Eby’Abaleevi 25:1-55
25 Yakuwa n’ayogera ne Musa ku Lusozi Sinaayi n’amugamba nti:
2 “Gamba Abayisirayiri nti, ‘Bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa,+ mulekanga ensi n’ewummula n’ekwata ssabbiiti ya Yakuwa.+
3 Okumala emyaka mukaaga munaasiganga ensigo mu nnimiro zammwe, era okumala emyaka mukaaga munaasaliranga ennimiro zammwe ez’emizabbibu, era ne mukungula ebirime by’omu nsi.+
4 Naye omwaka ogw’omusanvu gunaabanga ssabbiiti, era mulekanga ensi n’ewummulira ddala, kubanga ssabbiiti ya Yakuwa. Temusiganga nsingo mu nnimiro zammwe era temusaliranga nnimiro zammwe ez’emizabbibu.
5 Temukungulanga birime eby’emmere ey’empeke ebyemeza byokka ebinaabanga bisigadde mu nnimiro oluvannyuma lw’okukungula, era temukuŋŋaanyanga bibala bya mizabbibu egitali misalire. Gunaabanga mwaka gwa nsi okuwummulira ddala.
6 Kyokka muyinza okulya emmere eneebalanga mu nsi mu kiseera kyayo ekya ssabbiiti; ggwe, n’abaddu bo n’abazaana bo, n’omukozi wo akolera empeera, n’abasenze ababeera naawe muyinza okugiryako,
7 awamu n’ensolo zammwe ez’awaka era n’ensolo ez’omu nsiko eziri mu nsi yammwe. Ebyo byonna ensi by’eneebazanga biyinza okuliibwa.
8 “‘Munaabalanga ssabbiiti musanvu ez’emyaka, emyaka musanvu emirundi musanvu, era ennaku za ssabbiiti omusanvu ez’emyaka zonna awamu zinaabanga emyaka 49.
9 Munaafuuwanga eŋŋombe mu ddoboozi ery’omwanguka mu mwezi ogw’omusanvu ku lunaku olw’ekkumi; ku Lunaku olw’Okutangirirako Ebibi;+ munaafuuwanga eŋŋombe n’ewulirwa mu nsi yammwe yonna.
10 Munaatukuzanga omwaka ogw’ataano era munaalangiriranga eddembe mu nsi eri abantu bonna abagibeeramu.+ Omwaka ogwo gunaabanga Jjubiri gye muli, era buli omu anaddangayo ku ttaka ly’obusika bwe ne mu bantu be.+
11 Omwaka ogw’ataano gunaabanga Jjubiri gye muli. Temusiganga era temukungulanga ebirime eby’emmere ey’empeke ebyemeza byokka, era temukuŋŋaanyanga bibala by’emizabbibu egitali misalire.+
12 Eyo Jjubiri. Gunaabanga mwaka mutukuvu gye muli. Munaalyanga ebyo ebinaabanga byemezezza byokka mu nsi.+
13 “‘Mu mwaka ogwo ogwa Jjubiri, buli omu ku mmwe addengayo ku ttaka ly’obusika bwe.+
14 Bw’oguzanga munno ekintu oba bw’ogulanga ekintu ku munno, buli omu takumpanyanga munne.+
15 Ogulanga ku munno ng’osinziira ku myaka eginaabanga giyiseewo okuva ku Jjubiri era naye akuguzanga ng’asinziira ku myaka gy’ebirime eginaabanga gisigaddeyo.+
16 Emyaka egisigaddeyo bwe ginaabanga emingi, ayongezanga ku muwendo gw’ekigulwa, ate emyaka egisigaddeyo bwe ginaabanga emitono, akendeezanga ku muwendo gw’ekigulwa, kubanga akuguza muwendo gw’ebirime ebinaakungulwa.
