Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 1

Ekyama Kye Twagala Okumanya

Ekyama Kye Twagala Okumanya

Baali bakubuuliddeko ekyama? * Waliwo ekyama eky’enjawulo Bayibuli ky’eyogerako ekiyitibwa “ekyama ekitukuvu.” Kiyitibwa kitukuvu kubanga kiva eri Katonda. Kiyitibwa kyama kubanga ebikirimu abantu baali tebabimanyi. Ne bamalayika baali baagala okumanya ebisingawo ku kyama ekyo. Wandyagadde okumanya ekyama ekyo?

Olowooza kiki bamalayika kye baagala okutegeera?

Edda ennyo, Katonda yatonda omusajja n’omukazi abaasooka. Omusajja yali ayitibwa Adamu ate ng’omukazi ayitibwa Kaawa. Katonda yabawa ekifo ekirungi eky’okubeeramu. Ekifo ekyo kyali kiyitibwa olusuku Edeni. Singa Adamu ne Kaawa baali bagondedde Katonda, bo n’abaana baabwe bandifudde ensi yonna okuba ng’olusuku olwo. Era bandibadde babeera mu nsi erabika obulungi emirembe n’emirembe. Naye ojjukira Adamu ne Kaawa kye baakola?

Adamu ne Kaawa baajeemera Katonda, era eyo ye nsonga lwaki ensi gye tulimu leero si lusuku lwa Katonda. Naye Katonda yagamba nti yali ajja kufuula ensi ekifo ekirabika obulungi ennyo, era nti buli muntu yandigibaddemu emirembe gyonna era nga musanyufu. Kino Katonda yandikikoze atya? Okumala ekiseera kiwaanvu, abantu baali tebamanyi ngeri gye yali agenda kukikolamu. Kyali kyama.

Yesu bwe yajja ku nsi yayigiriza abantu ebikwata ku kyama ekyo. Yagamba nti kyali kikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Yagamba abantu nti basabe Obwakabaka obwo bujje. Obwakabaka obwo bujja kufuula ensi Olusuku lwa Katonda.

Wandyagadde okumanya ekyama kino?— Kijjukire nti abo bokka abagondera Yakuwa be bajja okubeera mu Lusuku lwa Katonda. Mu Bayibuli mulimu ebyokulabirako eby’abasajja n’abakazi bangi abaagondera Yakuwa. Wandyagadde okumanya ebibakwatako?— Ka tulabe abamu ku bo, ne bye tuyinza okubayigirako.

^ lup. 3 Mu bitundu byonna ebiri mu katabo kano ojja kulaba akasittale kano (—) nga kaddirira ebibuuzo ebimu. Bw’otuuka we kali, kirungi osiriikiriremu omwana wo asobole okubaako by’addamu.