Engero 19:1-29
19 Okuba omwavu ng’otambulira mu bugolokofu+Kisinga okuba omusirusiru era ng’oyogera eby’obulimba.+
2 Omuntu atalina kumanya si mulungi,+N’oyo ayanguyiriza okukola ekintu* ayonoona.
3 Obusirusiru bw’omuntu bwe bwonoona ekkubo lye,Kyokka omutima gwe ne gusunguwalira Yakuwa.
4 Omugagga aba n’emikwano mingi,Naye omwavu, ne mukwano gwe amwabulira.+
5 Awa obujulizi obw’obulimba taaleme kubonerezebwa,+N’oyo ayogera obulimba taabeeko w’awonera.+
6 Bangi baagala okuganja eri omuntu ow’ekitiibwa,*Era buli muntu aba mukwano gw’oyo agaba ebirabo.
7 Omwavu baganda be bonna bamukyawa;+Kati olwo mikwano gye gye gitaamwesambe?+
Abeegayirira bamuyambe, naye tewali amufaako.
8 Oyo afuna amagezi* aba ayagala obulamu bwe.+
N’oyo ayagala okutegeera, ebintu bijja kumugendera bulungi.*+
9 Awa obujulizi obw’obulimba taaleme kubonerezebwa,N’oyo ayogera obulimba ajja kuzikirizibwa.+
10 Omusirusiru tasaanira kuba mu bulamu bwa kwejalabya;Olwo ate omuddu ayinza atya okufuga abalangira?+
11 Omuntu omutegeevu alwawo okusunguwala,+Era bw’abuusa amaaso ensobi* y’omulala* kimulungiya.+
12 Obusungu bwa kabaka buba ng’okuwuluguma kw’empologoma,+Naye okusiima kwe kuba ng’omusulo ku muddo.
13 Omwana omusirusiru aleetera kitaawe ennaku,+N’omukazi omuyombi* alinga ennyumba etonnya olutata.+
14 Ennyumba n’eby’obugagga abantu babisikira kuva ku bakitaabwe,Naye omukyala omutegeevu ava eri Yakuwa.+
15 Obugayaavu buleeta otulo tungi,Era omuntu omugayaavu ajja kulumwa enjala.+
16 Akwata ebiragiro akuuma obulamu bwe;+Atafaayo ku makubo ge ajja kufa.+
17 Alaga omunaku ekisa aba awola Yakuwa,+Era ajja kumusasula* olw’ekyo ky’akola.+
18 Gunjula omwana wo nga wakyaliwo essuubi,+Oleme kuvunaanyizibwa kufa kwe.+
19 Omuntu ow’obusungu ajja kuliwa;Singa ogezaako okumutaasa, kijja kukwetaagisa okukikola enfunda n’enfunda.+
20 Wulirizanga okubuulirirwa era okkirizenga okukangavvulwa,+Olyoke obe wa magezi gye bujja.+
21 Omuntu aba n’enteekateeka nnyingi mu mutima gwe,Naye ekigendererwa kya Yakuwa kye kijja okutuukirira.+
22 Ekintu ekyegombebwa mu muntu kwe kwagala kwe okutajjulukuka;+Era okuba omwavu kisinga okuba omulimba.
23 Okutya Yakuwa kutuusa omuntu mu bulamu;+Oyo amutya yeebaka bulungi era tatuukibwako kabi.+
24 Omugayaavu ateeka omukono gwe mu kibya,Naye n’alemererwa okuguggyamu okuguzza ku mumwa.+
25 Kuba omukudaazi,+ omuntu atalina bumanyirivu afuuke wa magezi,+Era nenya omuntu omutegeevu asobole okuba n’okumanya okusingawo.+
26 Oyo ayisa obubi kitaawe era n’agoba nnyinaAba mwana aswaza era akwasa ensonyi.+
27 Mwana wange, bw’onoolekera awo okuwuliriza ebikuyigirizibwa,Ojja kuwaba ove ku bigambo eby’amagezi.
28 Omujulizi atalina mugaso anyooma obwenkanya,+Era ababi banyumirwa okukola ebibi.+
29 Abakudaazi bajja kusalirwa omusango,+N’abasirusiru bajja kukubibwa emiggo mu mugongo.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ayanguyiriza n’ebigere bye.”
^ Oba, “omuntu omugabi.”
^ Obut., “ajja kufuna ebirungi.”
^ Obut., “afuna omutima.”
^ Obut., “bw’ayita ku nsobi.”
^ Oba, “ekyonoono ky’omulala.”
^ Oba, “abeeba.”
^ Oba, “kumuwa empeera.”