Zekkaliya 2:1-13

  • Okwolesebwa 3: Omusajja akutte omuguwa ogupima (1-13)

    • Yerusaalemi kya kupimibwa (2)

    • Yakuwa, “bbugwe ow’omuliro ku njuyi zonna” (5)

    • Okukwata ku mmunye y’eriiso lya Katonda (8)

    • Amawanga mangi ga kwegatta ku Yakuwa (11)

2  Awo ne ntunula waggulu ne ndaba omusajja eyali akutte omuguwa ogupima.+  Ne mmubuuza nti: “Ogenda wa?” N’aŋŋamba nti: “Ŋŋenda kupima Yerusaalemi ndabe bwe kyenkana obugazi n’obuwanvu.”+  Malayika eyali ayogera nange bwe yali agenda, malayika omulala n’ajja okumusisinkana.  Awo n’amugamba nti: “Dduka ogambe omuvubuka oli nti, ‘“Yerusaalemi kiribaamu abantu+ okufaananako ebyalo ebitaliiko bbugwe, kubanga abantu abakirimu balyeyongera obungi era n’ebisolo biriba bingi.+  Ndiba gye kiri nga bbugwe ow’omuliro ku njuyi zonna+ era ndikijjuza ekitiibwa kyange,”+ Yakuwa bw’agamba.”’  Mujje! Mujje! Mudduke muve mu nsi ey’ebukiikakkono,”+ Yakuwa bw’agamba. “Mbasaasaanyizza mmwe mu mpewo ennya ez’eggulu,”+ Yakuwa bw’agamba.  “Jjangu ggwe Sayuuni! Mudduke mmwe ababeera ne muwala wa Babulooni.+  Oluvannyuma lw’okugulumizibwa,* Katonda antumye mu mawanga agaali gabanyagako ebyammwe,+ era bw’ati Yakuwa ow’eggye bw’agamba: ‘Buli abakwatako mmwe aba akutte ku mmunye y’eriiso lyange.*+  Laba, ndibawuubira omukono gwange era balifuuka munyago eri abaddu baabwe.’+ Mulimanya nti Yakuwa ow’eggye y’antumye. 10  “Yogerera waggulu olw’essanyu, ggwe muwala wa Sayuuni;+ kubanga nzija,+ era nja kubeeranga mu ggwe,”+ Yakuwa bw’agamba. 11  “Amawanga mangi galyegatta ku Yakuwa ku lunaku olwo,+ era balifuuka bantu bange; era ndibeera wakati mu ggwe.” Era olimanya nti Yakuwa ow’eggye y’antumye gy’oli. 12  Yakuwa alitwala Yuda okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu era aliddamu n’alonda Yerusaalemi.+ 13  Mmwe abantu mmwenna musirike mu maaso ga Yakuwa, kubanga asituse okuva mu kifo kye ekitukuvu mw’abeera abeeko ky’akolawo.

Obugambo Obuli Wansi

Oba, “ku liiso lyange.”
Oba, “Oluvannyuma lw’ekitiibwa.”