Buyonaani ne Rooma Kye Zaakola ku Bayudaaya
Buyonaani ne Rooma Kye Zaakola ku Bayudaaya
TETTWALE eryamanyibwa ng’erya Buyonaani lyatandikira mu nsozi za Makedoni. Bwe yali atemera mu myaka 20, Alekizanda yafuna ekirowoozo ky’okuwamba ebitundu eby’ebuvanjuba. Mu 334 B.C.E., yakulembera amagye ge okuyita e Keresiponti (kati ekiyitibwa Dardanelles), ekitundu ekyawulamu Bulaaya ne Asiya. Okufaananako ‘engo’ eddukira ku sipiidi, Buyonaani ng’ekulemberwa Alekizanda yawamba ebitundu ebitali bimu ku sipiidi ey’amaanyi. (Dan 7:6) Alekizanda yalwana n’Abaperusi mu kifo ekiri okumpi ne Tuloyi, mu nsenyi z’Omugga Gulanikasi era n’abafuntulira ddala e Yisusi.
Wansi w’obulagirizi bwa Alekizanda, Abayonaani baalumba Busuuli ne Bufoyiniiki era ne bawamba Ttuulo oluvannyuma lw’okukizingiza okumala emyezi musanvu. (Ezer 26:4, 12) Alekizanda teyalumba kibuga kya Yerusaalemi, kyokka yawamba ekibuga Gaza. (Zek 9:5) Ng’atuuse e Misiri, yazimba ekibuga Alegezandereya, ekyafuuka ekitebe ekikulu eky’eby’obusuubuzi n’eby’obuyigirize. Ng’addamu okuyita mu Nsi Ensuubize, yafuntulira ddala Abaperusi mu kifo ekiyitibwa Gawugamela ekiri okumpi n’amatongo ga Nineeve.
Alekizanda yayolekera obukiika kkono okuwamba Babulooni, Susani (Susa) ne Perusepolisi—ebifo ebikulu Abaperusi gye baasinziiranga okufuga. Ng’ali ku sipiidi ey’amaanyi yayita mu ttwale lya Buperusi, n’atuuka ku Mugga Indusi, ekifo kati ekiyitibwa Pakisitan. Mu myaka munaana gyokka, Alekizanda yawamba ekitundu Dan 8:8.
ekisinga obunene eky’ensi eyali emanyiddwa mu kiseera ekyo. Mu 323 B.C.E., ng’aweza emyaka 32, yafa omusujja ng’ali e Babulooni.—Abayonaani baalina kinene nnyo kye baakola ku Nsi Ensuubize. Abamu ku baserikale ba Alekizanda baasenga mu kitundu ekyo. Ekyasa ekyasooka we kyatuukira, ebibuga ebyali byogera Oluyonaani (Dekapoli) byegatta. (Mat 4:25; Mak 7:31) Ebyawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byatandika okukyusibwa mu Luyonaani. Oluyonaani olwa bulijjo lwe lwakozesebwa wonna mu kubunyisa enjigiriza z’Ekikristaayo.
Obwakabaka bwa Rooma
Kiki ekyali kigenda mu maaso ebugwanjuba? Rooma, mu kusooka eyalimu ebyalo bitono ebyali ku Mugga Tiberi—yafuuka ya maanyi. Oluvannyuma, amagye ga Rooma ag’amaanyi agaali gategekeddwa obulungi mu by’ekijaasi ne mu by’obufuzi gaasobola okuwamba ebitundu ebyali bifugibwa abagabe ba Alekizanda. Omwaka 30 B.C.E., we gwatuukira, Rooma yali efuuse Obufuzi Kirimaanyi, mu ngeri eyo ne yeeyoleka okuba ensolo ey’entiisa Danyeri gye yalaba mu kwolesebwa.—Dan 7:7.
Obufuzi bwa Rooma bwava e Bungereza ne butuuka mu bukiika kkono bwa Afirika, ate ne buva ku Nnyanja Atalantika okutuuka ku Kyondo kya Buperusi. Olw’okuba ettwale lino lyali lyetooloddwa Ennyanja Meditereniyani, Abaruumi baaliyitanga Mare Nostrum, ekitegeeza “Ennyanja Yaffe.”
Era Rooma erina kye yakola ku Bayudaaya abaali mu ttwale ly’obufuzi bwayo. (Mat 8:5-13; Bik 10:1, 2) Yesu yabatizibwa era n’afa ku mulembe gw’obufuzi bwa Empula Tiberiyo. Abamu ku bafuzi ba Rooma baayigganya nnyo Abakristaayo, naye tebaasobola kuwangula kusinza okw’amazima. Oluvannyuma lw’emyaka 1,300, ettwale lino lyawambibwa Abagirimaani ab’omu bukiika ddyo n’abalunzi ab’omu buvanjuba.
