ESSOMO 18
Tuyamba Tutya Baganda Baffe Abali mu Buzibu?
Bwe wagwawo akatyabaga konna, amangu ddala Abajulirwa ba Yakuwa bakola enteekateeka okuyamba bannaabwe ababa bakoseddwa. Ekyo kyoleka okwagala okwa nnamaddala kwe tulina eri baganda baffe. ( Yokaana 13:34, 35; 1 Yokaana 3:17, 18) Tubayamba tutya?
Tuwaayo ssente. Bwe waagwawo enjala ey’amaanyi mu Buyudaaya, Abakristaayo ab’omu Antiyokiya baaweereza baganda baabwe ssente ez’okubayamba. (Ebikolwa 11:27-30) Naffe bwe tukimanya nti baganda baffe mu kitundu ekimu bali mu buzibu obw’amaanyi, tuwaayo ssente okuyitira mu kibiina mwe tuli, ne babafunira bye beetaaga.—2 Abakkolinso 8:13-15.
Tubaako bye tubakolera. Abakadde ab’omu kitundu ekiba kiguddemu akatyabaga bafuba okumanya buli wa luganda bw’ali. Wateekebwawo akakiiko akakola ku by’emmere, amazzi ag’okunywa, eby’okwambala, eby’ensula, n’eby’obujjanjabi. Abajulirwa ba Yakuwa bangi beesasulira entambula ne bagenda mu bitundu ebyo okuddaabiriza ennyumba n’Ebizimbe by’Obwakabaka ebiba byonooneddwa, oba okuyambako mu ngeri endala. Obumu bwe tulina n’obumanyirivu bwe tufunye olw’okukolera awamu ng’ab’oluganda bitusobozesa okukola amangu enteekateeka ezeetaagisa okuyamba baganda baffe nga waguddewo ekizibu kyonna. Wadde ng’okusookera ddala tuyamba “bakkiriza bannaffe,” bwe kiba kisoboka tuyamba n’abalala, ka babe ba ddiini ki.—Abaggalatiya 6:10.
Tubayamba mu by’omwoyo era tubagumya. Abo ababa bakoseddwa nga waguddewo akatyabaga baba beetaaga okubudaabudibwa. Mu biseera ng’ebyo Yakuwa “Katonda ow’okubudaabuda kwonna” atugumya. (2 Abakkolinso 1:3, 4) Tubudaabuda abo abali mu nnaku nga tukozesa Bayibuli, ne tubalaga nti mu kiseera ekitali kya wala, Obwakabaka bwa Katonda bujja kuggyawo ebintu byonna ebireetera abantu okubonaabona.—Okubikkulirwa 21:4.
-
Kiki ekisobozesa Abajulirwa ba Yakuwa okukola enteekateeka mu bwangu okuyamba baganda baabwe nga waguddewo akatyabaga?
-
Tukozesa tutya Bayibuli okubudaabuda abo ababa bakoseddwa nga waguddewo akatyabaga?