Funa Obukuumi mu Bantu ba Katonda
Essuula 17
Funa Obukuumi mu Bantu ba Katonda
1, 2. Embeera abantu gye balimu efaananako etya ey’abantu abali mu kifo kibuyaga ow’amaanyi mw’ayonoonye ebintu?
KUBA akafaananyi nga omuyaga ogw’amaanyi ennyo gwonoonye ebintu mu kifo w’obeera. Amaka go gazikiriziddwa, era ebintu byo byonna byonooneddwa. Emmere ya bbula. Embeera erabika ng’ezibuwalidde ddala. Awo, obuyambi obubadde butasuubirwa ne butuuka. N’oweebwa emmere nnyingi n’engoye. N’ozimbirwa ennyumba empya. Ddala ddala wandisiimye nnyo omuntu akukoledde ebintu bino.
2 Ekifaananako bwe kityo kikolebwa leero. Okufaananako omuyaga ogwo, obujeemu bwa Adamu ne Kaawa bwaleeta akabi kanene eri olulyo lw’omuntu. Abantu baafiirwa amaka gaabwe agaali mu Lusuku lwa Katonda. Okuva olwo, gavumenti z’abantu ziremeddwa okuwonya abantu entalo, obumenyi bw’amateeka, n’obutali bwenkanya. Eddiini zirumisizza nnamungi w’abantu enjala nga tezibawa mmere nnungi ey’eby’omwoyo. Kyokka, mu ngeri ey’eby’omwoyo, Yakuwa Katonda agaba emmere, eby’okwambala, n’ekifo aw’okwewogoma. Akikola atya?
‘OMUDDU OMWESIGWA OW’AMAGEZI’
3. Yakuwa agabula atya abantu ebintu ebyetaagibwa, era kino kiragibwa na byakulabirako ki?
3 Obuyambi butera okugabibwa okuyitira mu mukutu 1 Ebyomumirembe 28:8; 2 Ebyomumirembe 17:7-9) Mu kyasa ekyasooka C.E., Yakuwa yateekawo entegeka ey’Ekikristaayo. Ebibiina byatandikibwawo, era byakoleranga wansi w’obulagirizi bw’akakiiko akafuzi akaaliko abatume n’abasajja abakadde. (Ebikolwa 15:22-31) Mu ngeri y’emu leero, Yakuwa akolagana n’abantu be okuyitira mu kibiina ekitegeke. Tukimanya tutya?
omuteeketeeke obulungi, era ne Yakuwa bw’atyo bw’agabudde abantu be ebyetaagibwa mu by’omwoyo. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri baali ‘kibiina kya Yakuwa’ okumala emyaka nga 1,500. Mu bo mwalimu abo abaakolanga ng’omukutu gwa Katonda ogw’okuyigiriza Amateeka ge. (4. ‘Omuddu omwesigwa ow’amagezi’ y’ani mu biseera bino, era Katonda agabula atya eby’omwoyo?
4 Yesu yagamba nti mu kiseera eky’okubeerawo kwe mu buyinza bw’Obwakabaka, ‘omuddu omwesigwa ow’amagezi’ yandisangiddwa ng’agabula abagoberezi Be “emmere yaabwe mu kiseera kyayo.” (Matayo 24:45-47) Yesu bwe yatuuzibwa ku ntebe nga Kabaka ow’omu ggulu mu 1914, “omuddu” ono yali ani? Kikakafu nti tebaali bakadde ba makanisa ga Kristendomu. Baali beemalidde ku kukuba pokopoko eri ebisibo byabwe nga bawagira gavumenti z’amawanga gaabwe mu Ssematalo I. Naye, yo, emmere ennungi ey’eby’omwoyo era eyatuukira mu kiseera ekituufu yali egabibwa ekibiina ky’Abakristaayo ab’amazima abaafukibwako omwoyo omutukuvu ogwa Katonda era abali ku abo Yesu be yayita “ekisibo ekitono.” (Lukka 12:32) Abakristaayo bano abaafukibwako amafuta baabuulira ku Bwakabaka bwa Katonda so si gavumenti z’abantu. N’ekivuddemu, emyaka nga bwe gigenze giyitawo obukadde n’obukadde bwa “endiga endala” abaagala obutuukirivu beegasse ku ‘muddu’ eyafukibwako amafuta mu kugoberera eddiini ey’amazima. (Yokaana 10:16) Ng’akozesa ‘omuddu omwesigwa’ n’Akakiiko ke Akafuzi ak’omu kiseera kino, Katonda akulembera abantu be okuwa emmere ey’eby’omwoyo, eby’okwambala, n’ekifo aw’okwewogoma eri abo bonna abaagala okubifuna.
