Zabbuli 21:1-13
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
21 Ai Yakuwa, kabaka asanyuka olw’amaanyi go; +Asanyuka nnyo olw’ebikolwa byo eby’obulokozi.+
2 Omuwadde omutima gwe bye gwagala;+Tomummye ky’akusaba. (Seera)
3 Omuwa emikisa n’ebintu ebirungi;Ossa ku mutwe gwe engule eya zzaabu omulungi.*+
4 Yakusaba obulamu n’obumuwa,+Okuwangaala, emirembe n’emirembe.
5 Ebikolwa byo eby’obulokozi bimuleetera ekitiibwa kingi.+
Omuwa obukulu n’ettendo.
6 Omufuula wa mukisa emirembe n’emirembe;+Omuleetera okuba omusanyufu kubanga oli naye.+
7 Kabaka yeesiga Yakuwa;+Talisagaasagana* olw’okwagala okutajjulukuka okw’oyo Asingayo Okuba Waggulu.+
8 Omukono gwo gulikwata abalabe bo bonna;Omukono gwo ogwa ddyo gulikwata abo bonna abatakwagala.
9 Lw’oliboolekeza obwanga olibafuula ng’abasuuliddwa mu kyokero.
Yakuwa alibamira mu busungu bwe, era omuliro gulibasaanyaawo.+
10 Bazzukulu* baabwe olibazikiriza ne baggwaawo ku nsi,N’abaana baabwe olibazikiriza ne baggwaawo mu bantu.
11 Kubanga baayagala okukukola akabi;+Basaze enkwe ezitaatuukirire.+
12 Olibaleetera okudduka ne baddayo+Bw’olibaleegamu omutego gwo ogw’obusaale.*
13 Ai Yakuwa, situka mu maanyi go.
Tuliyimba ennyimba okutendereza amaanyi go.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “alongooseddwa.”
^ Oba, “Talitagala.”
^ Obut., “Ebibala.”
^ Obut., “obuguwa bw’omutego gw’obusaale.”