Okuva 12:1-51
12 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni mu nsi ya Misiri nti:
2 “Omwezi guno gwe gunaabanga gye muli omwezi ogusooka mu mwaka.+
3 Mugambe ekibiina kyonna ekya Isirayiri nti, ‘Ku lunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno buli muntu afune endiga+ emu ku lw’ennyumba ya kitaawe, endiga emu buli nnyumba.
4 Naye ab’omu nnyumba bwe banaaba batono, nga tebasobola kumalawo ndiga eyo, bajja* kugiriira wamu ne muliraanwa waabwe* okusinziira ku muwendo gw’abantu. Bwe munaaba mugigabanyaamu, mumanye kyenkana wa buli omu ky’asobola okulya.
5 Erina okuba nga nnamu bulungi,+ nga nnume, era nga ya mwaka gumu. Muyinza okugiggya mu ndiga ento ennume oba embuzi.
6 Mujja kugirabirira okutuusa ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi guno,+ era ekibiina kyonna ekya Isirayiri kijja kugitta akawungeezi.*+
7 Bajja kutoola ku musaayi bagumansire ku mwango eruuyi n’eruuyi ne waggulu w’oluggi lw’ennyumba mwe banaagiriira.+
8 “‘Ennyama bajja kugirya ekiro ekyo.+ Bajja kugyokya bagiriireko emigaati egitali mizimbulukuse+ n’enva endiirwa ezikaawa.+
9 Temugirya nga mbisi oba nga ntokose mu mazzi, wabula mugyokye, omutwe gwayo, n’amagulu gaayo* n’ebitundu byayo eby’omunda.
10 Temubaako gye mulekawo okutuusa ku makya, eyo eneeba esigaddewo okutuusa ku makya mujja kugyokya omuliro.+
11 Mujja kugirya nga mwesibye enkoba,* nga mwambadde engatto, nga mukutte emiggo, era mujja kugirya mu bwangu. Okwo kwe Kuyitako kwa Yakuwa.
12 Nja kuyita mu nsi ya Misiri mu kiro ekyo nzite buli mubereberye mu nsi ya Misiri, okuva ku muntu okutuuka ku nsolo;+ era bakatonda b’e Misiri+ bonna nja kubabonereza. Nze Yakuwa.
13 Era omusaayi gujja kuba kabonero ku mayumba mwe munaaba; nja kulaba omusaayi mbayiteko era ekibonyoobonyo tekijja kubatuukako okubazikiriza bwe nnaaba mbonereza ensi ya Misiri.+
14 “‘Munajjukiranga olunaku olwo, era munaalukuzanga ng’embaga mu linnya lya Yakuwa mu mirembe gyammwe gyonna. Mulukuzenga; lino tteeka lya mirembe na mirembe.
15 Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse+ okumala ennaku musanvu. Ku lunaku olusooka munaggyanga ekizimbulukusa mu nnyumba zammwe, kubanga omuntu yenna anaalyanga ekintu ekirimu ekizimbulukusa okuva ku lunaku olusooka okutuuka ku lunaku olw’omusanvu, anattibwanga n’aggibwa mu Isirayiri.
16 Ku lunaku olusooka munaabanga n’olukuŋŋaana olutukuvu, era ne ku lunaku olw’omusanvu munaabanga n’olukuŋŋaana olulala olutukuvu. Tewabangawo mulimu gwonna gukolebwa ku nnaku ezo,+ okuggyako buli omu okuteekateeka emmere gy’anaalya.
17 “‘Munaakwatanga Embaga ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse,+ kubanga ku lunaku olwo lwennyini nja kuggya abantu bammwe* mu nsi ya Misiri. Era munaakwatanga olunaku olwo mu mirembe gyammwe gyonna ng’etteeka ery’olubeerera.
18 Okuva ku kawungeezi ak’olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogusooka, okutuusa ku kawungeezi+ ak’olunaku olw’amakumi abiri mu olumu, munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse.
19 Mu nnyumba zammwe temubangamu kizimbulukusa okumala ennaku musanvu, kubanga omuntu yenna anaalyanga ku kintu ekirimu ekizimbulukusa, k’abe mugwira oba Omuyisirayiri,+ anattibwanga n’aggibwa mu kibiina kya Isirayiri.+
20 Temulyanga kintu kyonna ekirimu ekizimbulukusa. Munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse mu maka gammwe gonna.’”
21 Amangu ago Musa n’ayita abakadde ba Isirayiri+ bonna n’abagamba nti: “Mugende, buli omu ku mmwe afunire amaka ge omwana gw’ensolo,* mutte ensolo eya ssaddaaka ey’Okuyitako.
22 Mujja kuddira akaganda k’obuti bwa ezobu mukannyike mu musaayi oguli mu kibya mugumansire waggulu w’oluggi ne ku mwango eruuyi n’eruuyi; era tewaba n’omu ku mmwe afuluma mu nnyumba ye okutuukira ddala ku makya.
23 Yakuwa bw’anaaba ayita mu nsi eno okuleeta ekibonyoobonyo ku Bamisiri n’alaba omusaayi waggulu w’oluggi ne ku mwango eruuyi n’eruuyi, Yakuwa ajja kuyita ku mulyango ogwo era tajja kukkiriza kibonyoobonyo ekireeta okufa okuyingira mu nnyumba zammwe.+
24 “Mukwatanga etteeka lino mmwe n’abaana bammwe+ emirembe n’emirembe.
25 Era bwe munaaba mutuuse mu nsi Yakuwa gy’anaabawa nga bw’agambye, mukwatanga omukolo guno.+
26 Era abaana bammwe bwe bababuuzanga nti, ‘Omukolo guno gulina makulu ki?’+
27 Mubagambanga nti, ‘Ye ssaddaaka ey’Okuyitako eweebwayo eri Yakuwa eyayita ku nnyumba z’Abayisirayiri mu Misiri, bwe yaleeta ekibonyoobonyo ku Bamisiri, naye n’ataliza ennyumba zaffe.’”
