Yobu 13:1-28

  • Yobu yeeyongera okuddamu (1-28)

    • ‘Nnandyagadde okwogera ne Katonda’ (3)

    • “Muli basawo abataliiko kye mugasa” (4)

    • “Mmanyi nga sirina musango” (18)

    • Yeebuuza ensonga lwaki Katonda amutwala ng’omulabe (24)

13  “Mazima eriiso lyange lirabye ebyo byonna,N’okutu kwange kubiwulidde ne kubitegeera.   Bye mumanyi nange mbimanyi;Temunsinga.   Nnandyagadde okwogera n’Omuyinza w’Ebintu Byonna kennyini;Katonda gwe njagala okunnyonnyola ensonga zange.+   Naye mmwe munjogerako bya bulimba;Muli basawo abataliiko kye mugasa.+   Singa musirikidde ddala,Ekyo kyandiraze nti mulina amagezi.+   Mbasaba muwulirize kye ŋŋamba,Era musseeyo omwoyo ku mpoza yange.   Munaayogera ebitali bituufu ku lwa Katonda,Munaayogera eby’obulimba ku lulwe?   Munaaba ku ludda lwe? Oba munaagezaako okuwoza omusango gwa Katonda ow’amazima?   Bw’anaabeekebejja, ebinaavaamu binaaba birungi?+ Munaamubuzaabuza nga bwe mwandibuzaabuzizza abantu? 10  Bwe munaagezaako okusaliriza mu nkukutuAjja kubanenya.+ 11  Ekitiibwa kye tekiibatiise,Era taabaleetere ntiisa? 12  Engero zammwe tezigasa, ziringa evvu;N’engabo zammwe nnafu ng’engabo ez’ebbumba. 13  Kale musirike njogere. Kyonna ekinantuukako ka kintuukeko! 14  Lwaki nneeteeka mu kabi*Obulamu bwange ne mbutwalira mu ngalo zange? 15  Nja kulindirira, wadde ng’ayinza okunzita;+Nja kwewozaako mu maaso ge. 16  Ajja kufuuka mulokozi wange,+Kubanga tewali muntu atatya Katonda* ayinza okujja mu maaso ge.+ 17  Muwulirize bulungi ebigambo byange;Musseeyo omwoyo ku bye njogera. 18  Laba, nsengese empoza yange;Mmanyi nga sirina musango. 19  Ani anampakanya? Bwe siibeeko kye njogera nja kufa! 20  Ai Katonda, nkusaba onkolere ebintu bibiri,*Nneme okukwekweka: 21  Nzigyaako omukono gwo omuzito oguteeke wala,N’entiisa yo k’ereme kunkanga.+ 22  Nkoowoola, nkwanukule,Oba ka njogere ggwe onziremu. 23  Ensobi zange n’ebibi byange, bye biruwa? Mbuulira ekyonoono kyange n’ekibi kyange. 24  Lwaki okweka amaaso go+N’ontwala ng’omulabe wo?+ 25  Onookanga akakoola akatwalibwa empewo? Oba onoowondera ebisubi ebikalu? 26  Weeyongera okuwandiika emisango eginvunaanibwa,Era onvunaana ebibi bye nnakola mu buvubuka. 27  Oteeka ebigere byange mu nvuba,Wekkaanya amakubo gange gonna,Era olamba buli we nninnya. 28  Omuntu* aggwaawo ng’ekintu ekivunze;Ng’ekyambalo ekiriiriddwa ebiwuka.

Obugambo Obuli Wansi

Obut., “Lwaki ntwalira omubiri gwange mu mannyo gange.”
Oba, “tewali kyewaggula.”
Obut., “ebintu bibiri, tobinkola.”
Kirabika Yobu y’ayogerwako wano.