[Mmaapu eri ku lupapula 26]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Obwakabaka bwa Buyonaani
Oluvannyuma lw’okufa kwa Alekizanda, abagabe be bana beddiza ettwale eryo eddene
▪ Kasanda
▫ Liisimaka
○ Ttolemi I
• Serewuko I
A2 ▪ BUYONANI
A2 ▪ Asene
A2 ▪ AKAYA
A3 ○ Kulene
A3 ○ LIBIYA
B2 ▫ Baizantiyamu
B3 ○ KULUPO
B4 ○ Nowamoni (Sebbesi)
C3 Palumayira (Tamali)
C3 ○ Gerasa
C3 ○ Firaderufiya
C3 ○ Yerusaalemi
C5 ○ Sevene
G2 • Alegezandereya Marjana
Ekubbo Alekizanda lye Yayitamu
A2 ▪ MAKEDONI
A2 ▪ Pella
A2 ▫ TULASI
B2 ▫ Tuloyi
B2 ▫ Saadi
B2 ▫ Efeso
B2 ▫ Goludiyamu
C2 ▫ Ankara
C3 • Talusiisi
C3 • Yisusi
C3 • Antiyokia (eky’omu Busuuli)
C3 ○ Ttuulo
C4 ○ Gaza
B4 ○ MISIRI
B4 ○ Menfisi
B4 ○ Alegezandereya
A4 ○ Ekidiba kya Amoni
B4 ○ Menfisi
C4 ○ Gaza
C3 ○ Ttuulo
C3 ○ Damasiko
C3 • Aleppo
D3 • Nisibisi
D3 • Gawugamela
D3 • Babulooni
E3 • Susani
E4 • BUPERUSI
E4 • Perusepolisi
E4 • Pasagade
E3 • BUMEDI
E3 • Yakumesa
E3 • Lajeji
E3 • Kekitompulosi
F3 • BUPAAZI
G3 • ALEYO
G3 • Alegezandereya Ariyoni
G3 • Alegezandereya Fulosasi
F4 • DULANGIYANA
G4 • ALAKOSIYA
G4 • Alegezandereya Alakotoni
H3 • Kabul
G3 • Dulapusaka
H3 • Alegezandereya Okisiyani
G3 • Dulapusaka
G3 • BAKITULIYA
G3 • Bakitula
G2 • Derubenti
G2 • SODIYANA
G2 • Malakanda
G2 • Bukala
G2 • Malakanda
H2 • Alegezandereya Esikate
G2 • Malakanda
G2 • Derubenti
G3 • Bakitula
G3 • BAKITULIYA
G3 • Dulapusaka
H3 • Kabul
H3 • Takisira
H5 • BUYINDI
H4 • Alegesandereya
G4 • GEDULOSIYA
F4 • Pyula
E4 • BUPERUSI
F4 • Alegezandereya
F4 • KAMANIYA
E4 • Pasagade
E4 • Perusepolisi
E3 • Susani
D3 • Babulooni
[Ebifo Ebirala]
A3 KULEETE
D4 ARABIA
[Ennyanja]
B3 Ennyanja Meditereniya
C5 Ennyanja emmyufu
E4 Ekyondo kya Buperusi
G5 Ennyanja ya Buwalabu
[Emigga]
B4 Nile
D3 Fulaati
D3 Tiguli
G4 Indusi
[Mmaapu eri ku lupapula 27]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Obwakabaka bwa Rooma
A1 BUNGEREZA
A3 SIPEYINI
B1 BUGIRIMAANI
B2 GAWULO
B2 ITALIYA
B2 Rooma
B3 Kaseggi
C2 ILURIKO
C3 BUYONAANI
C3 Akitiyamu
C3 Kuleene
D2 Baizantiyamu (Konsitantinopo)
D3 ASIYA OMUTONO
D3 Efeso
D3 Aleppo
D3 Antiyokiya (eky’omu Busuuli)
D3 Damasiko
D3 Gerasa (Jalasi)
D3 Yerusaalemi
D3 Alegezandereya
D4 MISRI
[Ennyanja]
A2 Ennyanja Atlantic
C3 Ennyanja Meditereniyani
D2 Ennyanja Enzirugavu
D4 Ennyanja Emmyufu
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Bwe yaddamu okuzimba Labba, Ttolemi II yakituuma Firaderufiya. Ebyasigalawo ku kizimbe ekimu omwalabirwanga emizannyo mu Rooma
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]
Dekapoli ekibuga eky’e Gerasa (Yalasi)
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 27]
Enguudo za Rooma, gamba nga luno oluli okumpi ne Aleppo lwatuuka mu Bulaaya, Afirika ow’omu bukiika kkono, ne mu Buwalabu. Abakristaayo ze baayitirangamu okusobola okusaasaanya amazima ga Baibuli