‘EMMERE MU KISEERA KYAYO’
5. Mbeera ki ey’eby’omwoyo eriwo mu nsi leero, naye Yakuwa akozeewo ki?
5 Yesu yagamba: “Omuntu tabanga mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Katonda.” (Matayo 4:4) Naye, eky’ennaku, abantu abasinga obungi tebafaayo ku Katonda bye yayogera. Nga bwe kyalagulwa nnabbi wa Yakuwa, Amosi, waliwo “enjala mu nsi, eteri njala ya mmere newakubadde ennyonta ey’amazzi, naye enjala ey’okuwulira ebigambo bya Mukama.” (Amosi 8:11) Yadde n’abantu abajjumbira ennyo eddiini balumwa enjala ey’eby’omwoyo. Kyokka, Yakuwa ayagala “abantu aba buli ngeri okulokolebwa, era okutuuka ku kumanya okutuufu okw’amazima.” (1 Timoseewo 2:3, 4, NW ) N’olw’ensonga eyo, agabula emmere ey’eby’omwoyo nnyingi ddala. Naye eyinza kufunika wa?
6. Yakuwa aliisizza atya abantu be mu biseera ebiyiseewo?
6 Mu byafaayo byonna, Yakuwa abantu be abadde abagabulira wamu ng’ekibiina emmere ey’eby’omwoyo. (Isaaya 65:13) Ng’ekyokulabirako, bakabona Abaisiraeri baakuŋŋaanyanga abasajja, abakazi, n’abaana bayigirizibwe wamu ng’ekibiina Amateeka ga Katonda. (Ekyamateeka 31:9, 12) Wansi w’obulagirizi bw’akakiiko akafuzi, Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baateekateeka ebibiina era baabanga n’enkuŋŋaana omw’okuyigirizibwa n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Abaruumi 16:5; Firemooni 1, 2) Abajulirwa ba Yakuwa bagoberera ekyokulabirako kino. Oyanirizibwa n’essanyu okubaawo mu nkuŋŋaana zaabwe zonna.
7. Okubeerawo mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo obutayosa kulina kakwate ki n’okumanya n’okukkiriza?
7 Kyo kituufu, oyinza okuba oyize bingi mu kusoma kwo okwa Baibuli. Oboolyawo olina akuyambye. (Ebikolwa 8:30-35) Naye okukkiriza kwo kuyinza okufaananyizibwako ekimera ekijja okuwotoka kife singa tekirabirirwa bulungi. N’olw’ensonga eyo, oteekwa okulya obulungi mu by’omwoyo. (1 Timoseewo 4:6) Enkuŋŋaana ez’Ekikristaayo zituteerawo enteekateeka y’eby’enjigiriza eyeeyongera mu maaso buli kiseera ekoleddwa okukuliisa mu by’omwoyo n’okukuyamba okukula mu kukkiriza nga weeyongera okufuna okumanya okukwata ku Katonda.—Abakkolosaayi 1:9, 10.
8. Lwaki tukubirizibwa okubeerawo mu nkuŋŋaana z’Abajulirwa ba Yakuwa?
8 Enkuŋŋaana zirina ekigendererwa ekirala ekikulu ennyo. Pawulo yawandiika: “Tulowoozaganenga fekka na fekka okukubirizanga okwagala n’ebikolwa ebirungi; obutalekanga kukuŋŋaana wamu.” (Abaebbulaniya 10:24, 25) Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusiddwa “okukubirizanga” kiyinza era okutegeeza “okuwagala.” Olugero lwa Baibuli lugamba: “Ekyuma kiwagala kyuma; bw’atyo omuntu awagala amaaso ga mukwano gwe.” (Engero 27:17) Ffenna ffenna twetaaga ‘okuwagalibwa’ buli kiseera. Okunnyigirizibwa kwe twolekagana nakwo mu nsi buli lunaku kuyinza okuggweereza okukkiriza kwaffe. Bwe tujja mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo, tuzziŋŋanamu amaanyi. (Abaruumi 1:11, 12) Abali mu kibiina bagoberera okubuulirira kw’omutume Pawulo ‘okusanyusagananga, era n’okuzimbagananga,’ era ebintu ng’ebyo biwagala okukkiriza kwaffe. (1 Abasessalonika 5:11) Era okubaawo kwaffe obutayosa mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo kulaga nti twagala Katonda era kutuwa omukisa okumutendereza.—Zabbuli 35:18.
