ESSOMO 9
Tuyinza Tutya Okwetegekera Enkuŋŋaana Obulungi?
Bw’oba osoma Bayibuli n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, oteekwa okuba nga buli kitundu kye muba mugenda okwekenneenya osooka kukiyitamu. N’enkuŋŋaana okusobola okuziganyulwamu mu bujjuvu, kiba kirungi okukola ekintu kye kimu. Tuganyulwa nnyo bwe tuba n’enteekateeka ennungi ey’okwetegekera enkuŋŋaana.
Funa ekiseera ekirungi era n’ekifo ekisaana. Ddi lw’oyinza okubaako ky’osoma nga tolina bikutaataaganya? Ku makya nga tonnatandika kukola mirimu gyo, oba ekiro ng’abaana beebase? Ne bwe kiba nti embeera zo tezikusobozesa kusoma kumala kiseera kiwanvu, ssaawo ekiseera ekikakafu, era tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kunywerera ku nteekateeka yo. Funa ekifo ekisirifu, era ebintu nga rediyo, ttivi, oba essimu, obiggyeko, kubanga biyinza okukuwugula. Okusaba nga tonnatandika kusoma kijja kukuyamba okwerabira ebirala by’obadde olowooza, omutima gwo gwonna ogusse ku Kigambo kya Katonda.—Abafiripi 4:6, 7.
Weetegereze ensonga enkulu era osaze ku by’oyinza okuddamu ng’oli mu lukuŋŋaana. Okusookera ddala gezaako okumanya ensonga yennyini eyogerwako. Okusobola okugimanya, lowooza ku mutwe gw’ekitundu ky’oba ogenda okusoma. Weetegereze engeri buli mutwe omutono mu kitundu ekyo gye gukwataganamu n’ensonga enkulu eba eyogerwako. Weetegereze ebifaananyi ebirimu era n’ebibuuzo eby’okwejjukanya. Ebyo ng’obimaze, genda ng’osoma buli katundu nga bw’onoonya n’eky’okuddamu mu kibuuzo ekiba kibuuziddwa ku katundu ako. Soma ebyawandiikibwa ebiragiddwa era ofumiitirize ne ku ngeri gye bikwataganamu n’ensonga eba eyogerwako. (Ebikolwa 17:11) Bw’olaba awali eky’okuddamu mu kibuuzo ekiba kibuuziddwa, saza ku bigambo bitonotono ebinaakuyamba okujjukira ky’onooyogera ng’oli mu lukuŋŋaana. Ekibuuzo bwe kinaabuuzibwa, osobola okuwanika omukono n’oddamu mu bufunze kyokka nga by’oyogera tosoma bisome.
Enkuŋŋaana bw’onoozeetegekera bw’otyo buli wiiki, ojja kwongera mu “tterekero” lyo ebyo by’omanyi ku Kigambo kya Katonda.—Matayo 13:51, 52.
-
Oyinza otya okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwetegekera enkuŋŋaana?
-
Oyinza kweteekateeka otya osobole okubaako ky’oddamu mu nkuŋŋaana?