Zabbuli 103:1-22
Zabbuli ya Dawudi.
103 Ka ntendereze Yakuwa;Ka byonna ebiri mu nze bitendereze erinnya lye ettukuvu.
2 Ka ntendereze Yakuwa;Ka nneme kwerabira byonna by’akoze.+
3 Akusonyiwa ensobi zo zonna,+Era akuwonya endwadde zo zonna;+
4 Aggya obulamu bwo mu kinnya,*+Akulaga okwagala okutajjulukuka era akusaasira.+
5 Akuwa ebintu ebirungi+ obulamu bwo bwonna,N’osigala ng’oli muvubuka era ng’oli wa maanyi ng’empungu.+
6 Abo bonna abanyigirizibwa+Yakuwa abakolera eby’obutuukirivu+ n’eby’obwenkanya.
7 Yamanyisa Musa amakubo ge,+Era yamanyisa abaana ba Isirayiri ebikolwa bye.+
8 Yakuwa musaasizi era wa kisa,+Alwawo okusunguwala era alina okwagala kungi okutajjulukuka.+
9 Taatunoonyengamu nsobi,+Era taasibenga kiruyi mirembe na mirembe.+
10 Tatubonerezza nga bwe tugwanidde okubonerezebwa olw’ebibi byaffe,+Era tatusasudde ekyo kye tugwanira olw’ensobi zaffe.+
11 Kubanga ng’eggulu bwe liri ewala ennyo okuva ku nsi,Bwe kutyo n’okwagala kwe okutajjulukuka bwe kuli okungi ennyo eri abo abamutya.+
12 Ng’ebuvanjuba bwe wali ewala ennyo okuva ebugwanjuba,Bw’atyo bw’atadde ebibi byaffe ewala ennyo okuva we tuli.+
13 Nga kitaawe w’abaana bw’asaasira abaana be,Bw’atyo Yakuwa bw’asaasidde abo abamutya.+
14 Kubanga amanyi bulungi bwe twakolebwa,+Ajjukira nti tuli nfuufu.+
15 Ennaku z’omuntu ziringa ez’omuddo;+Ayanya ng’ekimuli ky’oku ttale.+
16 Naye empewo bw’ekunta, nga kiggwaawo,Nga kiba ng’ekitabangawo.*
17 Kyokka emirembe n’emirembe* Yakuwa alaga okwagala kwe okutajjulukukaEri abo abamutya,+Era alaga obutuukirivu bwe eri abaana b’abaana baabwe,+
18 Eri abo abakuuma endagaano ye,+N’eri abo abafuba okukwata ebiragiro bye.
19 Yakuwa yanyweza entebe ye mu ggulu;+Era obwakabaka bwe bufuga ebintu byonna.+
20 Mutendereze Yakuwa mmwe mmwenna bamalayika be+ ab’amaanyi ennyo,Abakolera ku kigambo kye,+ abagondera eddoboozi lye.*
21 Mutendereze Yakuwa mmwe mmwenna ab’omu ggye lye,+Abaweereza be abakola by’ayagala.+
22 Mutendereze Yakuwa mmwe mmwenna ebitonde bye,Mu bifo byonna by’afuga.*
Obulamu bwange bwonna ka butendereze Yakuwa.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ntaana.”
^ Obut., “Era ekifo kyakyo kiba tekikyakimanyi.”
^ Oba, “okuva emirembe n’emirembe okutuusa emirembe n’emirembe.”
^ Obut., “abawulira eddoboozi ly’ekigambo kye.”
^ Oba, “Mu bifo by’obufuzi bwe.”