Zabbuli 115:1-18
115 Si ffe, Ai Yakuwa, si ffe,*Wabula erinnya lyo ly’oba owa ekitiibwa+Olw’okwagala kwo okutajjulukuka n’olw’obwesigwa bwo.+
2 Lwaki amawanga gandibuuzizza nti:
“Katonda waabwe ali ludda wa?”+
3 Katonda waffe ali mu ggulu;Akola byonna by’ayagala.
4 Ebifaananyi byabwe bya ffeeza ne zzaabu,Byakolebwa na mikono gya bantu.+
5 Birina emimwa naye tebyogera;+Birina amaaso naye tebiraba;
6 Birina amatu naye tebiwulira;Birina ennyindo naye tebiwunyiriza;
7 Birina engalo naye tebikwata;Birina ebigere naye tebitambula;+Obulago bwabyo tebuvaamu ddoboozi.+
8 Abantu ababikola balifuuka nga byo,+Awamu n’abo bonna ababyesiga.+
9 Ggwe Isirayiri, weesige Yakuwa+—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.+
10 Ggwe ennyumba ya Alooni,+ weesige Yakuwa—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.
11 Mmwe abatya Yakuwa, mwesige Yakuwa+—Y’abayamba era ye ngabo yammwe.+
12 Yakuwa atujjukira era ajja kutuwa emikisa,Ajja kuwa ennyumba ya Isirayiri emikisa;+Ajja kuwa ennyumba ya Alooni emikisa.
13 Yakuwa ajja kuwa emikisa abo abamutya,Abato n’abakulu.*
14 Yakuwa ajja kubafuula bangi,Mmwe awamu n’abaana* bammwe.+
15 Yakuwa abawe emikisa,+Oyo eyakola eggulu n’ensi.+
16 Eggulu lya Yakuwa,+Naye ensi yagiwa abaana b’abantu.+
17 Abafu tebatendereza Ya,+Newakubadde abo abakkirira mu kusirika.+
18 Naye ffe tujja kutenderezanga YaOkuva leero n’okutuusa emirembe n’emirembe.
Mutendereze Ya!*
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “Ffe tewali kye tulina, Ai Yakuwa, ffe tewali kye tulina.”
^ Oba, “ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa.”
^ Obut., “ne batabani.”
^ Oba, “Aleruuya!” “Ya” lye linnya Yakuwa nga lisaliddwako.