Zabbuli 139:1-24
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
139 Ai Yakuwa onkebedde,* era ommanyi.+
2 Bwe ntuula era bwe nsituka, omanya.+
Ebirowoozo byange obimanyira wala.+
3 Bwe ntambula era bwe ngalamira wansi, oba ondaba;*Omanyi bulungi amakubo gange gonna.+
4 Olulimi lwange bwe luba terunnayogera kigambo,Laba! Ai Yakuwa, oba wakitegedde dda.+
5 Onneetooloola ku njuyi zonna;Era onteekako omukono gwo.
6 Okumanya ng’okwo kusukkiridde okutegeera kwange.*
Kuli waggulu nnyo sisobola kukutuuka.*+
7 Wa gye nnyinza okwekweka omwoyo gwo,Era wa gye nnyinza okuddukira n’otondaba?+
8 Singa nnali wa kulinnya mu ggulu, wandibaddeyo;Ne bwe nnandyaze obuliri bwange emagombe,* laba! eyo nayo wandibaddeyo.+
9 Ne bwe nnandibuuse n’ebiwaawaatiro eby’oku makya ennyoNe ŋŋenda okubeera ku nnyanja esingayo okuba ewala,
10 Eyo nayo omukono gwo gwandinkulembeddeEra omukono gwo ogwa ddyo gwandimpaniridde.+
11 Bwe nnandigambye nti: “Ekizikiza kijja kunkweka!”
Ekiro ekinneetoolodde kyandibadde ng’ekitangaala.
12 Gy’oli ekizikiza tekyandibadde kikwafu,Naye ekiro kyandibadde kitangaala ng’emisana;+Gy’oli ekizikiza kye kimu n’ekitangaala.+
13 Wakola ensigo zange;Wambikkako nga ndi mu lubuto lwa mmange.+
14 Nkutendereza kubanga nnakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa era ey’ekitalo.+
Emirimu gyo gya kitalo nnyo,+Ekyo nkimanyi bulungi.
15 Amagumba gange tegaakukisibwaBwe nnali nkolebwa mu kyama,Bwe nnali nkulira mu lubuto lwa mmange.*+
16 Amaaso go gandaba nga ndi mu lubuto lwa mmange;Ebitundu by’omubiri gwange byonna byawandiikibwa mu kitabo kyo,Byonna ebikwata ku nnaku lwe byatondebwa,Wadde nga tewaali na kimu ku byo ekyaliwo.
17 Ebirowoozo byo nga bya muwendo nnyo gye ndi!+
Ai Katonda, nga bingi nnyo!+
18 Bwe ngezaako okubibala, bingi nnyo okusinga omusenyu gw’ennyanja.+
Bwe nzuukuka ku makya, mba nkyali naawe.*+
19 Ai Katonda, singa ozikiriza ababi!+
Abakola ebikolwa eby’obukambwe* bandivudde we ndi,
20 Abo abakwogerako ebintu ebibi nga balina ekigendererwa ekibi;Abalabe bo abakozesa erinnya lyo mu ngeri etasaana.+
21 Abo abatakwagala sibakyawa, Ai Yakuwa,+Era ne nneetamwa abo abakujeemera?+
22 Mbakyayira ddala;+Bafuuse balabe bange ddala.
23 Nkebera, Ai Katonda, omanye omutima gwange.+
Ngezesa omanye ebinneeraliikiriza.+
24 Laba obanga mu nze mulimu ekkubo ery’omutawaana,+Onnuŋŋamye mu kkubo+ ery’emirembe n’emirembe.
Obugambo Obuli Wansi
^ Obut., “ompimye.”
^ Obut., “oba ompima.”
^ Oba, “kunneewuunyisa nnyo.”
^ Oba, “kwa kitalo nnyo gye ndi.”
^ Obut., “bwe nnali ndukibwa mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ebya wansi.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “mba nkyabibala.”
^ Oba, “Abaliko omusango gw’okuyiwa omusaayi.”