Zabbuli 64:1-10
-
Okuwonyezebwa enkwe ezisalibwa mu kyama
-
“Katonda ajja kubalasa” (7)
-
Eri akubiriza eby’okuyimba. Zabbuli ya Dawudi.
64 Ai Katonda, wulira eddoboozi lyange nga nkwegayirira.+
Kuuma obulamu bwange nneme okutya omulabe.
2 Mponya enkwe ababi ze basala mu kyama,+Mponya ekibinja ky’abakozi b’ebibi.
3 Olulimi lwabwe baluwagala ng’ekitala;Ebigambo byabwe eby’obukambwe babireega ng’obusaale,
4 Okulasa ataliiko musango nga basinziira mu bifo gye beekweka;Bamulasa mangu ddala awatali kutya.
5 Banywerera ku bigendererwa byabwe ebibi;*Bateesa ku ngeri gye bayinza okukweka emitego gyabwe.
Bagamba nti: “Ani anaagiraba?”+
6 Banoonyayo engeri endala ez’okukolamu ebibi;Basala enkwe mu kyama,+Ebirowoozo ebiri mu mutima gwa buli omu ku bo tebitegeerekeka.
7 Naye Katonda ajja kubalasa;+Mangu ddala akasaale kajja kubafumita.
8 Olulimi lwabwe lujja kubaleetera okugwa;+Abo bonna abanaakiraba bajja kunyeenya emitwe.
9 Abantu bonna bajja kutya;Bajja kulangirira Katonda by’akoze,Era bajja kutegeera ebikolwa bye.+
10 Omutuukirivu ajja kusanyuka olw’ebyo Yakuwa by’amukoledde era ajja kuddukira gy’ali;+Abo bonna abalina omutima omugolokofu bajja kujaganya.*