“MWAMBALE OKWAGALANA”
9. Yakuwa atuteereddewo atya ekyokulabirako mu kulaga okwagala?
9 Pawulo yawandiika: “Mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.” (Abakkolosaayi 3:14) Olw’ekisa kye ekingi, Yakuwa atuwadde ekyambalo kino. Mu ngeri ki? Abakristaayo bayinza okwoleka okwagala kubanga kye kimu ku bibala ebituweebwa Katonda eby’omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu. (Abaggalatiya 5:22, 23) Yakuwa kennyini yatulaga okwagala kungi nnyo ng’atuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka tulyoke tufune obulamu obutaggwaawo. (Yokaana 3:16) Ekikolwa kino ekisingirayo ddala okuba eky’okwagala kyatusizzaawo ekyokulabirako mu kulaga engeri eno. “Nga Katonda bwe yatwagala bw’atyo,” bwe yawandiika omutume Yokaana, “naffe kitugwanira okwagalananga.”—1 Yokaana 4:11.
10. Tuyinza tutya okuganyulwa mu ‘kibiina kyonna eky’ab’oluganda’?
10 Okubeerawo mu nkuŋŋaana mu Kingdom Hall kijja kukuwa omukisa omulungi okulaga okwagala. Ojja kusangayo abantu ab’engeri ezitali zimu. Tewali kubuusabuusa ojja kusikirizibwa okubaagala amangu ago. Kyo kituufu, n’abo abaweereza Yakuwa balina embeera ez’obuntu za njawulo. Oboolyawo mu biseera ebyayita walinga weewala bwewazi abantu abatayagala by’oyagala oba abo abalina engeri ez’enjawulo ku zizo. Naye, Abakristaayo balina “okwagala ekibiina kyonna eky’ab’oluganda.” (1 Peetero 2:17, NW ) N’olwekyo kifuule kiruubirirwa kyo okumanya obulungi abo abali ku Kingdom Hall—yadde abo ab’emyaka, engeri z’obuntu, erangi, oba eddaala ly’obuyigirize ebyawukana ku bibyo. Ojja kukizuula nti buli omu ku bo alina engeri ennungi esikiriza gy’asukkulumamu.
11. Lwaki engeri z’obuntu ez’enjawulo eziri mu bantu ba Yakuwa tezisaanidde kukweraliikiriza?
11 Engeri z’obuntu ez’enjawulo eziriwo mu kibiina Ekikristaayo tezisaanidde kukweraliikiriza. Okuwa ekyokulabirako, teeberezaamu nti oli mu luguudo omuli ebidduka ebiwerako. Byonna tebitambulira ku sipiidi y’emu, era byonna tebiri mu mbeera y’emu. Ebimu bitambudde mayilo nnyingi, naye ebirala, okufaananako naawe, byakatandika butandisi. Kyokka, wadde nga waliwo enjawulo zino, byonna bitambulira mu luguudo olwo. Bwe kityo bwe kiri ne ku bantu abali mu kibiina. Bonna tebali ku sipiidi y’emu mu kukulaakulanya engeri z’Ekikristaayo. Ate era, bonna tebalina mbeera y’emu ey’omubiri oba ey’enneewulira ey’omunda. Abamu babadde basinza Yakuwa okumala emyaka mingi; abalala baakatandika. Kyokka, bonna batambulira mu kkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo, nga ‘bagattiddwa wamu mu magezi gamu ne mu kulowooza kumu.’ 1 Abakkolinso 1:10) N’olwekyo, fuba okuzuula engeri ennungi ez’abo abali mu kibiina so si ngeri zaabwe embi. Okukola bw’otyo kijja kubuguumiriza omutima gwo, kubanga ojja kukitegeera nti ddala Katonda ali mu bantu bano. Era nga mazima ddala oyagala kubeera mu bo.—1 Abakkolinso 14:25.
(12, 13. (a) Singa omuntu mu kibiina akunyiiza, oyinza kukola ki? (b) Lwaki kikulu obutasiba kiruyi?
