Nekkemiya 13:1-31
13 Ku lunaku olwo ekitabo kya Musa ne kisomebwa ng’abantu bawulira,+ ne kizuulibwa nga kyawandiikibwa nti Omwamoni n’Omumowaabu+ tebalina kujja mu kibiina kya Katonda ow’amazima,+
2 kubanga tebaawa Bayisirayiri mmere na mazzi, naye baapangisa Balamu abakolimire,+ kyokka Katonda waffe ekikolimo n’akifuula omukisa.+
3 Abantu olwali okuwulira Amateeka, ne baggya mu Bayisirayiri abantu bonna ab’amawanga amalala.*+
4 Ekyo nga tekinnabaawo, kabona eyali avunaanyizibwa ku materekero* g’ennyumba* ya Katonda waffe+ yali Eriyasibu,+ era yalina oluganda ku Tobiya.+
5 Yali amuwadde ekisenge ekinene ekiterekebwamu ebintu,* edda mwe baateekanga ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’obubaani obweru, n’ebintu ebikozesebwa, n’ekimu eky’ekkumi eky’emmere ey’empeke, n’eky’omwenge omusu, n’eky’amafuta,+ ebyalagirwa okuweebwa Abaleevi+ n’abayimbi n’abakuumi b’oku miryango, era mwe baateekanga n’ebiweebwayo bya bakabona.+
6 Ekiseera ekyo kyonna nnali siri mu Yerusaalemi, kubanga mu mwaka ogw’asatu mu ebiri+ ogw’obufuzi bwa Alutagizerugiizi+ kabaka wa Babulooni nnagenda eri kabaka; era nga wayiseewo ekiseera nnamusaba anzikirize nkomewo.
7 Bwe nnatuuka e Yerusaalemi ne ndaba ekintu ekibi ennyo Eriyasibu+ kye yali akoze; yali awadde Tobiya+ ekisenge ekiterekebwamu ebintu, mu luggya lw’ennyumba ya Katonda ow’amazima.
8 Ekyo kyannyiiza nnyo; kyennava nzigya ebintu bya Tobiya byonna eby’omu nnyumba ebyali mu kisenge ekyo ekiterekebwamu ebintu,* ne mbikasuka ebweru.
9 Awo ne ndagira ne balongoosa ebisenge ebiterekebwamu ebintu,* ne nzizaamu ebintu ebikozesebwa eby’omu nnyumba ya Katonda ow’amazima,+ n’ebiweebwayo eby’emmere ey’empeke, n’obubaani obweru.+
10 Era nnakizuula nti Abaleevi+ baali tebakyaweebwa mugabo gwabwe,+ era ng’Abaleevi n’abayimbi abaali baweereza baali bazzeeyo buli omu mu kibanja kye.+
11 Awo ne nvunaana abaami+ ne mbagamba nti: “Lwaki ennyumba ya Katonda ow’amazima eragajjaliddwa?”+ Awo ne nkuŋŋaanya Abaleevi ne mbazza ku mirimu gyabwe.
12 Awo abantu b’omu Yuda bonna ne baleeta mu materekero+ ekimu eky’ekkumi+ eky’emmere ey’empeke n’eky’omwenge omusu n’eky’amafuta.
13 Ne nteekawo Seremiya kabona ne Zadooki omukoppolozi,* ne Pedaya, omu ku Baleevi, okulabirira amaterekero; Kanani mutabani wa Zakkuli mutabani wa Mattaniya ye yali abayambako. Abasajja abo baali batwalibwa okuba nga beesigika, era be baali bakwasiddwa obuvunaanyizibwa obw’okugabiranga baganda baabwe omugabo gwabwe.
14 Onzijukiranga+ Ai Katonda wange olwa kino, era teweerabiranga ebikolwa ebyoleka okwagala okutajjulukuka bye nkoze ku lw’ennyumba ya Katonda wange n’olw’ebyo ebikolebwayo.+
15 Mu nnaku ezo nnalaba mu Yuda abantu abasogola omwenge ku Ssabbiiti,+ era nga baleeta ebitereke by’emmere ey’empeke nga babitisse ku ndogoyi, era nga baleeta n’omwenge n’ezzabbibu n’ettiini n’emigugu egya buli ngeri mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.+ Awo ne mbalabula obutatunda bintu ku lunaku olwo.
