Ebikolwa 18:1-28
18 Ebyo bwe byaggwa, Pawulo n’ava mu Asene n’agenda e Kkolinso.
2 N’asangayo Omuyudaaya ayitibwa Akula+ enzaalwa y’e Ponto ne mukyala we Pulisikira. Baali kye bajje bave mu Yitale kubanga Kulawudiyo yali alagidde Abayudaaya bonna okuva mu Rooma. Awo n’agenda ewaabwe,
3 n’abeera mu maka gaabwe n’akola nabo,+ kubanga bonna baali bakozi ba weema.
4 Buli ssabbiiti+ yabuuliranga* mu kkuŋŋaaniro+ ng’agezaako okukkirizisa Abayudaaya n’Abayonaani.
5 Siira+ ne Timoseewo+ bwe baatuuka nga bava e Masedoniya, Pawulo ne yeemalira ku kubuulira ekigambo, ng’awa Abayudaaya obujulirwa okukakasa nti Yesu ye Kristo.+
6 Naye bwe baamuwakanya era ne bamuvuma, n’akunkumula ebyambalo bye+ n’abagamba nti: “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe.+ Nze siriiko musango.+ Kati nja kugenda eri ab’amawanga.”+
7 Awo n’avaayo* n’agenda mu nnyumba y’omusajja ayitibwa Tito Yusito eyali atya Katonda. Ennyumba ye yali eriraanye ekkuŋŋaaniro.
8 Kulisupo+ omukulu w’ekkuŋŋaaniro n’akkiriza Mukama waffe awamu n’ab’ennyumba ye bonna. Ate era bangi ku Bakkolinso abaawulira amawulire amalungi bakkiriza ne babatizibwa.
9 Naye ekiro Pawulo yafuna okwolesebwa n’awulira Mukama waffe ng’amugamba nti: “Totya, weeyongere okwogera, tosirika,
10 kubanga ndi naawe+ era tewali muntu yenna ajja kukukolako kabi; nnina abantu bangi mu kibuga kino.”
11 Bw’atyo n’amalayo omwaka gumu n’emyezi mukaaga, ng’abayigiriza ekigambo kya Katonda.
12 Galiyo bwe yali nga ye w’essaza* ly’e Akaya, Abayudaaya baalumba Pawulo ne bamutwala awaali entebe okusalirwa emisango,
13 nga bagamba nti: “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri emenya amateeka.”
14 Pawulo bwe yali agenda okutandika okwogera, Galiyo n’agamba Abayudaaya nti: “Singa omusajja ono abadde alina ekikyamu ky’akoze oba ng’amenye amateeka, nnandibawulirizza mmwe Abayudaaya.
15 Naye bwe ziba nkaayana ezikwata ku bigambo, ku mannya, ne ku mateeka gammwe,+ mmwe mmwennyini muzeekolereko. Nze saagala kubeera mulamuzi mu nsonga ezo.”
16 Awo n’abagoba awaali entebe okusalirwa emisango.
17 bonna ne bakwata Sossene+ omukulu w’ekkuŋŋaaniro ne bamukubira mu maaso g’entebe okusalirwa emisango. Naye Galiyo teyayingira mu nsonga ezo.
18 Pawulo n’amalayo ennaku eziwerako, n’asiibula ab’oluganda, n’asaabala n’agenda mu Busuuli, ng’ali wamu ne Pulisikira ne Akula. Bwe yali mu Kenkereya+ yasala enviiri ze ne ziba nnyimpi, kubanga yali akoze obweyamo.
19 Bwe baatuuka mu Efeso, n’abalekayo, naye ye n’ayingira mu kkuŋŋaaniro n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya.+
20 Wadde nga baamusaba yeeyongere okubeera nabo ekiseera kiwanvuko, teyakkiriza,
21 naye n’abasiibula n’abagamba nti: “Nja kukomawo gye muli Yakuwa* bw’anaaba ayagadde.” Awo n’asaabala okuva mu Efeso
22 n’atuuka e Kayisaliya. Ate era n’agenda mu Yerusaalemi n’alamusa ekibiina, n’avaayo n’agenda mu Antiyokiya.+
23 Bwe yamalayo ekiseera ekiwerako, n’avaayo n’agenda mu bitundu ebitali bimu mu Ggalatiya ne Fulugiya+ ng’azzaamu abayigirizwa bonna amaanyi.+
24 Awo Omuyudaaya omu ayitibwa Apolo,+ enzaalwa y’omu Alekizandiriya, n’ajja mu Efeso; yali mwogezi mulungi era ng’amanyi bulungi Ebyawandiikibwa.
25 Omusajja oyo yali ayigiriziddwa ekkubo lya Yakuwa,* era olw’omwoyo yali munyiikivu nnyo, ng’abuulira era ng’ayigiriza ebintu ebituufu ebikwata ku Yesu, naye ng’amanyi kubatiza kwa Yokaana kwokka.
26 Omusajja oyo yali ayogera n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro, era Pulisikira ne Akula+ bwe baamuwulira, ne bamutwala ne bamunnyonnyola bulungi ekkubo lya Katonda.
27 Ate era, olw’okuba yali ayagala okugenda mu Akaya, ab’oluganda baawandiikira abayigirizwa ebbaluwa okumwaniriza n’essanyu. Bwe yatuukayo, yayamba nnyo abo abaali bafuuse abakkiriza olw’ekisa kya Katonda eky’ensusso;
28 yayogera n’obuvumu okukiraga mu lujjudde nti enjigiriza z’Abayudaaya zaali nkyamu, n’akozesa Ebyawandiikibwa okubalaga nti Yesu ye Kristo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “yakubaganyanga nabo ebirowoozo.”
^ Kwe kugamba, mu kkuŋŋaaniro.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.