Lukka 2:1-52
2 Mu nnaku ezo Kayisaali Agusito yayisa ekiragiro nti abantu bonna* bagende beewandiise.
2 (Okwewandiisa kuno okwasooka kwaliwo nga Kiriniyo ye gavana wa Busuuli.)
3 Abantu bonna ne bagenda okwewandiisa, buli omu mu kibuga ky’ewaabwe.
4 Ne Yusufu+ n’ava e Ggaliraaya mu kibuga ky’e Nazaaleesi, n’agenda e Buyudaaya mu kibuga kya Dawudi ekiyitibwa Besirekemu,+ kubanga yali wa mu nnyumba ya Dawudi era wa mu lunyiriri lwe.
5 Yagenda yeewandiise wamu ne Maliyamu gwe yali awasizza mu kiseera ekyo,+ era eyali anaatera okuzaala.+
6 Bwe baali bali eyo, ekiseera kye eky’okuzaala ne kituuka.
7 N’azaala omwana we omubereberye,+ nga wa bulenzi, n’amubikka mu ngoye n’amuzazika mu lutiba ebisolo mwe biriira,+ kubanga tebaafuna wa kusula mu nnyumba y’abagenyi.
8 Era mu kitundu ekyo waaliwo abasumba abaali ku ttale nga bakuuma ebisibo byabwe ekiro.
9 Amangu ago malayika wa Yakuwa* n’ajja n’ayimirira mu maaso gaabwe, era ekitiibwa kya Yakuwa* ne kyakaayakana awo wonna we baali, era ne batya nnyo.
10 Naye malayika n’abagamba nti: “Temutya, kubanga mbategeeza amawulire amalungi ag’essanyu eringi abantu bonna lye bajja okufuna.
11 Kubanga olwa leero omulokozi,+ Kristo Mukama waffe,+ azaaliddwa mu kibuga kya Dawudi.+
12 Kano ke kabonero kwe munaamutegeerera: Mujja kusanga omwana omuwere ng’abikiddwa mu ngoye, ng’azazikiddwa mu lutiba ebisolo mwe biriira.”
13 Amangu ago bamalayika abalala bangi ab’omu ggye ery’omu ggulu+ ne beegatta ku malayika oyo ne batendereza Katonda nga bagamba nti:
14 “Ekitiibwa kibeere eri Katonda mu ggulu, n’emirembe gibeere ku nsi mu bantu Katonda b’asiima.”
15 Bamalayika bwe baava awaali abasumba ne baddayo mu ggulu. Awo abasumba ne bagambagana nti: “Ka tugende e Besirekemu tulabe ekibaddewo, Yakuwa* ky’atutegeezezza.”
16 Ne bagenda mangu ne basanga Maliyamu ne Yusufu, n’omwana omuwere ng’azazikiddwa mu lutiba ensolo mwe ziriira.
17 Bwe baakiraba, ne boogera bye baali babategeezezza ebikwata ku mwana.
18 Bonna abaawulira ne beewuunya ebintu abasumba bye baabagamba,
19 naye ebigambo ebyo Maliyamu n’abikuumira ku mutima gwe, era n’afumiitiriza ku makulu gaabyo.+
20 Awo abasumba ne baddayo nga bagulumiza Katonda era nga bamutendereza olw’ebyo byonna bye baali bawulidde ne bye baali balabye, nga bwe byali bibagambiddwa.
21 Awo ennaku omunaana bwe zaatuuka omwana okukomolebwa,+ n’atuumibwa Yesu, erinnya malayika lye yamuyita nga tannaba kubeera mu lubuto lwa nnyina.+
22 Era ennaku ez’okubatukuza bwe zaatuuka ng’Amateeka ga Musa+ bwe gaali galagira, ne batwala omwana e Yerusaalemi okumwanjula eri Yakuwa,*
23 nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Yakuwa* nti: “Buli mwana ow’obulenzi omubereberye ateekwa okuyitibwa omutukuvu wa Yakuwa.”*+
24 Era baawaayo ssaddaaka nga bwe kyawandiikibwa mu Mateeka ga Yakuwa* nti: “amayiba abiri oba enjiibwa bbiri ento.”+
25 Mu Yerusaalemi mwalimu omusajja ayitibwa Simiyoni; omusajja oyo yali mutuukirivu era ng’atya Katonda, ng’alindirira ekiseera Katonda lwe yali ajja okubudaabuda Isirayiri,+ era yaliko omwoyo omutukuvu.
