Zabbuli 111:1-10
111 Mutendereze Ya!*+
א [Alefu]
Nja kutendereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna+ב [Besu]
Nga ndi mu kibinja ky’abagolokofu abakuŋŋaanye, era nga ndi ne mu kibiina.
ג [Gimeri]
2 Ebikolwa bya Yakuwa bya kitalo;+ד [Dalesi]
Byekenneenyezebwa abo bonna be bisanyusa.+
ה [Ke]
3 By’akola bya kitiibwa era birungi nnyo;ו [Wawu]
Obutuukirivu bwe bwa mirembe na mirembe.+
ז [Zayini]
4 Aleetera ebikolwa bye eby’ekitalo okujjukirwa.+
ח [Kesu]
Yakuwa wa kisa era musaasizi.+
ט [Tesu]
5 Abo abamutya abawa emmere.+
י [Yodi]
Ajjukira endagaano ye emirembe n’emirembe.+
כ [Kafu]
6 Abantu be abalaze ebikolwa bye eby’amaanyiל [Lamedi]
Ng’abawa obusika bw’amawanga.+
מ [Memu]
7 Emirimu gy’emikono gye mazima na bwenkanya;+נ [Nuni]
Ebiragiro bye byonna byesigika.+
ס [Sameki]
8 Byesigika buli kiseera; byesigika kaakano era n’emirembe n’emirembe,ע [Ayini]
Byakolebwa mu mazima n’obutuukirivu.+
פ [Pe]
9 Anunudde abantu be.+
צ [Sade]
Yalagira nti endagaano ye ebeewo emirembe n’emirembe.
ק [Kofu]
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa.+
ר [Lesu]
10 Okutya Yakuwa ye ntandikwa y’amagezi.+
ש [Sini]
Abo bonna abakwata ebiragiro bye* booleka okutegeera.+
ת [Tawu]
Ettendo lye lya mirembe na mirembe.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.
^ Obut., “ababikwata.”