Abaggalatiya 5:1-26

5  Okusobola okufuna eddembe eryo, Kristo yatufuula ba ddembe. N’olwekyo, mube banywevu,+ era temukkiriza kuddamu kusibibwa mu kikoligo kya buddu.+  Laba! Nze Pawulo mbagamba nti, bwe mukomolebwa, Kristo ajja kuba takyalina ky’abagasa.+  Ate era, mbuulira buli muntu akomolebwa nti alina okutuukiriza Amateeka gonna.+  Mweyawudde ku Kristo, mmwe abagezaako okufuna obutuukirivu olw’amateeka;+ muvudde mu kisa kye eky’ensusso.  Naye ffe ku bw’omwoyo tulindirira obutuukirivu obwasuubizibwa, obujja okufunibwa olw’okukkiriza kwe tulina.  Mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa si kikulu;+ ekikulu kwe kukkiriza okuba kukolera ku kwagala.  Mwali mutambula* bulungi.+ Ani yabalemesa okweyongera okugondera amazima?  Ani yabasendasenda okweyisa bwe mutyo? Oyo abayita si y’akola bw’atyo.  Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.+ 10  Ndi mukakafu nti mmwe abali obumu ne Mukama waffe+ temujja kufuna ndowooza ndala; naye oyo abaleetedde ebizibu,+ k’abe ani, ajja kuweebwa ekibonerezo ekimugwanira. 11  Naye nze, ab’oluganda, bwe mba nga nkyabuulira okukomolebwa, ate lwaki nkyayigganyizibwa? Bwe kiba nti okukomolebwa kwe nkyabuulira, omuti ogw’okubonaabona*+ olwo guba tegukyali kyesittaza. 12  Nnandyagadde abo abagezaako okubatabulatabula beeraawe. 13  Ab’oluganda, mwayitibwa mubeere ba ddembe; kyokka eddembe lino temulikozesa ng’eky’okusinziirako okugoberera okwegomba okw’omubiri,+ naye buli omu aweereze munne mu kwagala.+ 14  Kubanga Amateeka gonna gatuukirizibwa* mu kiragiro kimu, ekigamba nti: “Yagalanga muliraanwa* wo nga bwe weeyagala.”+ 15  Naye, bwe muba nga mugenda mu maaso okulumagana n’okulyaŋŋana,+ mwegendereze muleme kwemalawo.+ 16  Naye ŋŋamba nti, Mutambulirenga mu mwoyo,+ era temujja kukola kintu kyonna mubiri kye gwegomba.+ 17  Kubanga omubiri gukontana n’omwoyo mu ebyo bye gwegomba, era n’omwoyo gukontana n’omubiri; omubiri n’omwoyo bikontana ne kiba nti bye mwagala okukola byennyini si bye mukola.+ 18  Ate era, bwe muba nga mukulemberwa omwoyo, temuba wansi w’amateeka. 19  Kaakano, ebikolwa eby’omubiri bya lwatu era bye bino: ebikolwa eby’obugwenyufu,*+ obutali bulongoofu, obugwagwa,*+ 20  okusinza ebifaananyi, eby’obusamize,*+ empalana, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawulamu, okwekutulamu obubiina, 21  ensaalwa, obutamiivu,+ ebinyumu, n’ebiringa ebyo.+ Mbalabula ku bintu bino nga bwe nnasooka okubalabula, nti abakola ebintu ng’ebyo tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.+ 22  Ku luuyi olulala, ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo kwe kwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi,+ okukkiriza, 23  obukkakkamu, n’okwefuga.+ Ebiri ng’ebyo tebiriiko tteeka libikugira. 24  Ate era, abo aba Kristo Yesu baakomerera ku muti omubiri awamu n’okwegomba kwagwo okubi.+ 25  Bwe tuba ng’obulamu bwaffe tubutambuliza ku bulagirizi bw’omwoyo, ka tweyongere okugoberera obulagirizi bw’omwoyo.+ 26  Ka tulemenga okwetwala nti tuli ba kitalo,+ nga tuleetawo okuvuganya wakati mu ffe,+ era nga tukwatirwagana obuggya.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “mudduka.”
Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “gawumbibwawumbibwako.”
Laba obugambo obuli wansi ku Mat 5:43.
Mu Luyonaani, por·neiʹa. Laba Awanny.
Laba obugambo obuli wansi ku Mak 7:22.
Oba, “obulogo; okukozesa ebiragalalagala.”