17 Tewabangawo n’omu ku mmwe anyigiriza munne,+ era mutyanga Katonda wammwe,+ kubanga nze Yakuwa Katonda wammwe.+
18 Bwe munaakwatanga amateeka gange n’ebiragiro byange, mujja kubeera mu nsi nga muli mu mirembe.+
19 Ensi ejja kubalanga ebibala byayo,+ era mujja kulyanga mukkute mugibeeremu mu mirembe.+
20 “‘Naye muyinza okwebuuza nti: “Tunaalya ki mu mwaka ogw’omusanvu nga tetusize oba nga tetukungudde?”+
21 Temweraliikirira. Nja kubawa omukisa mu mwaka ogw’omukaaga, ensi ebalenga emmere eneebamalanga emyaka esatu.+
22 Mujja kusiganga mu mwaka ogw’omunaana mulye ku bye mwakungula edda okutuusa mu mwaka ogw’omwenda. Mujja kulyanga bye mwakungula edda okutuusa amakungula ag’omwaka ogw’omwenda lwe ganaatuuukanga.
23 “‘Ettaka teritundibwanga kutwalibwa lubeerera,+ kubanga lyange.+ Kubanga gye ndi muli bagwira era basenze.+
24 Mu nsi yonna ey’obutaka bwammwe, atunda anaabanga n’eddembe okununula ettaka lye.
25 “‘Muganda wo bw’ayavuwalanga ne kiba nga kimwetaagisa okutunda ku ttaka lye, omununuzi amulinako oluganda olw’okumpi anajjanga n’anunula ekyo munne kye yatunda.+
26 Omuntu bw’ataabenga n’amununula, naye n’agaggawala, n’aba ng’asobola okununula ettaka lye,
27 anaabaliriranga ssente ezirigyaamu ng’asinziira ku myaka gy’anaabanga amaze ng’alitunze era ssente ezinaabanga zisusseemu anaaziwanga oyo eyaligula, awo n’alyoka adda ku ttaka lye.+
28 “‘Naye bw’abanga tasobola kulinunula, eyaligula anaalisigazanga okutuusa ku mwaka gwa Jjubiri;+ linaddiranga nnyini lyo mu mwaka gwa Jjubiri, era anaddanga ku ttaka lye.+
29 “‘Omuntu bw’atundanga ennyumba ye eri mu kibuga ekiriko bbugwe, anaabanga n’eddembe okuginunula okumala omwaka mulamba okuva lw’anaabanga agitunze; anaamalanga omwaka mulamba ng’alina eddembe okuginunula.+
30 Naye bw’ataaginunulenga mu bbanga ery’omwaka omulamba, ennyumba eri mu kibuga ekiriko bbugwe eneebanga y’oyo eyagigula mu mirembe gye gyonna. Teemuddizibwenga mu mwaka gwa Jjubiri.
31 Naye ennyumba eziri mu bitundu ebitaliiko bbugwe zinaabalirwanga wamu n’ebibanja eby’omu byalo. Nnannyini yo anaabanga n’eddembe okuginunula, era mu mwaka gwa Jjubiri eneemuddizibwanga.
32 “‘Naye byo ebibuga by’Abaleevi n’ennyumba eziri mu bibuga byabwe,+ Abaleevi banaabanga n’eddembe okubinunula ebbanga lyonna.
33 Omuleevi bw’ataanunulenga nnyumba ye eri mu kibuga omuli ettaka lye, eneemuddizibwanga mu mwaka gwa Jjubiri,+ kubanga ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi bwe butaka bwabwe mu Bayisirayiri.+
34 Naye ettaka eryetoolodde ebibuga byabwe+ teritundibwanga, kubanga obwo butaka bwabwe obw’olubeerera.
35 “‘Muganda wo abeera mu kitundu kyo bw’ayavuwalanga n’aba nga takyasobola kweyimirizaawo, omuyambanga+ nga bwe wandiyambye omugwira n’omusenze,+ n’asobola okweyongera okubaawo nga mulamu wamu naawe.