26 Ate era, Katonda yali amubikkulidde okuyitira mu mwoyo omutukuvu nti yali tajja kufa nga tannalaba Kristo eyatumibwa Yakuwa.*
27 Ng’akulemberwa omwoyo omutukuvu, yayingira mu yeekaalu, era bazadde ba Yesu omuto bwe baamuleeta okumukola ng’empisa bwe yali mu Mateeka,+
28 Simiyoni n’asitula omwana mu mikono gye, n’atendereza Katonda ng’agamba nti:
29 “Mukama Afuga Byonna, olese omuddu wo agende mirembe+ nga bwe wayogera,
30 kubanga amaaso gange galabye oyo aleeta obulokozi+
31 gwe wateekawo mu maaso g’abantu bonna,+
32 ekitangaala+ ekiggyawo ekizikiza ekibisse amawanga,+ era ekitiibwa ky’abantu bo Isirayiri.”
33 Taata w’omwana ne maama we ne beewuunya ebigambo ebyali bimwogerwako.
34 Era Simiyoni n’abawa omukisa, era n’agamba Maliyamu nnyina w’omwana nti: “Laba! Omwana ono alondeddwa okuviirako bangi okugwa+ n’okuyimuka mu Isirayiri,+ era n’okubeera akabonero akalinyoomebwa+
35 (naye ggwe, ekitala ekiwanvu kirikuyitamu),+ kisobozese ebirowoozo ebiri mu mitima gy’abantu bangi okumanyika.”
36 Ate era waaliwo Ana nnabbi, muwala wa Fanweri, ow’omu kika kya Aseri. Omukazi ono yali akaddiye era yali abadde n’omwami we okumala emyaka musanvu okuva lwe baafumbiriganwa,*
37 naye kati yali nnamwandu ng’alina emyaka 84. Teyayosanga kugenda mu yeekaalu, nga yeenyigira mu buweereza obutukuvu emisana n’ekiro, ng’asiiba era nga yeegayirira Katonda.
38 Mu kiseera ekyo kyennyini yajja we baali n’atandika okwebaza Katonda, era n’ayogera ebikwata ku mwana eri abo bonna abaali balindirira okununulibwa kwa Yerusaalemi.+
39 Bwe baamala okutuukiriza byonna ebyali biragirwa mu Mateeka ga Yakuwa,*+ ne baddayo e Ggaliraaya mu kibuga kyabwe eky’e Nazaaleesi.+
40 Omwana n’agenda ng’akula era ne yeeyongera okuba ow’amaanyi, n’okujjuzibwa amagezi, era ne yeeyongera okusiimibwa Katonda.+
41 Buli mwaka bazadde be baagendanga e Yerusaalemi ku mbaga ey’Okuyitako.+
42 Bwe yaweza emyaka 12, ne bagenda ku mbaga nga bwe baakolanga.+
43 Bwe baali bakomawo ng’ennaku z’embaga ziweddeko, Yesu n’asigala e Yerusaalemi, era bazadde be ne batakitegeera.
44 Nga balowooza nti yali ali mu kibiina ky’abantu be baali batambula nabo, baatambula olugendo lwa lunaku lulamba, oluvannyuma ne batandika okumunoonya mu b’eŋŋanda zaabwe ne mu mikwano gyabwe.
45 Naye bwe bataamulaba, ne baddayo e Yerusaalemi ne bamunoonya nnyo.
46 Oluvannyuma lw’ennaku ssatu ne bamusanga mu yeekaalu ng’atudde n’abayigiriza, ng’abawuliriza era ng’ababuuza ebibuuzo.
47 Naye abo bonna abaali bamuwuliriza ne beewuunya nnyo olw’okutegeera kwe, n’olw’ebyo bye yali addamu.+
48 Bazadde be bwe baamulaba ne beewuunya nnyo, era maama we n’amugamba nti: “Mwana wange, lwaki otuyisizza bw’oti? Nze ne kitaawo tukunoonyezza buli wamu.”
49 Naye n’abagamba nti: “Lwaki mubadde munnoonya? Mubadde temumanyi nti nnina kubeera mu nnyumba ya Kitange?”+
50 Naye ne batategeera makulu g’ebyo bye yabagamba.
51 Awo n’agenda nabo e Nazaaleesi, ne yeeyongera okubagondera.+ Era maama we n’akuumira ebigambo ebyo byonna ku mutima gwe.+
52 Yesu ne yeeyongera okufuna amagezi n’okukula era n’okusiimibwa Katonda n’abantu.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ensi yonna etuuliddwamu.”
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Laba Ebyong. A5.
^ Obut., “okuva ng’akyali mbeerera.”
^ Laba Ebyong. A5.