Buuka ogende ku bubaka obulimu

Baazuula Ekintu Ekisingako Obulungi

Baazuula Ekintu Ekisingako Obulungi

ABAKRISTAAYO bukadde na bukadde baasalawo obutakuza Ssekukkulu. Basanyufu olw’ekyo kye baasalawo? Bawulira nti balina kye basubwa? Abaana baabwe bawulira nti basaalirwa? Weetegereze ebyo Abajulirwa ba Yakuwa okuva mu nsi ezitali zimu bye boogera ku nsonga eyo.

Eve

Okujjukira Yesu Kristo: “Bwe nnali nga sinnafuuka Mujulirwa wa Yakuwa, saateranga kugenda ku kkanisa. Nnagendangayo ku Ssekukkulu kwokka na ku Ppaasika. Kyokka ne bwe nnagendangayo, saalowoozanga ku Yesu Kristo. Kati sikyakuza Ssekukkulu, naye ŋŋenda mu nkuŋŋaana z’Ekikristaayo emirundi ebiri buli wiiki, era njigiriza abalala ebyo Bayibuli by’eyogera ku Yesu!”​—EVE, AUSTRALIA.

Reuben

Essanyu Eriva mu Kugaba: “Kinsanyusa nnyo omuntu bw’ampa ekirabo nga mbadde sikisuubira. Ate era njagala nnyo okukola kaadi n’okusiiga ebifaananyi ne mbigabira abalala, kubanga ekyo kibaleetera essanyu era nange kinsanyusa.”​—REUBEN, NORTHERN IRELAND.

Emily

Okuyamba abali mu bwetaavu: “Twagala nnyo okufumbira abantu abalwadde emmere. Oluusi tubatwalira ebimuli, keeki, oba obulabo obutonotono okubazzaamu amaanyi. Ekyo tunyumirwa okukikola kubanga tusobola okukikola ekiseera kyonna mu mwaka.”​—EMILY, AUSTRALIA.

Wendy

Okubeerako awamu n’ab’eŋŋanda: “Bwe tubeerako awamu n’ab’eŋŋanda zaffe, abaana baffe bamanya bataata baabwe abato, bakojja baabwe, basenga baabwe, bamaama baabwe abato, bajjajja baabwe, ne bakizibwe baabwe. Okuva bwe kiri nti tekitukakatako kugenda kubalaba ku nnaku enkulu, tuwulira emirembe era ab’eŋŋanda zaffe bakimanyi nti tubakyalira olw’okuba tubagaala.”​—WENDY, CAYMAN ISLANDS.

Sandra

Emirembe: “Mu biseera bya Ssekukkulu, abantu baba n’eby’okukola bingi ne kiba nti batono nnyo abalowooza ku mirembe. Bayibuli ennyambye okumanya ebintu ebirungi Katonda by’asuubiza abantu ebijja okubaawo mu biseera eby’omu maaso. Ekyo kinnyambye okuba n’emirembe. Nkimanyi nti abaana bange bajja kuba bulungi mu biseera eby’omu maaso.”​—SANDRA, SPAIN.