Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu


Engeri gy’oyinza okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyiga Bayibuli ng’okozesa akatabo kano

Engeri gy’oyinza okuganyulwa mu bujjuvu mu kuyiga Bayibuli ng’okozesa akatabo kano

Funa akuyigiriza: Saba omuntu eyakuwa akatabo kano akuyigirize, oba genda ku mukutu gwaffe ogwa jw.org. osabe okuyigirizibwa Bayibuli.

EKITUNDU EKISOOKA

Soma buli katundu, nga mw’otwalidde n’ebibuuzo ebiri mu nnukuta enkwafu (A) n’ebyawandiikibwa (B) ebiggumiza ensonga enkulu. Weetegereze nti ebyawandiikibwa ebimu biriko ekigambo “soma.”

EKITUNDU EKY’OMU MAKKATI

Ebigambo ebisooka (C) wansi wa Yiga Ebisingawo biraga ebiba bigenda okwogerwako wammanga. Emitwe emitono (D) giraga ensonga enkulu. Soma ebyawandiikibwa, ddamu ebibuuzo, era olabe ne vidiyo (E).

Weetegereze bulungi ebifaananyi n’obugambo obubyogerako (F), era olowooze ku ky’oyinza okuddamu mu bibuuzo ebiri wansi wa Abamu Bagamba Nti (G).

EKITUNDU EKISEMBAYO

Ebiri wansi wa Mu Bufunze ne Okwejjukanya (H) biwumbawumbako ebibadde mu ssomo. Jjuzaamu ennaku z’omwezi lwe muba mumalirizza essomo. Eky’okukolako (I) kikuwa ekintu eky’okukolako. Wansi wa Laba Ebisingawo (J) olagibwa ebintu ebirala by’osobola okusoma oba okulaba.

Engeri gy’oyinza okuzuula ebyawandiikibwa mu Bayibuli

Ekyawandiikibwa kibaako erinnya ly’Ekitabo kya Bayibuli (A), essuula (B), n’olunyiriri oba ennyiriri (C). Ng’ekyokulabirako, Yokaana 17:3 kitegeeza ekitabo kya Yokaana, essuula 17, olunyiriri 3.