Bamaama
Maama alina buvunaanyizibwa ki?
Nge 31:17, 21, 26, 27; Tit 2:4
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
Lub 21:8-12—Saala bw’alaba Isimayiri ng’ayigganya Isaaka mutabani we, agamba Ibulayimu agobe Agali ne Isimayiri, Isaaka aleme okutusibwako akabi
-
1Sk 1:11-21—Adoniya bw’akola olukwe okwezza obwakabaka, Basuseba asaba Kabaka Dawudi okufuula Sulemaani Kabaka n’okumukuuma
-
Lwaki tusaanidde okugondera bamaama baffe n’okubassaamu ekitiibwa?
Kuv 20:12; Ma 5:16; 27:16; Nge 1:8; 6:20-22; 23:22
Laba ne 1Ti 5:9, 10
-
Ebyokulabirako okuva mu Bayibuli:
-
1Pe 3:5, 6—Omutume Peetero agamba nti Saala yafuuka nga maama eri abakyala bangi olw’okukkiriza kwe okw’amaanyi
-
Nge 31:1, 15, 21, 28—Maama wa Kabaka Lemweri awa mutabani we amagezi amalungi agakwata ku bufumbo ne ku kifo ekikulu omukyala era maama ky’alina
-
2Ti 1:5; 3:15—Omutume Pawulo aluŋŋamizibwa okusiima Ewuniike, maama wa Timoseewo, olw’okuyigiriza mutabani we Ebyawandiikibwa okuviira ddala mu buwere, wadde ng’omwami we si Mukristaayo
-