Abaruumi 4:1-25
4 Ekyo bwe kiba bwe kityo, tugambe nti jjajjaffe Ibulayimu yafuna ki?
2 Singa Ibulayimu yayitibwa mutuukirivu olw’ebikolwa bye, yandibadde alina ky’asinziirako okwenyumiriza, naye si mu maaso ga Katonda.
3 Ekyawandiikibwa kigamba ki? “Ibulayimu n’akkiririza mu Yakuwa* n’abalibwa okuba omutuukirivu.”+
4 Omuntu akola, empeera gy’aweebwa tetwalibwa ng’ekisa eky’ensusso ekimulagiddwa, wabula ng’ebbanja eririna okumusasulwa.
5 Ku luuyi olulala, omuntu atakola naye ng’akkiririza mu Oyo ayita omwonoonyi omutuukirivu, abalibwa okuba omutuukirivu olw’okukkiriza kwe.+
6 Era Dawudi ayogera ku ssanyu ly’omuntu Katonda gw’abala ng’omutuukirivu awatali bikolwa. Agamba nti:
7 “Balina essanyu abasonyiyiddwa ebikolwa byabwe ebibi era abaggiddwako* ebibi byabwe;
8 alina essanyu omuntu Yakuwa* gw’atalibalira kibi kye.”+
9 Essanyu lino lifunibwa bakomole bokka, oba n’abatali bakomole?+ Tugamba nti: “Ibulayimu yabalibwa okuba omutuukirivu lwa kukkiriza.”+
10 Yali mu mbeera ki bwe yabalibwa okuba omutuukirivu? Nga mukomole oba nga si mukomole? Nga tannakomolebwa, so si ng’amaze okukomolebwa.
11 Katonda yamulagira okukomolebwa ng’akabonero+ akalaga obutuukirivu olw’okukkiriza kwe yalina nga tannakomolebwa, asobole okubeera kitaawe w’abo bonna abalina okukkiriza+ nga si bakomole, nabo basobole okubalibwa ng’abatuukirivu;
12 era asobole okubeera kitaawe w’abakomole, kyokka si bakomole bokka, naye era n’abo abooleka okukkiriza ng’okwo jjajjaffe Ibulayimu+ kwe yalina nga si mukomole.
13 Ibulayimu n’ezzadde lye baaweebwa ekisuubizo ky’okusikira ensi+ olw’obutuukirivu bwe yafuna olw’okukkiriza so si olw’amateeka.+
14 Bwe kiba nti abo abanywerera ku mateeka be basika, okukkiriza kuba tekugasa era n’ekisuubizo kiba kiggiddwawo.
15 Ekituufu kiri nti, Amateeka galeeta obusungu bwa Katonda,+ naye awataba mateeka tewaba kwonoona.+
16 Eyo ye nsonga lwaki ekisuubizo ekyo kyaweebwa lwa kukkiriza kiryoke kibe nga kyesigamye ku kisa eky’ensusso,+ ezzadde lye lyonna liryoke libe n’ekisuubizo ekyo,+ si abo bokka abanywerera ku Mateeka naye era n’abo abanywerera ku kukkiriza kwa Ibulayimu, kitaffe ffenna.+
17 (Nga bwe kyawandiikibwa nti: “Nkulonze okubeera kitaawe w’amawanga mangi.”)+ Kino kyaliwo mu maaso ga Katonda gwe yali akkiririzaamu, azuukiza abafu era ayogera ku bintu ebitaliiwo ng’ebiriwo.*
18 Yalina essuubi era yali akkiriza nti ajja kufuuka kitaawe w’amawanga amangi, wadde nga tewaaliwo kisinziirwako kuba na ssuubi eryo. Yali akkiririza mu ekyo ekyayogerwa nti: “Ezzadde lyo bwe liriba bwe lityo.”+
19 Wadde nga teyaddirira mu kukkiriza, yalowooza ku mubiri gwe ogwali ng’ogufudde (kubanga yali aweza emyaka nga 100),+ era yalowooza ne ku ky’okuba nti Saala yali tazaala.*+
20 Naye olw’ekisuubizo kya Katonda, teyaddirira mu kukkiriza, naye yafuuka wa maanyi olw’okukkiriza kwe, n’agulumiza Katonda,
21 era yali mukakafu ddala nti Katonda yali asobola okutuukiriza kye yasuubiza.+
22 Bwe kityo “n’abalibwa okuba omutuukirivu.”+
23 Kyokka ekigambo “n’abalibwa” tekyawandiikibwa ku lulwe yekka,+
24 naye era ne ku lwaffe abajja okubalibwa ng’abatuukirivu, kubanga tukkiriza Oyo eyazuukiza Yesu Mukama waffe okuva mu bafu.+
25 Yaweebwayo ku lw’ebibi byaffe+ era n’azuukizibwa, Katonda asobole okutuyita abatuukirivu.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Laba Ebyong. A5.
^ Oba, “abasonyiyiddwa.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “aleteera ebintu ebitaliiwo okubaawo.”
^ Oba, “yali mugumba.”