Ddala Ani Afuga Ensi?
Olowooza . . .
-
Katonda?
-
bantu?
-
Sitaani?
BAYIBULI KY’EGAMBA
“Omubi y’afuga ensi yonna.”—1 Yokaana 5:19.
“Omwana wa Katonda yajja . . . azikirize ebikolwa by’omulyolyomi.”—1 Yokaana 3:8, New Century Version.
OMUGANYULO OGULI MU KUMANYA EKYO
Otegeera ekiviirako ebizibu ebiriwo mu nsi.—Okubikkulirwa 12:12.
Oba n’essuubi nti Katonda ajja kutereeza ensi.—1 Yokaana 2:17.
TUSOBOLA OKUKKIRIZA EKYO BAYIBULI KY’EGAMBA
Lwa nsonga nga ssatu:
-
Obufuzi bwa Sitaani bujja kuggibwawo. Yakuwa agenda kuggyawo obufuzi bwa Sitaani ku nsi. Asuubiza ‘okuzikiriza Sitaani,’ amalewo ebizibu byonna Sitaani by’aleese.—Abebbulaniya 2:14, Enkyusa ey’Ensi Empya.
-
Katonda alonze Yesu Kristo okuba omufuzi w’ensi. Yesu wa njawulo nnyo ku mufuzi w’ensi ono omukambwe era eyeefaako yekka. Ng’ayogera ku bufuzi bwa Yesu, Katonda agamba nti: ‘Anaasaasiranga abanaku n’abaavu. Anaabawonyanga okunyigirizibwa era n’ebikolwa eby’obukambwe.’—Zabbuli 72:13, 14.
-
Katonda tayinza kulimba. Bayibuli egamba nti: “Katonda tayinza kulimba.” (Abebbulaniya 6:18) Yakuwa bw’asuubiza okukola ekintu aba ng’amaze okukikola! (Isaaya 55:10, 11) “Omufuzi w’ensi eno ajja kugoberwa ebweru.”—Yokaana 12:31.
KY’OYINZA OKULOWOOZAAKO
Ensi eribeera etya ng’omufuzi waayo aggiddwawo?
Bayibuli eddamu ekibuuzo ekyo mu ZABBULI 37:10, 11 ne OKUBIKKULIRWA 21:3, 4.