Zabbuli 6:1-10

  • Okusaba okulagibwa ekisa

    • Abafu tebatendereza Katonda (5)

    • Katonda awulira okusaba okw’okwegayirira (9)

Eri akubiriza eby’okuyimba; kugenderako ebivuga eby’enkoba ebireegeddwa okuvugira mu ddoboozi lya Seminisi.* Zabbuli ya Dawudi. 6  Ai Yakuwa, tonnenya ng’oli musunguwavu,Era tongolola ng’oliko ekiruyi.+   Nkwatirwa ekisa,* Ai Yakuwa, kubanga mpulira amaanyi ganzigwaamu. Mponya, Ai Yakuwa,+ kubanga amagumba gange gakankana.   Ndi mweraliikirivu nnyo,+Era nkubuuza, Ai Yakuwa, onoolindirira kutuusa ddi?+   Ai Yakuwa, jjangu onnunule;+Ndokola kubanga olina okwagala okutajjulukuka.+   Kubanga abafu tebasobola kukwogerako;*Ani ayinza okukutendereza emagombe?*+   Nkooye olw’okusinda;+Ekiro kyonna ekitanda kyange nkitobya amaziga;Obuliri bwange mbutotobaza nga nkaaba.+   Eriiso lyange linafuye olw’ennaku gye ndimu;+Liyimbadde* olw’abo bonna abambonyaabonya.   Muve we ndi mmwe mmwenna abakola ebintu ebibi,Kubanga Yakuwa ajja kuwulira okukaaba kwange.+   Yakuwa ajja kuwulira okwegayirira kwange;+Yakuwa ajja kukkiriza okusaba kwange. 10  Abalabe bange bonna bajja kuswala era batye;Bajja kukyuka mangu baddeyo nga baswadde.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Nsaasira.”
Oba, “kukujjukira.”
Oba, “Likaddiye.”