Danyeri 12:1-13
12 “Mu kiseera ekyo Mikayiri*+ aliyimirira,* omulangira omukulu+ ayimirira ku lw’abantu bo.* Era walibaawo ekiseera eky’obuyinike ekitabangawo kasookedde eggwanga libaawo okutuusa mu kiseera ekyo. Era mu kiseera ekyo abantu bo baliwonawo,+ buli alisangibwa ng’awandiikiddwa mu kitabo.+
2 Era bangi ku abo abeebase mu nfuufu y’ensi balizuukuka, abamu okufuna obulamu obutaggwaawo, ate abalala okunenyezebwa n’okunyoomebwa emirembe gyonna.
3 “Abo ab’amagezi balyakaayakana ng’okwakaayakana kw’omu bbanga, era abo abaliba bayamba abangi okutambulira mu kkubo ery’obutuukirivu balyakaayakana ng’emmunyeenye emirembe n’emirembe.
4 “Naye ggwe Danyeri, kuuma ebigambo bino nga bya kyama, era ekitabo kisseeko akabonero okutuusa mu kiseera eky’enkomerero.+ Bangi balidda eno n’eri,* era okumanya okutuufu kulyeyongera.”+
5 Oluvannyuma, nze Danyeri nnatunula ne ndaba abalala babiri nga bayimiridde awo, omu ku ludda olumu olw’omugga n’omulala ku ludda olulala olw’omugga.+
6 Awo omu n’agamba omusajja eyali ayambadde olugoye olwa kitaani,+ eyali waggulu w’amazzi g’omugga nti: “Ekiseera kyenkana wa ekiriyitawo okutuuka ku nkomerero y’ebintu bino ebyewuunyisa?”
7 Awo ne mpulira ebyayogerwa omusajja eyali ayambadde olugoye olwa kitaani, eyali waggulu w’amazzi g’omugga, bwe yawanika waggulu omukono gwe ogwa ddyo n’ogwa kkono n’alayira Oyo abeerawo emirembe gyonna,+ n’agamba nti: “Ekiseera n’ebiseera n’ekitundu ky’ekiseera* bigerekeddwa. Amangu ddala ng’amaanyi g’abantu abatukuvu gamaze okubetentebwa, ebintu bino byonna biriggwa.”+
8 Naye nze, nnawulira naye saategeera;+ kyennava ŋŋamba nti: “Mukama wange, kiki ekiriva mu bintu bino?”
9 Awo n’agamba nti: “Genda ggwe Danyeri, kubanga ebigambo bino bya kukuumibwa nga bya kyama era nga bissiddwako akabonero okutuusa mu kiseera eky’enkomerero.+
10 Bangi balyeyonja, balyetukuza, era balirongoosebwa.+ Ababi balikola ebintu ebibi, era ku babi tekuli n’omu alitegeera; naye abo abalina amagezi balitegeera.+
11 “Era okuva ssaddaaka eya buli lunaku+ lw’eriggibwawo, n’ekyenyinyaza ekizikiriza ne kissibwawo,+ walibaawo ennaku 1,290.
12 “Alina essanyu oyo alindirira okutuusa ennaku 1,335 lwe ziriggwaako!
13 “Naye ggwe sigala ng’oli munywevu okutuuka ku nkomerero. Ojja kuwummula, naye oliyimirira n’oweebwa omugabo gwo* ennaku bwe ziriggwaako.”+
Obugambo Obuli Wansi
^ Litegeeza, “Ani alinga Katonda?”
^ Oba, “alijja.”
^ Obut., “ku lw’abaana b’abantu bo.”
^ Oba, “[ekitabo] balikyekenneenya n’obwegendereza.”
^ Kwe kugamba, ebiseera bisatu n’ekitundu.
^ Oba, “ekifo kyo.”