Yobu 9:1-35

  • Yobu addamu (1-35)

    • Omuntu tasobola kuwoza ne Katonda (2-4)

    • ‘Katonda akola ebintu ebitanoonyezeka’ (10)

    • Omuntu tasobola kuwakana ne Katonda (32)

9  Awo Yobu n’addamu nti:   “Mazima ddala mmanyi nga bwe kityo bwe kiri. Naye omuntu obuntu ayinza atya okuba omutuufu mu maaso ga Katonda?+   Omuntu bw’ayagala okuwoza naye,*+Omuntu oyo tayinza kuddamu kibuuzo na kimu ku bibuuzo bya Katonda olukumi.   Katonda wa magezi* era wa maanyi mangi.+ Ani ayinza okumuwakanya n’atafuna mitawaana?+   Asiguukulula* ensozi ne wataba amanya,Azivuunika mu busungu bwe.   Akankanya ensi n’eva mu kifo kyayo,Empagi zaayo ne zikankana.+   Alagira enjuba n’eteyaka,Era abikka ekitangaala ky’emmunyeenye;+   Abamba eggulu ng’ali yekka,+Era atambulira ku mayengo g’ennyanja amanene;+   Yakola ebibinja by’emmunyeenye ebiyitibwa Asi, Kesiri, ne Kima,+Era n’ebibinja by’emmunyeenye eby’omu bukiikaddyo; 10  Akola ebintu eby’ekitalo era ebitanoonyezeka,+Akola ebintu ebyewuunyisa ebitabalika.+ 11  Ampitako ne simulaba,Ayitawo ne simutegeera. 12  Bw’akwakkula ekintu, ani ayinza okumuziyiza? Ani ayinza okumugamba nti: “Okola ki?’+ 13  Katonda tajja kufuga busungu bwe;+N’abo abayamba Lakabu*+ bajja kumuvunnamira. 14  Kale sisaanidde kwegendereza nnyo nga mmwanukula? Sisaanidde kulonda bigambo na bwegendereza nga mpoza naye? 15  Ne bwe nnandibadde omutuufu, sandimwanukudde.+ Nnandyegayiridde bwegayirizi omulamuzi wange* ankwatirwe ekisa. 16  Bwe nnaamukoowoola, anannyanukula? Sikkiriza nti anaawulira eddoboozi lyange, 17  Kubanga ammenyaamenya ng’akozesa kibuyaga,Era annyongera ebiwundu awatali nsonga.+ 18  Taŋŋanya kussa ku mukka;Annyongera bwongezi bizibu. 19  Bwe kuba kwegera maanyi, Katonda y’asinga.+ Bwe kuba kulaga bwenkanya, agamba nti: ‘Ani ayinza okunvunaana?’ 20  Ne bwe nnandibadde omutuufu, akamwa kange kandinsalidde omusango;Ne bwe nkuuma obugolokofu bwange,* ajja kunsingisa omusango.* 21  Ne bwe nkuuma obugolokofu bwange,* seekakasa;Nneetamiddwa* obulamu buno. 22  Byonna kye kimu. Kyenva ŋŋamba nti,‘Abatalina musango* n’abakola ebibi, bonna abazikiriza.’ 23  Amataba ag’amaanyi bwe gatta abantu embagirawo,Akudaalira abataliiko musango abali mu nnaku. 24  Ensi yaweebwayo mu mukono gw’omubi;+Katonda abikka ku maaso g’abalamuzi baayo. Kale bw’ataba ye, kati olwo ani akikola? 25  Ennaku zange ziri ku misinde mingi okusinga omuddusi;+Ziggwaako nga sizifunyeemu kalungi konna. 26  Ziyita mangu ng’amaato ag’emmuli,Ng’empungu ezikka ku muyiggo gwazo. 27  Bwe ŋŋamba nti, ‘Nja kwerabira okwemulugunya kwange,Nkyuse endabika y’oku maaso gange mbe musanyufu,’ 28  Era nsigala ntidde olw’obulumi bwange;+Era nkimanyi nti tojja kuntwala ng’atalina musango. 29  Omusango gujja kunsinga. Kale lwaki nteganira obwereere?+ 30  Ne bwe nnaaba amazzi agava mu muzira ogusaanuuse,Era engalo zange ne nzinaaba ne sabbuuni,+ 31  Ojja kunsuula mu kinnya,N’engoye zange zinneenyinyale. 32  Kubanga Katonda si muntu nga nze ndyoke mmwanukule,Era mpoze naye.+ 33  Tewali ayinza kutuwozesa,*N’atulamula.* 34  Singa alekera awo okunkuba,*N’okuntiisa,+ 35  Nnandyogedde naye nga sitya,Kubanga sitya kwogera naye.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “okumutwala mu kkooti.”
Obut., “alina omutima ogw’amagezi.”
Oba, “Aggyawo.”
Oboolyawo ogusolo ogunene ogw’omu nnyanja. Laba Awanny.
Era kiyinza okuvvuunulwa, “oyo gwe mpoza naye.”
Oba, “Ne bwe mba nga sirina musango.”
Obut., “ajja kugamba nti nnakyama.”
Oba, “Ne bwe mba nga sirina musango.”
Oba, “Nnyooma; Ŋŋaana.”
Oba, “Abakuuma obugolokofu.”
Oba, “kututabaganya.”
Obut., “N’atussaako ffembi omukono gwe.”
Obut., “anzigyako omuggo gwe.”