Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 25

Asaasira Omugenge era Amuwonya

Asaasira Omugenge era Amuwonya

Yesu n’abayigirizwa be abana bagenda babuulira mu ‘makuŋŋaaniro mu Ggaliraaya yonna,’ era ebintu eby’ekitalo Yesu by’akola bimanyibwa mu bifo bingi. (Makko 1:39) Amawulire agakwata ku ebyo Yesu by’akola gatuuka mu kibuga omuli omusajja eyalwala ebigenge. Omusawo Lukka, amwogerako ng’omusajja “ajjudde ebigenge.” (Lukka 5:12) Obulwadde buno bwe bugenda bukula, bugongobaza ebitundu by’omubiri.

Omugenge ono ali mu mbeera mbi nnyo era takkirizibwa kubeera mu bantu balala. Ate era abantu bwe bamusemberera, alina okwogerera waggulu nti “Siri mulongoofu, siri mulongoofu!” baleme kukwatibwa bulwadde obwo. (Eby’Abaleevi 13:45, 46) Naye kiki omugenge ono ky’akola? Asemberera Yesu n’amuvunnamira ng’agamba nti: “Mukama wange, bw’oba oyagala, osobola okunfuula omulongoofu.”​—Matayo 8:2.

Omusajja oyo ng’alina okukkiriza kwa maanyi! Obulwadde bwe bumulabisa bubi era bw’omutunulako omukwatirwa ekisa. Yesu anaakola ki? Ggwe wandikoze ki? Yesu asaasira omusajja oyo era agolola omukono gwe n’amukwatako. Yesu amugamba nti: “Njagala! Fuuka mulongoofu.” (Matayo 8:3) Wadde nga bangi ku abo abaliwo bayinza obutakikkiriza, omusajja oyo awonye ebigenge.

Tewandyagadde kufugibwa kabaka ow’ekisa era alina amaanyi nga Yesu? Engeri gy’awonyezzaamu omugenge oyo etukakasa nti bw’anaaba afuga ensi yonna nga Kabaka, obunnabbi bwa Bayibuli buno bujja kutuukirira: “Anaasaasiranga abanaku n’abaavu, era anaawonyanga obulamu bw’abaavu.” (Zabbuli 72:13) Mu kiseera ekyo, Yesu ajja kuyamba abantu bonna ababonaabona; ekintu ky’ayagala ennyo!

Kijjukire nti nga Yesu tannaba na kuwonya mugenge oyo, abantu mu bitundu bingi bawulidde ebyo by’akola mu buweereza bwe. Kati abantu bagenda kuwulira ekyamagero ekirala ky’akoze. Kyokka, Yesu tayagala bantu bamukkiririzeemu olw’ebyo bye bawulidde obuwulizi. Amanyi obunnabbi obugamba nti “eddoboozi lye teririwulirwa mu luguudo,” mu ngeri ey’okuwuniikiriza obuwuniikiriza abantu. (Isaaya 42:1, 2) Olw’ensonga eyo, Yesu agamba omusajja gw’ava okuwonya nti: “Tobuulirako muntu yenna, naye genda weeyanjule eri kabona era oweeyo ekirabo nga Musa bwe yalagira.”​—Matayo 8:4.

Naye olw’okuba omusajja ono musanyufu nnyo olw’okuwonyezebwa, agenda n’abuulira buli omu. Ekyo kireetera abantu okwagala okwerabirako ku ebyo Yesu by’akola. Ekiseera kituuka Yesu n’aba nga takyasobola kuyingira kyere mu kibuga, era asalawo okusigala mu bifo etali bantu. Naye era abantu bangi okuva ku njuyi zonna bajja gy’ali okuyigirizibwa n’okuwonyezebwa endwadde.