Awo abantu ne bakka ku maviivi ne bavunnama.
28 Abayisirayiri ne bagenda ne bakola nga Yakuwa bwe yali alagidde Musa ne Alooni.+ Bwe batyo bwe baakolera ddala.
29 Awo ekiro mu ttumbi Yakuwa n’atta ababereberye bonna mu nsi ya Misiri,+ okuva ku mubereberye owa Falaawo eyali atudde ku ntebe y’obwakabaka, okutuuka ku mubereberye ow’omusibe eyali mu kkomera,* era n’ebibereberye byonna eby’ebisolo.+
30 Falaawo n’abaweereza be bonna n’Abamisiri abalala bonna ne bagolokoka ekiro, ne wabaawo okukuba ebiwoobe okw’amaanyi mu Bamisiri, kubanga tewaali nnyumba etaafaamu muntu.+
31 Amangu ago Falaawo n’ayita Musa ne Alooni+ ekiro ekyo n’abagamba nti: “Musituke muve mu bantu bange, mmwe n’Abayisirayiri abalala. Mugende muweereze Yakuwa nga bwe mwagamba.+
32 Era mutwale ebisibo byammwe n’amagana gammwe mugende, nga bwe mwagamba.+ Naye mulina okunsabira omukisa.”
33 Awo Abamisiri ne beegayirira abantu okwanguwa okuva+ mu nsi yaabwe kubanga baagamba nti: “Kyenkana ffenna tuli bafu.”+
34 Abantu ne batwala obuwunga bwabwe omutaali kizimbulukusa bwe baali bamaze okukanda, n’ebibya byabwe ebikandirwamu* nga babizinze mu ngoye zaabwe ze beesuulira ku bibegaabega.
35 Abayisirayiri ne bakola ekyo Musa kye yali abagambye, ne basaba Abamisiri ebintu ebya ffeeza n’ebya zzaabu n’engoye.+
36 Yakuwa n’aleetera abantu okwagalibwa Abamisiri, ne babawa ebintu bye baasaba, Abayisirayiri ne batwala ebintu by’Abamisiri.+
37 Abayisirayiri ne bava e Lamusesi+ ne boolekera e Sukkosi.+ Abasajja baali nga 600,000 nga tobaliddeeko baana bato.+
38 Baagenda n’ekibiina ekinene eky’abantu abataali Bayisirayiri,*+ awamu n’endiga n’embuzi n’ente nnyingi.
39 Eŋŋaano eyali ekandiddwa gye baagenda nayo okuva e Misiri, baagifumbamu emigaati emyetooloovu egitali mizimbulukuse. Eŋŋaano eyo teyaliimu kizimbulukusa olw’okuba baagobebwa mu Misiri ne bavaayo mu bwangu nga tebeetegekedde bya kulya.+
40 Ekiseera Abayisirayiri abaali mu Misiri+ kye baamala nga bali mu nsi engwira kyali emyaka 430.+
41 Ku lunaku olwo lwennyini emyaka 430 lwe gyaggwaako, abantu ba* Yakuwa bonna baava mu nsi ya Misiri.
42 Ekyo kye kiro kwe banaajagulizanga olwa Yakuwa okubaggya mu nsi ya Misiri. Abantu ba Isirayiri bonna banaakwatanga ekiro ekyo mu mirembe gyabwe gyonna+ olw’okugulumiza Yakuwa.
43 Awo Yakuwa n’agamba Musa ne Alooni nti: “Lino lye tteeka ery’Okuyitako: Tewabanga muntu atali Muyisirayiri alya ku ssaddaaka ey’Okuyitako.+
44 Naye omuntu bw’abanga n’omuddu eyagulwa n’essente, osookanga kumukomola+ n’alyoka agiryako.
45 Omusenze n’omukozi akolera empeera tebagiryangako.
46 Eneeriirwanga mu nnyumba emu. Ennyama yaayo temugitwalanga wabweru w’ennyumba, era temumenyanga ggumba lyayo lyonna.+
47 Ekibiina kyonna ekya Isirayiri kya kukwatanga Okuyitako.
48 Omugwira abeera naawe bw’abanga ayagala okukwata Okuyitako kwa Yakuwa, abasajja bonna ab’omu nnyumba ye bakomolebwanga, olwo n’alyoka asembera okukwata Okuyitako, era anaabanga ng’Omuyisirayiri. Omuntu yenna atali mukomole talyanga ku ssaddaaka ey’Okuyitako.+
49 Etteeka erinaafuganga Omuyisirayiri lye linaafuganga n’omugwira abeera mu mmwe.”+
50 Abayisirayiri bonna baakola nga Yakuwa bwe yalagira Musa ne Alooni. Bwe batyo bwe baakolera ddala.
51 Ku lunaku olwo lwennyini, Yakuwa yaggya Abayisirayiri bonna* mu nsi ya Misiri.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ajja.”
^ Obut., “we.”
^ Obut., “wakati w’akawungeezi n’akawungeezi.”
^ Kino kitegeeza ekitundu ky’okugulu ekya wansi.
^ Obut., “nga mwesibye mu biwato.”
^ Obut., “eggye lyammwe.”
^ Kwe kugamba, omwana gw’endiga oba ogw’embuzi.
^ Obut., “mu nnyumba ey’obunnya.”
^ Oba, “ebbakuli.”
^ Nga mw’otwalidde n’Abamisiri.
^ Obut., “amagye ga.”
^ Obut., “Abayisirayiri n’amagye gaabwe.”