16 Era Abatuulo abaabeeranga mu kibuga, baaleetanga eby’ennyanja n’ebyamaguzi ebya buli ngeri ne babiguza abantu ba Yuda mu Yerusaalemi ku Ssabbiiti.+
17 Awo ne nnyombesa abakungu b’omu Yuda ne mbagamba nti: “Kibi ki kino kye mukola, ne mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti?
18 Bajjajjammwe si bwe batyo bwe baakola, Katonda waffe n’atuleetako akabi kano konna era n’akaleeta ne ku kibuga kino? Kyokka kati mwongera okuleeta obusungu ku Isirayiri nga mwonoona olunaku lwa Ssabbiiti.”+
19 Enzikiza bwe yali yaakatandika okukwata ku miryango gya Yerusaalemi, nga Ssabbiiti tennatandika, nnalagira enzigi ziggalwe. Era nnalagira nti teziggulwa okutuusa nga Ssabbiiti ewedde, era ne nteeka abamu ku baweereza bange ku miryango waleme kubaawo mugugu guyingizibwa ku lunaku lwa Ssabbiiti.
20 Abasuubuzi n’abatunzi b’ebintu ebya buli ngeri baasula wabweru wa Yerusaalemi omulundi gumu oba ebiri.
21 Awo ne mbalabula ne mbagamba nti: “Lwaki musula mu maaso ga bbugwe? Bwe munaakiddamu nja kukozesa lyanyi okubagobawo.” Okuva ku olwo tebaddamu kujja ku Ssabbiiti.
22 Awo ne ŋŋamba Abaleevi beetukuzenga era bajjenga bakuume emiryango, olunaku lwa Ssabbiiti lusobole okukuumibwa nga lutukuvu.+ N’olwa kino onzijukiranga, Ai Katonda wange, era n’onsaasira olw’okwagala kwo okungi okutajjulukuka.+
23 Era mu nnaku ezo nnalaba Abayudaaya abaali bawasizza* abakazi+ Abasudodi+ n’Abaamoni n’Abamowaabu.+
24 Kimu kya kubiri eky’abaana baabwe baali boogera Lusudodi ate kimu kya kubiri nga boogera nnimi z’amawanga amalala, naye tewali n’omu ku bo yali amanyi kwogera Luyudaaya.
25 Awo ne mbayombesa era ne mbakolimira, ne nkuba abamu ku basajja+ ne nkuunyuula enviiri zaabwe era ne mbalayiza mu linnya lya Katonda nga mbagamba nti: “Bawala bammwe temubawanga batabani baabwe, era nammwe temuwasanga bawala baabwe wadde okubawasiza batabani bammwe.+
26 Abo si be baaviirako Sulemaani kabaka wa Isirayiri okwonoona? Mu mawanga mangi temwalimu kabaka eyali nga ye,+ era Katonda we yali amwagala nnyo,+ bw’atyo n’amufuula kabaka wa Isirayiri yonna. Naye abakazi abagwira baamuleetera okwonoona.+
27 Muyinza mutya okukola ekintu ekibi ennyo bwe kityo ekitawulirwangako, ne mutaba beesigwa eri Katonda waffe ne muwasa abakazi abagwira?”+
28 Omu ku batabani ba Yoyada+ mutabani wa Eriyasibu+ kabona asinga obukulu yali awasizza muwala wa Sanubalaati+ Omukolooni, bwe ntyo ne mmugoba we ndi.
29 Obajjukiranga Ai Katonda wange, kubanga boonoonye obwakabona+ n’endagaano y’obwakabona n’ey’Abaleevi.+
30 Awo ne ntukuza abantu ne mbaggyako eby’ab’amawanga byonna ebyali biboonoona, era ne mpa bakabona n’Abaleevi emirimu, buli omu omulimu gwe yalina okukola,+
31 era ne nkola enteekateeka ey’okuleeta enku+ mu kiseera ekigereke n’ebibala ebibereberye.
Ai Katonda wange, onzijukiranga n’ondaga ekisa.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “bamusaayi mutabule.”
^ Oba, “bisenge ebiriirwamu.”
^ Oba, “ga yeekaalu.”
^ Oba, “ekisenge ekiriirwamu.”
^ Oba, “kisenge ekiriirwamu.”
^ Oba, “ebisenge ebiriirwamu.”
^ Oba, “omuwandiisi.”
^ Oba, “abaali batutte mu nnyumba zaabwe.”