Yobu 39:1-30

  • Ensolo zikyoleka nti omuntu talina ky’amanyi (1-30)

    • Embuzi ez’omu nsozi n’empeewo (1-4)

    • Endogoyi ey’omu nsiko (5-8)

    • Sseddume ey’omu nsiko (9-12)

    • Maaya (13-18)

    • Embalaasi (19-25)

    • Magga n’empungu (26-30)

39  “Omanyi ekiseera embuzi ez’omu nsozi mwe zizaalira?+ Wali weetegerezza empeewo nga zizaala?+   Oyinza okubala emyezi gye zimala nga ziri ggwako? Omanyi ekiseera mwe zizaalira?   Zikutama nga zizaala abaana baazo,obulumi bwazo ne bukoma.   Abaana baazo bafuna amaanyi ne bakulira ku ttale;Bagenda ne batadda gye ziri.   Ani yata endogoyi ey’omu nsiko,+Era ani yasumulula emiguwa gyayo?   Eddungu lye nnafuula amaka gaayoN’ensi ey’olunnyo gye nnafuula ekifo w’ebeera.   Enyooma oluyoogaano lw’omu kibuga;Tewulira ddoboozi ly’oyo akozesa ensolo emirimu.   Etaayaaya mu nsozi ng’enoonya omuddo,Ng’enoonya buli awali akaddo.   Sseddume ey’omu nsiko* enekkiriza okukuweereza,+Eneesula mu kisibo kyo? 10  Oyinza okugisiba omuguwa n’ekulimira,Oba eneekugoberera ekulimire mu kiwonvu? 11  Oneesiga amaanyi gaayo amangiN’ogireka ekukolere emirimu egy’amaanyi? 12  Onoogyesiga okukuleetera by’okungudde,*Era eneebikuŋŋaanyiza mu gguuliro lyo? 13  Maaya akuba ebiwaawaatiro bye n’essanyu,Naye ebiwaawaatiro bye n’ebyoya bye biyinza okugeraageranyizibwa ku bya ssekanyolya?+ 14  Aleka amagi ge ku ttakaEra agabugumiza mu nfuufu. 15  Yeerabira nti abantu bayinza okugalinnyako ne gamenyekaOba nti ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya. 16  Ayisa bubi abaana be, nga gy’obeera nti si y’abazaala;+Tatya kuteganira bwereere. 17  Katonda yamumma* amagezi,Era n’atamuwa kutegeera. 18  Naye bw’ayimuka n’akuba ebiwaawaatiro bye,Asekerera embalaasi n’oyo agyebagadde. 19  Ggwe owa embalaasi amaanyi gaayo?+ Ggwe wayambaza obulago bwayo olugingirima olwenyeenya? 20  Osobola okugireetera okubuuka ng’enzige? Okufugula kwayo kwa ntiisa.+ 21  Esambirira ettaka mu kiwonvu n’ebuuka n’amaanyi;+Efubutuka okugenda mu lutalo.*+ 22  Esekerera okutya, era terina ky’etya.+ Tedda mabega olw’ekitala. 23  Akasawo k’obusaale kagikubaganirako,N’effumu limyansa. 24  Ekankana olw’okucamuukirira, n’efubutuka emisinde,*Era teyimirira ng’eŋŋombe evuze.* 25  Eŋŋombe bw’evuga, egamba nti, ‘Otyo!’ Ewunyiriza olutalo ng’ekyali wala,Era ewulira enduulu z’olutalo n’abaduumizi nga baleekaana.+ 26  Magga atumbiira waggulu mu bbanga lwa magezi go,N’abuuka ng’adda ebukiikaddyo? 27  Oba ggwe olagira empungu okubuuka waggulu+N’ezimba eyo ekisu kyayo,+ 28  N’esula waggulu ku kagulungujjo,N’ebeera eyo mu kigo kyayo ku lwazi olugulumivu?* 29  Eyo gy’esinziira okunoonya emmere;+Amaaso gaayo galaba wala. 30  Abaana baayo banywa omusaayi;Era awali ekifudde w’ebeera.”+

Obugambo Obuli Wansi

Kirabika ensolo eno yali efaanana ng’embogo.
Obut., “ensigo zo.”
Obut., “yamuleetera okwerabira.”
Obut., “Efuluma okugenda okusisinkana eby’okulwanyisa.”
Obut., “n’emira ettaka.”
Era kiyinza okuvvuunulwa, “tekkiriza maloboozi ga ŋŋombe.”
Obut., “ku linnyo ly’olwazi.”