12 Okuva abantu bonna bwe batatuukiridde, ebiseera ebimu omuntu omu mu kibiina ayinza okwogera oba okukola ekintu ekikunyiiza. (Abaruumi 3:23) Omuyigirizwa Yakobo yawandiika bw’ati: “Mu bingi tusobya fenna. Omuntu yenna bw’atasobya mu kigambo, oyo ye muntu eyatuukirira.” (Yakobo 3:2) Onookola otya singa omuntu akunyiiza? Olugero lwa Baibuli lugamba: “Okutegeera ebyekusifu kulwisaawo omuntu okusunguwala, era aba mulungi bw’asonyiwa ekyonoono.” (Engero 19:11, NW ) Okutegeera ebyekusifu kwe kulaba ekitalabika mangu, okutegeera ensonga ezireetedde omuntu oyo okwogera oba okweyisa mu ngeri eyo. Abasinga obungi ku ffe tukozesa okutegeera okw’engeri eyo ne tuteevunaana nsobi ze tuba tukoze. Lwaki tetukozesa okutegeera kwe kumu okwo ne tutegeera obutali butuukirivu bw’abalala era ne tubasonyiwa?—Matayo 7:1-5; Abakkolosaayi 3:13.
13 Tuleme kwerabira nti tuteekwa okusonyiwa abalala okusobola okusonyiyibwa Yakuwa. (Matayo 6:9, 12, 14, 15) Bwe tuba tuteeka amazima mu nkola, tujja kuyisanga abalala mu ngeri ey’okwagala. (1 Yokaana 1:6, 7; 3:14-16; 4:20, 21) N’olwekyo, singa ofuna ekizibu n’omuntu omu mu kibiina, tosiba kiruyi. Bw’oba oyambadde okwagala, ojja kugezaako okugonjoola ekizibu ekyo, era tojja kulemwa kwetonda singa ggwe ovuddeko ekizibu ekyo.—Matayo 5:23, 24; 18:15-17.
14. Ngeri ki ze tusaanidde okwambala?
14 Ebyambalo byaffe eby’omwoyo birina okubeeramu engeri endala ezigendera awamu n’okwagala. Pawulo yawandiika: “Mwambalenga . . . omwoyo ogw’ekisa, obulungi, Abakkolosaayi 3:10, 12) Onoofuba okwambala engeri zino? Naddala ng’omaze okwambala okwagala kw’ab’oluganda lw’ojja okuba n’akabonero akaawulawo abayigirizwa ba Yesu, kubanga yagamba: “Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.”—Yokaana 13:35.
okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza.” Engeri zino, nga zigattiddwako n’okwagala, kitundu kya “omuntu omuggya” atya Katonda. (EKIFO EKY’OBUKUUMI
15. Mu ngeri ki ekibiina gye kiringa ekifo aw’okwewogoma?
15 Ekibiina era kiringa ekifo aw’okwewogoma, ekiddukiro mw’oyinza okufuna obukuumi. Ojja kusangamu abantu ab’emitima emyesigwa abafuba okukola ekituufu mu maaso ga Katonda. Bangi ku bo baleseeyo emize n’endowooza embi by’oyinza okuba ng’olwanagana nabyo. (Tito 3:3) Basobola okukuyamba, kuba tugambibwa ‘okubeeragana emigugu fekka na fekka.’ (Abaggalatiya 6:2) Kya lwatu, mu nkomerero ya byonna kisigala gy’oli okusalawo okugoberera ekkubo erigenda mu bulamu obutaggwaawo. (Abaggalatiya 6:5; Abafiripi 2:12) Wadde kiri kityo, Yakuwa ataddewo ekibiina Ekikristaayo ng’engeri ey’ekitalo ey’okuwaamu obuyambi n’obuwagizi. Ebizibu by’olina ka bibeere bya maanyi bitya, olina ensibuko y’obuyambi obw’omuwendo—ekibiina ekyagazi ekitajja kukwabulira mu biseera eby’okubonaabona oba eby’obwetaavu obw’amaanyi.—Geraageranya Lukka 10:29-37; Ebikolwa 20:35.
16. Buyambi ki abakadde mu kibiina bwe bawa?
16 Mu abo abajja okukuyamba mwe muli “ebirabo mu bantu”—abakadde abaalondebwa mu kibiina, oba abalabirizi, abalunda ekisibo n’okwagala. (Abeefeso 4:8, 11, 12, NW; Ebikolwa 20:28; 1 Peetero 5:2, 3) Isaaya yabalagulako bw’ati: “Aliba ng’ekifo eky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.”—Isaaya 32:2.
17. (a) Okusingira ddala buyambi bwa ngeri ki Yesu bwe yayagalanga okuwa? (b) Nteekateeka ki Katonda gye yasuubiza okukolera abantu be?
