Tito 3:1-15

  • Okugondera abafuzi (1-3)

  • Beera mwetegefu okukola ebirungi (4-8)

  • Weewale okuwakana okw’ekisiru n’enjigiriza ez’obulimba (9-11)

  • By’amusaba okumukolera; okulamusa (12-15)

3  Weeyongere okubajjukiza okugondera n’okuwulira abafuzi n’ab’obuyinza,+ okuba abeetegefu okukola buli mulimu omulungi,  obutayogera bubi ku muntu yenna, obutaba bayombi, obutaba bakakanyavu,+ naye nga baba bakkakkamu eri abantu bonna.+  Kubanga naffe twaliko abatalina magezi, abajeemu, abakyamizibwa, abafugibwa okwegomba okutali kumu n’amasanyu. Twakolanga ebintu ebibi, twalina obuggya, twali bantu babi nnyo, era nga tukyawagana ffekka na ffekka.  Kyokka ekisa kya Katonda Omulokozi waffe+ n’okwagala kw’alina eri abantu bwe byeyoleka  (si lwa bikolwa byaffe eby’obutuukirivu bye twakola+ naye lwa busaasizi bwe),+ yatulokola okuyitira mu kunaazibwa okwatuleeta mu bulamu+ n’okuyitira mu kutuzza obuggya ng’akozesa omwoyo omutukuvu.+  Omwoyo guno yagutufukako mu bungi okuyitira mu Mulokozi waffe Yesu Kristo,+  oluvannyuma lw’okuyitibwa abatuukirivu olw’ekisa kye eky’ensusso,+ tusobole okusikira+ obulamu obutaggwaawo+ ng’essuubi lyaffe bwe liri.  Ebigambo ebyo byesigika, era ebintu ebyo njagala obiggumizenga, abo abakkirizza Katonda basobole okukuumira ebirowoozo byabwe ku bikolwa ebirungi. Ebintu bino birungi era biganyula abantu.  Naye weewale okuwakana okw’ekisiru n’okuwakana ku bikwata ku nnyiriri z’obuzaale, n’enkaayana, n’okuwakanira ebikwata ku Mateeka, kubanga tebigasa era tebiriimu nsa.+ 10  Omuntu atumbula enjigiriza ez’obulimba+ omwewalanga+ bw’omala okumulabula omulundi ogusooka n’ogw’okubiri;+ 11  ng’okimanyi nti omuntu ng’oyo aba avudde mu kkubo, aba ayonoonye, era aba yeesalira yekka omusango. 12  Bwe ntumanga Atema oba Tukiko+ gy’oli, fuba okujja gye ndi e Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu kiseera eky’obutiti. 13  Fuba okutegekera Apolo ne Zeena omukenkufu mu Mateeka, ebyo bye beetaaga mu lugendo lwabwe, baleme kubaako kye bajula.+ 14  Naye era n’abantu baffe bayige okukolanga ebirungi basobole okuyambanga nga wazzeewo obwetaavu,+ baleme kubeera abatabala bibala.+ 15  Bonna abali nange bakulamusizza. Nnamusiza abatwagala ennyo mu kukkiriza. Ekisa eky’ensusso kibeere nammwe mmwenna.

Obugambo Obuli Wansi