Yakobo 3:1-18

  • Okufuga olulimi (1-12)

    • Bangi tebasaanidde kuba bayigiriza (1)

  • Amagezi agava waggulu (13-18)

3  Bangi ku mmwe temusaanidde kuba bayigiriza, baganda bange, kubanga mumanyi nti tujja kusalirwa omusango ogusingako obunene.+  Emirundi mingi ffenna tusobya.*+ Omuntu yenna bw’aba tasobya mu kigambo, aba yatuukirira, ng’asobola okufuga omubiri gwe gwonna.  Bwe tussa ebyuma mu bumwa bw’embalaasi zisobole okutugondera, tuba tusobola okufuga omubiri gwazo gwonna.  N’amaato, wadde nga manene nnyo era nga gatwalibwa omuyaga ogw’amaanyi, gagobebwa n’enkasi entono ennyo ne gagenda eyo omugoba gy’aba ayagadde.  Olulimi nalwo bwe lutyo, kitundu kitono eky’omubiri naye lwewaana nnyo. Akaliro akakoleeza ekibira ekinene nga kaba katono nnyo!  Olulimi nalwo muliro.+ Olulimi kitundu kya mubiri gwaffe ekijjudde obutali butuukirivu, kubanga lwonoona omubiri gwonna,+ lusobola okuzikiriza obulamu bw’omuntu era luzikiriza nga Ggeyeena.*  Kubanga buli kika ky’ensolo ey’omu nsiko, n’ebinyonyi, n’ebyewalula, n’eby’omu nnyanja, bisobola okufugibwa era bifugibwa abantu.  Naye tewali muntu asobola kufuga lulimi. Kye kintu eky’akabi ekitafugika, era lujjudde obusagwa obutta.+  Lwe tukozesa okutendereza Yakuwa* Kitaffe, kyokka ate ne tulukozesa okukolimira abantu abaatondebwa “mu kifaananyi kya Katonda.”+ 10  Akamwa akatendereza era ke kamu akakolima. Baganda bange, ebintu bino tebisaanidde kubaawo.+ 11  Amazzi amalungi* n’agakaawa gayinza okuva mu nsulo emu? 12  Baganda bange, omutiini gusobola okubala ezzeyituuni, oba omuzabbibu okubala ettiini?+ N’amazzi ag’omunnyo tegayinza kuvaamu mazzi malungi. 13  Ani mu mmwe alina amagezi n’okutegeera? Omuntu oyo abe n’empisa ennungi eziraga nti buli ky’akola akikola mu bukkakkamu obusibuka mu magezi. 14  Naye bwe muba n’obuggya obw’amaanyi+ n’okuyomba+ mu mitima gyammwe, mulemenga kwewaana.+ Bwe mukola mutyo, muba mulimba. 15  Gano si ge magezi agava waggulu, naye ga mu nsi,+ ga nsolo, ga badayimooni. 16  Kubanga awaba obuggya n’okuyomba wabaawo okutabuka na buli kintu ekibi.+ 17  Naye amagezi agava waggulu okusooka malongoofu,+ ga mirembe,+ si makakanyavu,+ mawulize, gajjudde obusaasizi n’ebibala ebirungi,+ tegasosola,+ era tegaliimu bunnanfuusi.+ 18  Ate era, ensigo y’ekibala eky’obutuukirivu esigibwa mu mbeera ez’emirembe+ okuganyula abo abaleeta emirembe.+

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “twesittala.”
Laba Awanny.
Obut., “agawoomerera.”