Zabbuli 27:1-14
Zabbuli ya Dawudi.
27 Yakuwa kye kitangaala kyange+ era bwe bulokozi bwange.
Ani gwe nnaatya?+
Yakuwa kye kigo ky’obulamu bwange.+
Ani anankankanya?
2 Abantu ababi, abalabe bange, bwe bannumba nga baagala okundya,+Be beesittala ne bagwa.
3 Eggye ne bwe lisiisira okunnumba,Omutima gwange tegujja kutya.+
Ne bwe nnumbibwa mu lutalo,Nja kusigala nga ndi mugumu.
4 Waliwo ekintu kimu kye nsaba Yakuwa—Era kye nnaanoonyanga—Okubeeranga mu nnyumba ya Yakuwa obulamu bwange bwonna,+Ntunulenga ku bulungi bwa YakuwaEra nsanyukire okutunuulira yeekaalu ye.*+
5 Ku lunaku olw’obuyinike alinkweka mu kifo kye eky’okwekwekamu;+Alinkweka mu kifo eky’ekyama eky’omu weema ye;+Alinteeka waggulu ku lwazi.+
6 Omutwe gwange guyiseemu waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde;Nja kuwaayo ssaddaaka ku weema ye nga njaguza;Nja kuyimba ennyimba ezitendereza Yakuwa.
7 Ai Yakuwa, mpulira bwe nkukoowoola,+Ndaga ekisa onziremu.+
8 Omutima gwange gwogedde kye watulagira nti:
“Munnoonye.”
Ai Yakuwa, nja kukunoonya.”+
9 Tonneekweka.+
Togoba muweereza wo ng’osunguwadde.
Ggwe annyamba;+Tonjabulira era tondeka, Ai Katonda ow’obulokozi bwange.
10 Kitange ne mmange ne bwe banjabulira,+Yakuwa ajja kumbudamya.+
11 Njigiriza ekkubo lyo, Ai Yakuwa,+Nkulembera mu kkubo ery’obutuukirivu olw’abalabe bange.
12 Tompaayo eri abalabe bange,+Kubanga bampaayiriza,+Era baagala kunkolako eby’obukambwe.
13 Nnandibadde wa singa saalina kukkirizaNti nja kulaba obulungi bwa Yakuwa nga nkyali mulamu?*+
14 Essuubi lyo lisse mu Yakuwa;+Ba muvumu era ba n’omutima omugumu.+
Essuubi lyo lisse mu Yakuwa.
Obugambo Obuli Wansi
^ Oba, “ekifo kye ekitukuvu.”
^ Era kiyinza okuvvuunulwa, “Mazima ddala nzikiriza nti nja kulaba obulungi bwa Yakuwa mu nsi y’abalamu.”