri abantu bonna era ng’obusirusiru bw’abasajja abo ababiri bwe bweyoleka.+
10 Naye ggwe ogoberedde butiribiri okuyigiriza kwange, empisa zange,+ ekiruubirirwa kyange, okukkiriza kwange, obugumiikiriza bwange, okwagala kwange, n’okugumiikiriza kwange.
11 Ate era omanyi okubonaabona kwe nnayitamu mu Antiyokiya,+ mu Ikoniyo,+ ne mu Lusitula;+ nnagumiikiriza okuyigganyizibwa okwo kwonna, era Mukama waffe* yannunula.+
12 Mu butuufu, abo bonna abaagala okutambulira mu bulamu obw’okwemalira ku Katonda ng’abagoberezi ba Kristo Yesu, bajja kuyigganyizibwanga.+
13 Naye abantu ababi n’abalimba bajja kweyongerera ddala okuba ababi, nga babuzaabuza abalala era nga nabo babuzaabuzibwa.+
14 Naye ggwe, weeyongere okutambulira mu bintu bye wayiga era bye wakkiriza nti bituufu,+ kubanga omanyi abantu abaabikuyigiriza,
15 era okuva mu buwere+ wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu+ ebisobola okukufuula omugezi n’ofuna obulokozi okuyitira mu kukkiririza mu Kristo Yesu.+
16 Buli Kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda,+ era kigasa mu kuyigiriza,+ mu kunenya, mu kutereeza ebintu, ne mu kukangavvula mu butuukirivu,+
17 omuntu wa Katonda abenga n’obusobozi, era ng’alina byonna bye yeetaaga okusobola okukola buli mulimu omulungi.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Mukama,” mu Luyonaani, Kyʹri·os.