Okubala 12:1-16
12 Miriyamu ne Alooni ne batandika okwogera obubi ku Musa olw’omukazi Omukuusi+ gwe yali awasizza.
2 Ne bagamba nti: “Yakuwa ayogera ng’ayitira mu Musa yekka? Tayogera ng’ayitira ne mu ffe?”+ Yakuwa yali awulira.+
3 Musa ye yali asingayo okuba omuwombeefu mu bantu bonna*+ abaali ku nsi.
4 Amangu ago Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni ne Miriyamu nti: “Mufulume mwensatule mugende ku weema ey’okusisinkaniramu.” Awo bonsatule ne bafuluma ne bagenda.
5 Yakuwa n’akkira mu mpagi y’ekire+ n’ayimirira ku mulyango gwa weema n’ayita Alooni ne Miriyamu. Bombi ne bagenda.
6 N’abagamba nti: “Muwulirize ebigambo byange. Singa wabaawo nnabbi wa Yakuwa mu mmwe, nneemanyisa gy’ali mu kwolesebwa,+ era njogera naye mu kirooto.+
7 Naye si bwe kiri eri omuweereza wange Musa! Akwasiddwa ennyumba yange yonna.*+
8 Njogera naye maaso ku maaso,*+ mu ngeri etegeerekeka obulungi so si mu ngero; era Yakuwa yeeyoleka mu maaso ge. Kati lwaki temutidde kwogera bubi ku muweereza wange Musa?”
9 Awo Yakuwa n’abasunguwalira nnyo, era n’avaawo.
10 Ekire ne kiva ku weema, era laba! Miriyamu yali akubiddwa ebigenge ebyali ebyeru ng’omuzira.+ Alooni n’akyuka n’atunuulira Miriyamu n’alaba ng’akubiddwa ebigenge.+
11 Amangu ago Alooni n’agamba Musa nti: “Nkwegayiridde Mukama wange! Totuvunaana kibi kino! Kye tukoze kibadde kya busirusiru.
12 Nkwegayiridde tomuleka kubeera ng’omwana azaalibwa ng’afudde, azaalibwa ng’omubiri gwe guliiriddwako ekitundu!”
13 Awo Musa n’akaabirira Yakuwa n’amugamba nti: “Ai Katonda, nkwegayiridde muwonye!”+
14 Yakuwa n’agamba Musa nti: “Singa kitaawe amuwandulidde amalusu mu maaso, teyandibadde na buswavu okumala ennaku musanvu? Kale aggibwe mu lusiisira abeere ebweru waalwo+ okumala ennaku musanvu, oluvannyuma alyoke akomezebwewo.”
15 Bw’atyo Miriyamu n’aggibwa mu lusiisira n’abeera ebweru waalwo okumala ennaku musanvu,+ era abantu tebaava mu kifo ekyo okutuusa Miriyamu lwe yakomezebwawo.
16 Oluvannyuma abantu baava e Kazerosi+ ne basiisira mu ddungu ly’e Palani.+
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “yali mwetoowaze okusinga abantu bonna.”
^ Obut., “Mu nnyumba yange yonna akiraze nti mwesigwa.”
^ Obut., “Kamwa ku kamwa.”