36 Bw’omuwolanga tomuggyangako magoba.+ Otyanga Katonda wo;+ era muganda wo aneeyongeranga okubaawo nga mulamu wamu naawe.
37 Bw’omuwolanga ssente tomuggyangako magoba+ era tomuwanga mmere olw’okwagala akuddize esukkawo.
38 Nze Yakuwa Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ya Misiri+ okubawa ensi ya Kanani, ndyoke nkyoleke nti ndi Katonda wammwe.+
39 “‘Muganda wo abeera mu kitundu kyo bw’ayavuwalanga ne yeetunda gy’oli,+ tomuwalirizanga kukola mirimu gya buddu.+
40 Asaanidde ayisibwenga ng’omukozi akolera empeera+ era ng’omusenze. Anaakukoleranga okutuusa ku mwaka gwa Jjubiri.
41 Awo anaakuvangako ye n’abaana* be, n’adda mu bantu be. Anaddangayo ku butaka bwa bajjajjaabe.+
42 Kubanga Abayisirayiri baddu bange be nnaggya mu nsi ya Misiri.+ Tebeetundanga mu buddu.
43 Tomuyisanga bubi,+ era otyanga Katonda wo.+
44 Abaddu abasajja n’abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde; muyinza okugula abaddu abasajja n’abakazi mu mawanga ago.
45 Era muyinza okugula abaddu mu baana b’abagwira ababeera nammwe,+ ne mu bantu baabwe be baazaalira mu nsi yammwe, era banaabeeranga bammwe.
46 Muyinza okubafuula obusika obw’olubeerera eri abaana bammwe abanaabaddiriranga. Abo muyinza okubafuula abakozi bammwe, naye baganda bammwe Abayisirayiri temubayisanga bubi.+
47 “‘Naye omugwira oba omusenze ali mu mmwe bw’agaggawalanga, muganda wo abeera mu kitundu kye n’ayavuwala, ne yeetunda eri omugwira oyo oba omusenze abeera mu mmwe, oba eri omu ku b’eŋŋanda z’omugwira,
48 anaabanga n’eddembe okununulibwa oluvannyuma lw’okwetunda. Omu ku baganda be ayinza okumununula,+
49 oba kitaawe omuto oba omwana wa kitaawe omuto, oba omu ku b’eŋŋanda ze amulinako oluganda olw’okumpi* ayinza okumununula.
“‘Oba ye kennyini bw’anaabanga agaggawadde, ayinza okwenunula.+
50 Anaabaliriranga ekiseera n’oyo eyamugula okuva ku mwaka lwe yamugula okutuuka mu mwaka gwa Jjubiri,+ era ssente ezaamugula zinaatuukananga n’omuwendo gw’emyaka egyo.+ Mu kiseera ekyo kyonna ng’amukolera, ennaku z’anaakoleranga zinaabalirirwanga nga zigererwa ku mpeera y’omukozi akolera empeera.+
51 Bwe wabanga wakyasigaddeyo emyaka mingi, anaasasulanga ssente ez’okumununula ng’asinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo.
52 Naye bwe wabanga wabulayo emyaka mitono okutuuka ku mwaka gwa Jjubiri, anaabaliriranga era n’asasula ssente ez’okumununula ng’asinziira ku myaka eginaabanga gisigaddeyo.
53 Anaayisibwanga ng’omukozi akolera empeera emyaka gyonna gy’anaakolera, era okakasanga nti mukama we tamuyisa bubi.+
54 Naye bw’anaabanga tasobola kwenunula mu ngeri eyo, ye n’abaana* be banaaweebwanga eddembe ne bagenda mu mwaka gwa Jjubiri.+
55 “‘Kubanga Abayisirayiri baddu bange. Baddu bange be nnaggya mu nsi ya Misiri.+ Nze Yakuwa Katonda wammwe.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ne batabani.”
^ Oba, “oluganda olw’omusaayi.”
^ Obut., “ne batabani.”