Yobu 36:1-33

  • Eriku agulumiza obukulu bwa Katonda obutanoonyezeka (1-33)

    • Abawulize baba bulungi; abatatya Katonda baabulirwa (11-13)

    • ‘Muyigiriza ki alinga Katonda?’ (22)

    • Yobu asaanidde okugulumiza Katonda (24)

    • “Katonda mukulu okusinga bwe tumanyi” (26)

    • Katonda y’afuga enkuba n’okumyansa kw’eggulu (27-33)

36  Eriku ne yeeyongera n’agamba nti:   “Ŋŋumiikirizaako katono nkunnyonnyole,Kubanga nkyalina eby’okwogera ku lwa Katonda.   Nja kwogera byonna bye mmanyi,Era nja kulangirira nti obutuukirivu bwa Mutonzi wange.+   Mazima ddala ebigambo byange si bya bulimba;Oyo eyatuukirira mu kumanya+ ali wano mu maaso go.   Mu butuufu, Katonda wa maanyi+ era teyeesamba muntu yenna;Alina okutegeera kungi.   Tajja kuwonyaawo bulamu bw’ababi,+Naye ababonaabona ajja kubalaga obwenkanya.+   Amaaso ge tagaggya ku batuukirivu;+Abatuuza ku ntebe ez’obwakabaka ne bakabaka,*+ era bagulumizibwa emirembe gyonna.   Naye bwe basibibwa empinguEra ne bakwatibwa mu miguwa egy’okubonyaabonyezebwa,   Abalaga kye bakoze,Ebibi bye bakoze olw’amalala gaabwe. 10  Aggula amatu gaabwe bawulire okuwabulwaEra abagamba balekere awo okwonoona.+ 11  Bwe bamugondera ne bamuweereza,Bajja kuba bulungi ennaku zaabwe zonna,Era bajja kuba mu ssanyu emyaka gyabwe gyonna.+ 12  Naye bwe batamugondera, bajja kuttibwa n’ekitala*+Era bafiire mu butamanya. 13  Abatatya Katonda* bajja kusiba ekiruyi. Ne bw’abasiba tebamwegayirira abayambe. 14  Bafa bakyali bavubuka,+Obulamu bwabwe babumala* bali wamu ne bamalaaya abasajja ab’omu yeekaalu.+ 15  Naye ababonaabona Katonda abanunula mu kubonaabona kwabwe;Aggula amatu gaabwe nga banyigirizibwa. 16  Akuggya mu buzibu+N’akutwala mu kifo ekigazi awatali kukugirwa,+Ng’emmere ewooma eri ku mmeeza yo kye kikubagizo gy’oli.+ 17  Awo oliba mumativu ng’ababi basaliddwa omusango,+Omusango nga gusaliddwa ne wabaawo obwenkanya. 18  Naye weegendereze obusungu buleme kukuleetera ttima,*+Era tokkiriza nguzi nnene kukuwabya. 19  OkuwanjagaOba okufuba kwo kunaakuwonya ennaku?+ 20  Teweegomba budde bwa kiro,Abantu we baviira mu bifo byabwe. 21  Weegendereze oleme kukola kibi,N’olondawo ekyo mu kifo ky’okubonaabona.+ 22  Laba! Katonda agulumiziddwa mu buyinza bwe;Muyigiriza ki alinga ye? 23  Ani aluŋŋamizza ekkubo lye*+Oba amugambye nti, ‘Ky’okoze kikyamu’?+ 24  Jjukira okugulumiza emirimu gye,+Abantu gye bayimbyeko mu nnyimba.+ 25  Abantu bonna bagirabye,Abantu bagirengerera wala. 26  Katonda mukulu okusinga bwe tumanyi;+Emyaka gye tegiyinza kumanyika.*+ 27  Atwala waggulu amatondo g’amazzi,+Ne gafuuka enkuba n’olufu; 28  Ebire ne bigiyiwa,+N’etonnyera abantu ku nsi. 29  Waliwo ayinza okutegeera engeri ebire gye byebamba mu bbanga,Oba okubwatuka okuva mu weema ye?*+ 30  Laba bw’asaasaanya okumyansa*+ kwe ku bireN’abikka obuziba* bw’ennyanja. 31  Ebyo by’akozesa okubeesaawo abantu;Abawa emmere mu bungi.+ 32  Akwata okumyansa kw’eggulu n’engalo ze,N’akwolekeza ekyo kye kugenda okukuba.+ 33  Okubwatuka kwe okw’eggulu kumwogerako,N’ebisibo bitutegeeza oyo ajja.*

Obugambo Obuli Wansi

Era kiyinza okuvvuunulwa, “atuuza bakabaka ku ntebe ez’obwakabaka.”
Oba, “n’eky’okulwanyisa.”
Oba, “Bakyewaggula.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “bukoma.”
Oba, “kukuleetera okukuba mu ngalo olw’ettima.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “avumiridde ekkubo lye; amunenyezza olw’ekkubo lye.”
Oba, “teginoonyezeka.”
Obut., “nsiisira ye.”
Obut., “ekitangaala.”
Obut., “emirandira.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “ekijja.”