Matayo 9:36) Ng’ebigambo ebyo binnyonnyola bulungi nnyo embeera embi bangi gye balimu ennaku zino ey’okwolekagana n’ebizibu ebirumya omutima nga tebalina wa kuddukira kufuna buyambi n’okubudaabudibwa mu by’omwoyo! Naye abantu ba Yakuwa balina obuyambi obw’eby’omwoyo, kubanga yasuubiza: “Ndissaawo abasumba ku bo abalibaliisa: kale nga tebakyatya nate so tebalikeŋŋentererwa, so tewaliba abalibula.”—Yeremiya 23:4.
17 Yesu bwe yali ku nsi, abakulembeze b’eddiini baali tebawa bulabirizi bwa kwagala. Embeera abantu gye baalimu yamunakuwaza nnyo, era yayagala nnyo okubayamba mu by’omwoyo. Yesu yabasaasira kubanga “baali bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (18. Lwaki tusaanidde okutuukirira omukadde bwe tuba twetaaga obuyambi obw’eby’omwoyo?
18 Gezaako okumanya abakadde abaalondebwa mu kibiina. Balina obumanyirivu bungi mu kukozesa okumanya okukwata ku Katonda, kubanga batuukirizza ebisaanyizo by’abalabirizi ebyateekebwawo mu Baibuli. (1 Timoseewo 3:1-7; Tito 1:5-9) Tolonzaalonza kutuukirira omu ku bo bw’oba weetaaga obuyambi obw’eby’omwoyo okulekayo omuze oba engeri ekontana ne Katonda by’atwetaaza. Ojja kukizuula nti abakadde bagoberera okubuulirira kwa Pawulo: “Mugumyenga abalina omwoyo omunafu, muyambenga abatalina maanyi, mugumiikirizenga bonna.”—1 Abasessalonika 2:7, 8; 5:14.
FUNA OBUKUUMI MU BANTU BA YAKUWA
19. Mikisa ki Yakuwa gy’awadde abo abanoonya obukuumi munda mu ntegeka ye?
19 Wadde kati tuli mu mbeera ezitatuukiridde, Yakuwa, mu by’omwoyo atuwa emmere, eby’okwambala, n’ekifo aw’okwewogoma. Kyo kituufu, tuteekwa okulindirira ensi empya eya Katonda okusobola okufuna emikisa gy’olusuku Ezeekyeri 34:28; Zabbuli 4:8.
lwa Katonda. Naye abo abali mu ntegeka ya Yakuwa banyumirwa kati obukuumi bw’olusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Ezeekyeri yabalagulako bw’ati: “Balituula nga tebaliiko kye batya so tewaliba alibatiisa.”—20. Yakuwa ajja kutuddizzaawo atya kyonna kye twefiiriza olw’okumusinza?
20 Nga twesiimye nnyo okuba nti Yakuwa akola ku byetaago byaffe eby’eby’omwoyo okuyitira mu Kigambo kye n’entegeka ye! Semberera abantu ba Katonda. Tolonzaalonza ng’otya mikwano gyo oba ab’eŋŋanda zo kye banaakulowoozaako olw’okufuna okumanya okukwata ku Katonda. Abamu bayinza okukuvumirira olw’okuba okolagana n’Abajulirwa ba Yakuwa era ogenda ne mu nkuŋŋaana ku Kingdom Hall. Naye Katonda ajja kukuddizaawo bingi nnyo n’okusinga by’ofiiriddwa olw’okumusinza. (Malaki 3:10) Ate era, Yesu yagamba: “Tewali eyaleka ennyumba, oba ab’oluganda, oba bannyina, oba nnyina, oba kitaawe, oba abaana, oba ebyalo, ku lwange n’olw’enjiri ataliweebwa emirundi kikumi mu biro bino ebya kaakano, ennyumba, n’ab’oluganda, ne bannyina ne bannyaabwe, n’abaana, n’ebyalo, n’okuyigganyizibwa; ne mu mirembe egigenda okujja obulamu obutaggwaawo.” (Makko 10:29, 30) Yee, k’obeere ng’olese bintu ki oba ng’ogumira biki, osobola okufuna emikwano egy’essanyu n’obukuumi obw’eby’omwoyo mu bantu ba Katonda.
GEZESA OKUMANYA KWO
‘Omuddu omwesigwa ow’amagezi’ y’ani?
Nteekateeka ki Yakuwa gy’akoze okutuliisa mu by’omwoyo?
Abali mu kibiina Ekikristaayo bayinza kutuyamba batya?
[Ebibuuzo]
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 165]