Zabbuli 83:1-18

  • Essaala y’oyo alina abalabe

    • “Ai Katonda, tosirika” (1)

    • Abalabe balinga amatovu agatwalibwa empewo (13)

    • Yakuwa lye linnya lya Katonda (18)

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.+ 83  Ai Katonda, tosirika;+Yogera* era baako ky’okola, Ai Katonda.   Laba! Abalabe bo bayoogaana;+Abo abatakwagala beekulumbaza.*   Mu lukujjukujju basalira abantu bo enkwe;Beekobaana okukola akabi ku bantu bo ab’omuwendo.*   Bagamba nti: “Mujje tubazikirize bonna ng’eggwanga,+Erinnya lya Isirayiri lireme kujjukirwa nate.”   Bateesa ne bakkaanya;Beegasse wamu* okukulwanyisa+   Weema za Edomu n’ez’Abayisimayiri, Mowaabu+ n’Abakaguli,+   Gebali ne Amoni+ ne Amaleki,Bufirisuuti+ awamu n’abantu b’e Ttuulo.+   Bwasuli+ naye abeegasseeko;Bayamba* abaana ba Lutti.+ (Seera)   Bakole kye wakola Midiyaani,+Kye wakola Sisera ne Yabini ku Kagga Kisoni.+ 10  Baazikirizibwa mu Eni-doli;+Baafuuka bigimusa bya ttaka. 11  Abaami baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,+Abakulembeze baabwe bafuule nga Zeba ne Zalumunna,+ 12  Kubanga bagambye nti: “Ka tutwale ensi Katonda mw’abeera.” 13  Ai Katonda wange, bafuule ng’amatovu agatwalibwa empewo,+Bafuule ng’ebisubi ebifuumuulibwa embuyaga. 14  Ng’omuliro ogwokya ekibira,Era ng’ennimi z’omuliro ezibabula ensozi,+ 15  Bawondere ng’okozesa omuyaga gwo,+Era batiise ne kibuyaga wo.+ 16  Amaaso gaabwe gajjuze* okuswala,Banoonyenga erinnya lyo, Ai Yakuwa. 17  Ka baswalenga era batyenga emirembe gyonna,Ka bafeebezebwe era bazikirire; 18  Abantu ka bamanye nti erinnya lyo, ggwe Yakuwa,+Ggwe wekka Asingayo Okuba Waggulu, afuga ensi yonna.+

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “Tosirika.”
Oba, “bayimusa emitwe gyabwe.”
Obut., “bantu bo abakwekeddwa.”
Oba, “Bakoze endagaano.”
Obut., “Bafuuse mukono eri.”
Oba, “gabikke.”